LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • g20 Na. 2 lup. 14-15
  • 5. Okubonaabona Kuliggwaawo?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • 5. Okubonaabona Kuliggwaawo?
  • Zuukuka!—2020
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Lwaki Kikulu
  • Eky’Okulowoozaako
  • Bayibuli ky’Egamba
  • Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
    munaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2017
  • Okubudaabuda Abo Ababonaabona
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
    Ddala Katonda Afaayo Gye Tuli?
  • Katonda Awulira Atya bw’Alaba ng’Obonaabona?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
See More
Zuukuka!—2020
g20 Na. 2 lup. 14-15
Ab’omu maka agamu nga bagenze okuwummulako okumpi n’ennyanja. Banyumya era baseka.

5. Okubonaabona Kuliggwaawo?

Lwaki Kikulu

Bwe kiba nti waliwo ensonga kwe tusinziira okukkiriza nti okubonaabona kujja kukoma, ekyo kisobola okutuyamba okuba n’endowooza ennungi ku bulamu ne ku Katonda.

Eky’Okulowoozaako

Abantu bangi bandyagadde okumalawo okubonaabona naye tebalina kinene kye bayinza kukolawo. Lowooza ku bino wammanga:

Wadde nga wabaddewo enkulaakulana mu by’obujjanjabi . . .

  • Endwadde z’omutima zikyatta nnyo abantu.

  • Kookolo atta abantu bukadde na bukadde buli mwaka.

  • “Abantu bakyalumbibwa endwadde ez’amaanyi ezimaze ekiseera nga weeziri, empya, n’ezikomawo.” (Dr. David Bloom mu magazini eyitibwa Frontiers in Immunology)

Wadde ng’ensi ezimu zirina ssente nnyingi . . .

  • Buli mwaka abaana bukadde na bukadde bafa, era abasinga obungi abafa babeera mu bitundu ebyavu.

  • Abantu bukadde na bukadde babeera mu bifo ebitali biyonjo.

  • Abantu bukadde na bukadde tebalina mazzi mayonjo.

Wadde nga leero okumanya okukwata ku ddembe ly’obuntu kweyongedde . . .

  • Mu nsi nnyingi abantu bakukusibwa, era ensi ezitavunaana abo abakukusa abalala ziyinza okuba nga “tezimanyi nti ekizibu ekyo weekiri oba nga tezirina busobozi kukola ku kizibu ekyo.” (Lipoota y’Ekibiina ky’Amawanga Amagatte)

    MANYA EBISINGAWO

    Laba vidiyo Obwakabaka bwa Katonda Kye Ki? ku jw.org/lg.

Bayibuli ky’Egamba

Katonda atufaako.

Tekiri nti Katonda teyeefiirayo bw’alaba nga tubonaabona.

“[Katonda] tanyoomye era teyeenyiyiddwa kubonaabona kw’oyo anyigirizibwa; tamukwese bwenyi bwe. Bwe yamukaabirira amuyambe, yawuliriza.”​—ZABBULI 22:24.

‘Mumukwase byonna ebibeeraliikiriza kubanga abafaako.’​—1 PEETERO 5:7.

Okubonaabona tekugenda kubaawo mirembe gyonna.

Bayibuli egamba nti ekyo Katonda kye yali atwagaliza kijja kutuukirira.

“Katonda . . . alisangula buli zziga mu maaso gaabwe era okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”​—OKUBIKKULIRWA 21:3, 4.

Katonda ajja kuggyawo ebiviirako abantu okubonaabona.

Ekyo ajja kukikola ng’ayitira mu Bwakabaka bwe, kwe kugamba, gavumenti ye.

“Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa. Obwakabaka buno tebuliweebwa ggwanga ddala lyonna. . . . Bulibeerawo emirembe n’emirembe.”​—DANYERI 2:44.

Okubonaabona Kuliggwaawo?

Yee, naye abantu si be bajja okukumalawo. Gavumenti z’abantu kye zisobola okukola kwe kugezaako okukendeeza ku kubonaabona, naye Katonda ajja kuggyawo ebireeta okubonaabona. Ajja kubiggyawo ng’ayitira mu Bwakabaka bwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share