ESSOMO 23
Ebitabo Byaffe Biwandiikibwa Bitya era Bivvuunulwa Bitya?
Ekitongole Ekiwandiisi, Amerika
South Korea
Armenia
Burundi
Sri Lanka
Okusobola okubuulira abantu okuva mu “buli ggwanga n’ekika n’olulimi,” tukuba ebitabo mu nnimi ezisukka mu 750. (Okubikkulirwa 14:6) Kino tusobodde tutya okukikola? Tulina abawandiisi n’abavvuunuzi, era bonna Bajulirwa ba Yakuwa.
Bisooka kuwandiikibwa mu Lungereza. Akakiiko Akafuzi kalabirira ebikolebwa Ekitongole Ekikola ogw’Okuwandiika ekiri ku kitebe kyaffe ekikulu. Ekitongole kino kikwanaganya emirimu gy’abawandiisi abali ku kitebe kyaffe ekikulu n’egy’abo abali ku matabi gaffe amalala. Okuba nti abawandiisi baffe bali mu nsi za njawulo, kitusobozesa okuwandiika ku nsonga ezisikiriza abantu mu mawanga gonna.
Ebiba biwandiikiddwa biweerezebwa abavvuunuzi. Ebiba biwandiikiddwa bwe bimala okwekenneenyezebwa n’okukakasibwa nti biteredde bulungi, biweerezebwa eri abavvuunuzi mu nsi ez’enjawulo okuyitira ku Intaneeti. Bwe bamala okubivvuunula, babyetegereza okulaba obanga bivvuunuddwa bulungi. Bafuba okukozesa “ebigambo ebituufu era eby’amazima” ebiggirayo ddala amakulu agali mu Lungereza.—Omubuulizi 12:10.
Kompyuta zanguya omulimu. Kompyuta ku bwayo tesobola kuwandiika oba kuvvuunula, kyokka enkuluze n’ebintu ebirala ebiba ku kompyuta bisobola okuyamba abawandiisi n’abavvuunuzi okukola omulimu gwabwe mu bwangu. Abajulirwa ba Yakuwa baayiiya programu ya kompyuta eyitibwa Multilanguage Electronic Publishing System (MEPS) ebasobozesa okuwandiika ennimi ez’enjawulo, ate oluvannyuma ebyo ebiba biwandiikiddwa ne biteekebwa wamu n’ebifaananyi ebigenderako bisobole okukubibwa mu kyapa.
Lwaki tufuba okuvvuunula mu nnimi ennyingi bwe zityo, nga kw’otadde n’ezo ezoogerwa abantu abatono? Ekyo tukikola, kubanga Yakuwa “ayagala abantu aba buli ngeri okulokolebwa era bategeerere ddala amazima.”—1 Timoseewo 2:3, 4.
Ebitabo byaffe biwandiikibwa bitya?
Lwaki tuvvuunula ebitabo byaffe mu nnimi nnyingi?