Kozesa Tulakiti Okubunyisa Amawulire Amalungi
1. Abantu ba Katonda bazze bakozesa batya tulakiti?
1 Abantu ba Yakuwa bamaze emyaka mingi nga bakozesa tulakiti ezinnyonnyola Bayibuli okubunyisa amawulire amalungi. Mu 1880, ow’oluganda C. T. Russell ne banne, baatandika okufulumya tulakiti ezaayitibwanga Bible Students’ Tracts, era baaziwanga abasomi ba magazini ya Watch Tower, bazigabire abantu. Tulakiti zaatwalibwanga nga za mugaso nnyo ne kiba nti mu 1884, ow’oluganda C. T. Russell bwe yali awandiisa ekitongole ekirabirira omulimu gw’okubuulira Amawulire g’Obwakabaka, ekigambo “tract” oba tulakiti kyakozesebwa mu linnya ly’ekitongole ekyo, ne kitandika okuyitibwa Zion’s Watch Tower Tract Society, kati ekiyitibwa Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania. Omwaka 1918 we gwatuukira, abayizi ba Bayibuli baali bamaze okubunyisa tulakiti ezisukka mu bukadde 300. Tulakiti zikyali za muganyulo nnyo mu kubunyisa amawulire amalungi.
2. Lwaki tulakiti za muganyulo?
2 Ensonga Lwaki Za Muganyulo: Tulakiti ziriko ebifaananyi ebisikiriza. Zirimu obubaka obw’omuganyulo, ate ng’ebigambo si bingi. Zanguyira abantu abazibuwalirwa okusoma ebitabo oba magazini. Ababuulizi abapya n’abaana abato nabo zibanguyira okugaba. Okugatta ku ebyo, tulakiti nnyangu okusitula.
3. Wa ekyokulabirako ky’omanyi oba ekimu ku ebyo ebiri mu bitabo byaffe, ekiraga omugaso gwa tulakiti.
3 Tulakiti ziyambye abantu bangi okuzuula amazima. Ng’ekyokulabirako, omukyala omu mu nsi eyitibwa Haiti yalonda tulakiti ku kkubo. Bwe yamala okugisoma yagamba nti, “Nzudde amazima!” N’ekyavaamu, yagenda mu nkuŋŋaana, n’atandika okuyiga Bayibuli, era oluvannyuma n’abatizibwa.
4. Tusaanidde kuba na kiruubirirwa ki nga tugaba tulakiti?
4 Nga Tubuulira Nnyumba ku Nnyumba: Okuva bwe kiri nti tulakiti muganyulo nnyo mu kuwa obujulirwa, mu myezi egimu ze tujja okugabanga okutandika n’omwezi gwa Noovemba. Ekiruubirirwa kyaffe kya kutandika kukubaganya n’omuntu ebirowoozo ku Bayibuli, so si kumuwa buwi tulakiti. Singa omuntu asiima obubaka bwaffe ku mulundi gw’oba osoose okumuwa obujulirwa, oba ng’ozzeeyo, oyinza okumulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ng’okozesa akatabo Baibuli ky’Eyigiriza, oba akatabo akalala konna ke tukozesa okuyigiriza abantu Bayibuli. Tuyinza tutya okugaba tulakiti nga tubuulira nnyumba ku nnyumba? Buli tulakiti ya njawulo ku ndala, n’olwekyo twetaaga okumanya ebiri mu tulakiti nga tetunnagigaba.
5. Tuyinza tutya okugaba tulakiti nga tubuulira nnyumba ku nnyumba?
5 Ennyanjula yaffe tusaanidde okugituukaganya n’ekitundu kye tubuuliramu era ne tulakiti gye tugenda okugaba. Olw’okuba ebiri ku tulakiti biyinza okusikiriza omuntu, tuyinza okusooka okumukwasa tulaki ne tulyoka tutandika okukubaganya naye ebirowoozo. Oba tusobola okumulaga tulakiti ez’enjawulo ne tumusaba alondeko gy’ayagala. Bwe tuba tubuulira mu kitundu omuli abantu abatya okuggulawo enzigi zaabwe, tuyinza okukwata tulakiti mu ngeri esobozesa omuntu okulaba ebiri kungulu, oba tuyinza okumusaba tugiyise wansi w’oluggi asobole okutuwa endowooza ye. Bwe kiba nti omutwe gwa tulakiti kibuuzo, tuyinza okumusaba atuwe endowooza ye ku kibuuzo ekyo. Oba tusobola okumubuuza ekibuuzo ekiyinza okumusikiriza ne kimuleetera okutandika okukubaganya naffe ebirowoozo. Oluvannyuma, tuyinza okumusomera akamu ku butundu obuli mu tulakiti, ne tusiriikiriramu awali ekibuuzo asobole okutuwa endowooza ye. Tusobola okusoma ekyawandiikibwa ekiggyayo ensonga enkulu. Nga tumaze okukubaganya ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri mu tulakiti, tuyinza okukola enteekateeka ey’okumuddira. Bwe muba temusanze muntu waka, muyinza okuleka tulakiti mu kifo omuntu omulala w’atasobola kugirabira, bwe kiba nti mutera okukikola mu kitundu kye mubuuliramu.
6. Tuyinza tutya okukozesa tulakiti nga tubuulira ku nguudo?
6 Nga Tubuulira ku Nguudo: Otera okukozesa tulakiti ng’obuulira ku nguudo? Abantu abamu baba mu bwangu era baba tebaagala kuyimirira kwogera naffe. Kiyinza okutuzibuwalira okumanya obanga ddala baagala obubaka bwaffe. Mu kifo ky’okubawa obuwi magazini nga tetuli bakakafu nti banaazisoma, kyandibadde kirungi okubawa tulakiti. Olw’okuba ebiri kungulu bisikiriza, era nga n’ebigambo bitono, omuntu ayinza okwagala okugisoma, ne bw’aba ng’alina obudde butono. Naye omuntu bw’aba nga tali mu bwangu, tusobola okukubaganya naye ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri mu tulakiti.
7. Tuyinza tutya okukozesa tulakiti nga tubuulira embagirawo?
7 Nga Tubuulira Embagirawo: Kyangu okukozesa tulakiti nga tubuulira embagirawo. Ow’oluganda omu buli lw’aba ava awaka, ateeka tulakiti mu nsawo ye. Bw’asanga omuntu, gamba nga ku dduuka, amuwa tulakiti. Ow’oluganda omulala bwe yali yeeteekateeka ne mukyala we okugenda okulambula mu kibuga New York, baamanya nti bajja kusangayo abantu abava mu mawanga ag’enjawulo. Baagenda n’akatabo Good News for Peaple of All Nations ne tulakiti eziwerako eziri mu nnimi ez’enjawulo. Bwe baasisinkananga omuntu yenna ayogera olulimi olugwira, baamuwanga tulakiti eri mu lulimi lwe.
8. Lwaki tuyinza okugeraageranya tulakiti ku nsigo?
8 ‘Siga Ensigo Zo’: Tulakiti ziyinza okugeraageranyizibwa ku nsigo. Omulimi asiga ensigo nnyingi kubanga aba tamanyi eruwa ku zo eneemera n’ekula. Omubuulizi 11:6 wagamba nti: “Enkya osiganga ensigo zo, n’akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.” N’olwekyo, ka tweyongere okubunyisa amawulire amalungi nga tukozesa tulakiti.—Nge. 15:7.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 3]
Okuva bwe kiri nti tulakiti za muganyulo nnyo mu kuwa obujulirwa, mu myezi egimu ze tujja okugabanga okutandika n’omwezi gwa Noovemba