Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulaga Engeri Gye Tuyigirizaamu Abantu Bayibuli nga Tukozesa Akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza
Lwaki Kikulu: Abantu bangi bwe tubagamba nti tuyigiriza abantu Bayibuli ku bwereere, bayinza obutategeera kye tuba tutegeeza. Bayinza okulowooza nti waliwo we bajja okukuŋŋaaniranga bayigirizibwe Bayibuli mu kibinja. Mu kifo ky’okubagamba obugambi nti tuyigiriza abantu Bayibuli, balage engeri gye tukikolamu. Mu ddakiika ntono nnyo, era ne bw’oba oyimiridde ku mulyango gw’omuntu, osobola okumulaga nti okuyiga Bayibuli kya muganyulo era si kizibu.
Mu Mwezi Guno Gezaako Kino:
- Saba Yakuwa akuyambe okufuna omuyizi wa Bayibuli.—Baf. 2:13. 
- Buli lw’oba ogenze okubuulira, fuba okulaga waakiri omuntu omu engeri gye tuyigirizaamu Bayibuli ng’okozesa akatabo Bayibuli Ky’Eyigiriza, oba vidiyo erina omutwe ogugamba nti Omuntu Ayigirizibwa Atya Bayibuli?