Osobola Okufuna Emikisa Okuva eri Katonda
Oyagala okubeera mu nsi omutali entalo, n’ebikolwa eby’obukambwe?
Wandyagadde okulaba nga tewakyaliwo ndwadde, kubonaabona, n’okufa?
Wandyagadde okuba mu mbeera nga tewali kintu kyonna kikweraliikiriza?
Weegomba okubeera mu nsi etaliimu butyabaga?
Katonda waffe ow’okwagala, eyatonda ensi eno erabika obulungi, yasuubiza nti abantu bajja kuba mu bulamu obulungi era obw’essanyu emirembe gyonna. Ekyo si kirooto bulooto.
Mu bitundu ebiddako, weetegereze:
Ebiraga nti Omutonzi waffe atwagala nnyo
Katonda by’atugamba mu Kigambo kye
Katonda bye yatulaga okuyitira mu bannabbi be
Bye tulina okukola okusobola okuba abasanyufu kati, n’okuganyulwa mu bisuubizo bya Katonda mu biseera eby’omu maaso
Ka tusooke tulabe ebyo Omutonzi waffe by’akoze ebiraga nti atwagala nnyo.