Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ddesemba 8
WIIKI ETANDIKA DDESEMBA 8
Oluyimba 6 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 17 ¶1-8 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Yoswa 1-5 (Ddak. 10)
Na. 1: Yoswa 1:1-18 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Biki Ebiraga nti Omuntu Alina Omwoyo Omutukuvu?—rs-E lup. 381 ¶3–lup. 382 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Baani Abagenda mu Ggulu?—td 18B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Omulamwa gw’Omwezi Guno: Yogera ku ‘bintu ebirungi’ ebiri mu tterekero lyaffe eddungi.—Mat. 12:35a.
Ddak. 10: “Ebintu Ebirungi” Bye Tujja Okuyiga mu Mwezi Guno. Kwogera. Yogera ku mulamwa gw’omwezi guno. (Mat. 12:35a) Oyo eyatuyigiriza amazima yatuwa eby’obugagga eby’eby’omwoyo. (Laba Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Apuli 1, 2002, lup. 26, kat. 5-7.) Naffe tusaanidde okuyigiriza abalala “ebintu byonna ebirungi” bye twayiga. (Bag. 6:6) Baleetere okwesunga ‘ebintu ebirungi’ bye tujja okuyiga mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza omwezi guno. Tujja kweyongera okulongoosa mu ngeri gye tuyigirizaamu era tujja kuyiga ennyimba empya.
Ddak. 20: “Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulaga Engeri Gye Tuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.” Kukubaganya birowoozo. Saba omubuulizi alina obumanyirivu oba payoniya alage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ng’akozesa akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.
Oluyimba 96 n’Okusaba