Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okufuna Abayizi ba Bayibuli ku Lwomukaaga Olusooka mu Ddesemba
“Tubakyaliddeko nga tulina obubaka obulungi bwe tubaleetedde. Abazadde bangi baagala abaana baabwe bakule nga baagala Katonda. Olowooza abazadde be balina okuyigiriza abaana baabwe ebikwata ku Katonda, oba abaana be balina okubyeyigiriza?” Muleke abeeko ky’addamu. Mulage ekibuuzo ekisooka ku lupapula olusembayo olw’Omunaala gw’Omukuumi ogwa Ddesemba 1, mukubaganye ebirowoozo ku ebyo ebiri wansi w’ekibuuzo ekyo era musome waakiri ekimu ku byawandiikibwa ebiragiddwa. Muwe magazini, era okole enteekateeka ey’okuddayo mukubaganye ebirowoozo ku kibuuzo ekiddako.
Omunaala gw’Omukuumi Ddesemba 1
“Abantu balina endowooza ez’enjawulo ku Katonda. Olowooza abantu basobola okubeera mikwano gya Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti Katonda ayagala tube n’enkolagana ey’oku lusegere naye. [Soma Yakobo 4:8a.] Akatabo kano kalaga ebintu bisatu bye tusaanidde okukola okusobola okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere ne Katonda.”
Awake! Ddesemba
“Leero abantu balina ebizibu bingi ebibaviirako okwennyamira. Okusinziira ku Kibiina ky’Eby’obulamu eky’Ensi Yonna, omuntu omu ku buli bantu bana afuna ekizibu ku bwongo. Olowooza ebizibu biriggwaawo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli etuwa essuubi lino. [Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.] Akatabo kano kalaga engeri gye tuyinza okuyambamu omuntu alina ekizibu ku bwongo.”