LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp20 Na. 3 lup. 4-5
  • Omutonzi Waffe Atufaako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Omutonzi Waffe Atufaako
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • 1. OMUTONZI WAFFE ATUWA OMUSANA
  • 2. OMUTONZI WAFFE ATUWA ENKUBA
  • 3. OMUTONZI WAFFE ATUWA EMMERE N’EBY’OKWAMBALA
  • Osiima Enkuba?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Noonya Bwakabaka, So Si Bintu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Oyo Eyakola Ebintu Byonna
    Yigira ku Muyigiriza Omukulu
  • Kikulu Okumanya Obanga Eriyo Omutonzi
    Zuukuka!—2021
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
wp20 Na. 3 lup. 4-5
Enjuba ng’evaayo emabega w’olusozi.

Omutonzi Waffe Atufaako

1. OMUTONZI WAFFE ATUWA OMUSANA

Olowooza obulamu bwandibadde butya nga tewali musana? Omusana gusobozesa ebimera okussaako ebikoola, ebimuli, ebibala, n’ensigo. Ate era gusobozesa emiti okuggya amazzi mu ttaka okuyitira mu mirandira ne gatuuka mu bikoola oluvannyuma ne gagenda mu bbanga ne gakola ebire ebivaamu enkuba.

Ennimiro y’amajaani ku lusozi.

2. OMUTONZI WAFFE ATUWA ENKUBA

Katonda atuwa enkuba esobozesa ettaka okumeza emmere gye tulya. Atuwa enkuba okuva mu ggulu, abaza emmere mu biseera byayo, atuwa emmere mu bungi, era ajjuza emitima gyaffe essanyu.

Akanyonyi kayimiridde ku katabi nga kakunuukiriza okulya ekibala.

3. OMUTONZI WAFFE ATUWA EMMERE N’EBY’OKWAMBALA

Bataata bangi beeraliikirira obanga banaasobola okufunira ab’omu maka gaabwe emmere ebamala n’eby’okwambala. Kyokka, Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bigamba nti: “Mwetegereze ebinyonyi eby’omu bbanga. Tebisiga, tebikungula, era tebitereka mu materekero; naye Kitammwe ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo nnyo okubisinga?”​—Matayo 6:25, 26.

“Mubeeko kye muyigira ku ngeri amalanga ag’oku ttale gye gakulamu; . . . naye mbagamba nti ne [Kabaka] Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyayambala ng’erimu ku go. Bwe kiba nti bw’atyo Katonda bw’ayambaza omuddo ogw’oku ttale . . . , taasinge kwambaza mmwe?”​—Matayo 6:28-30.

Okuva bwe kiri nti Katonda asobola okutuwa emmere n’eby’okwambala, tuli bakakafu nti asobola n’okutuyamba okufuna ebyetaago ebirala eby’obulamu. Bwe tufuba okukola Katonda by’ayagala, asobola okutuyamba emmere gye tulimye n’ebala oba okutuyamba okufuna omulimu ne tufuna ssente ez’okugula bye twetaaga.​—Matayo 6:32, 33.

Mu butuufu, bwe tulowooza ku musana, enkuba, ebinyonyi, n’ebimera, kituleetera okweyongera okwagala Katonda. Mu kitundu ekiddako, tugenda kulaba engeri Omutonzi gy’atuusa obubaka bwe ku abantu.

Omutonzi waffe ‘ayakisa omusana, era atonnyesa enkuba.’​—MATAYO 5:45

Omutonzi waffe atwagala nnyo era atufaako. Atulabirira nga taata alina okwagala bw’alabirira ab’omu maka ge. Ebyawandiikibwa Ebitukuvu biraga nti Katonda mugabi era ‘amanya ebintu bye twetaaga nga tetunnaba na kubimusaba.’​—Matayo 6:8.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share