LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lfb essomo 49 lup. 118-lup. 119 kat. 2
  • Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa
  • Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Similar Material
  • Yezeberi—Kkwini Omubi
    Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli
  • Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Kino Kye Kiseera Okubaako ky’Okolawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Yagumiikiriza mu Biseera Ebizibu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
lfb essomo 49 lup. 118-lup. 119 kat. 2
Abaweereza ba Yezebeeri nga bamukasuka wabweru okuyitira mu ddirisa

ESSOMO 49

Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa

Kabaka Akabu bwe yayimanga mu ddirisa ng’ali mu lubiri lwe e Yezuleeri, yalabanga ennimiro y’emizabbibu ey’omusajja ayitibwa Nabbosi. Akabu yeegomba ennimiro eyo era n’agamba Nabbosi agimuguze. Naye Nabbosi yagaana okugimuguza kubanga Yakuwa yali yagaana omuntu yenna okutunda ettaka lye yabanga asikidde. Okuba nti Nabbosi yasalawo okukola ekituufu, kyasanyusa Akabu? Nedda, kyamunyiiza bunyiiza. Yanyiiga nnyo n’aba nga takyava na mu kisenge kye era n’agaana n’okulya emmere.

Nnaabakyala Yezebeeri, mukazi wa Akabu, yali mubi nnyo era yagamba Akabu nti: ‘Ggwe kabaka wa Isirayiri. Kyonna ky’oyagala osobola okukifuna. Ettaka lya Nabbosi nja kulikufunira.’ Yezebeeri yawandiikira abakadde b’omu kibuga amabaluwa n’abagamba bawaayirize Nabbosi nti yali akolimidde Katonda era oluvannyuma bamukube amayinja bamutte. Abakadde baakola ekyo Yezebeeri kye yabagamba okukola, era oluvannyuma Yezebeeri yagamba Akabu nti: ‘Nabbosi afudde. Ennimiro y’emizabbibu kati yiyo.’

Nabbosi si ye muntu yekka ataalina musango Yezebeeri gwe yatta. Yezebeeri yatta abaweereza ba Yakuwa bangi. Yasinzanga ebifaananyi era yakola n’ebintu ebirala ebibi bingi. Yakuwa yalaba ebintu ebibi byonna Yezebeeri bye yakola. Kiki Yakuwa kye yakola?

Oluvannyuma lwa Akabu okufa, mutabani we Yekolaamu yafuuka kabaka. Yakuwa yatuma omusajja ayitibwa Yeeku okubonereza Yezebeeri n’ab’ennyumba ye.

Yeeku yalinnya eggaali lye n’agenda e Yezuleeri, Yezebeeri gye yali abeera. Yekolaamu yajjira mu ggaali lye n’asisinkana Yeeku n’amubuuza nti: ‘Ozze lwa mirembe?’ Yeeku yamuddamu nti: ‘Tewasobola kubaawo mirembe nga maama wo Yezebeeri akyakola ebintu ebibi.’ Yekolaamu yagezaako okukyusa eggaali lye adduke, naye Yeeku yamulasa akasaale n’amutta.

Yeku ng’alagira nti Yezebeeri asuulibwe wansi

Oluvannyuma Yeeku yasimbula eggaali lye n’ayolekera olubiri lwa Yezebeeri. Yezebeeri bwe yakimanya nti Yeeku yali ajja, yeekolako era n’akola ne ku nviiri ze, n’agenda mu kisenge ekya waggulu okumpi n’eddirisa n’alindirira Yeeku. Yeeku bwe yatuuka, Yezebeeri yayogera naye bubi. Yeeku yagamba abaweereza ba Yezebeeri nti: ‘Mumusuule wansi!’ Baayisa Yezebeeri mu ddirisa ne bamukasuka wansi n’afa.

Oluvannyuma, Yeeku yatta batabani ba Akabu 70 era n’amalawo mu nsi eyo okusinza kwa Bbaali. Okiraba nti Yakuwa alaba ebintu byonna ebigenda mu maaso, era nti mu kiseera kye ekigereke abaako ky’akolawo okubonereza abo abakola ebintu ebibi?

“Obusika obufunibwa mu kululunkana tebuba na mukisa ku nkomerero.”​—Engero 20:21

Ebibuuzo: Kiki Yezebeeri kye yakola okusobola okufunira Akabu ennimiro ya Nabbosi? Lwaki Yakuwa yabonereza Yezebeeri?

1 Bassekabaka 21:1-29; 2 Bassekabaka 9:1–10:30

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share