Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Omunaala gw’Omukuumi Agusito 1
“Tubakyaliddeko okwogera ku kizibu ekituuka ku buli muntu. Buli omu anakuwala nnyo bw’afiirwa omuntu we, si bwe kiri? [Muleko abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kino ekizzaamu amaanyi ekiri mu Bayibuli. [Soma Okubikkulirwa 21:3, 4.] Bayibuli etuwa essuubi nti ekiseera kijja kutuuka abantu baffe abaafa bazuukire. Akatabo kano kannyonnyola engeri ekyo gye kinaabaawo.”
Awake! Agusito
“Tubaleetedde akatabo akalaga nti ddala omubiri gw’omuntu kyamagero. [Mulage ekifaananyi ekiri kungulu ku Awake!] Abamu bagamba nti twava mu nsolo, ate abalala nti twatondebwa. Ggwe olowooza otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Akatabo kano kalaga ebyo ebizuuliddwa ebiraga nti omubiri gw’omuntu kyamagero.”