LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w11 11/15 lup. 3-5
  • Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Subheadings
  • Similar Material
  • AVUGA NG’OMULALU!
  • YEEKU YALINA OBUGGYA OLWA YAKUWA
  • SSAAYO OMWOYO OTAMBULIRE MU MATEEKA GA YAKUWA
  • Kino Kye Kiseera Okubaako ky’Okolawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Nnaabakyala Omubi Abonerezebwa
    Ebimu ku Ebyo by’Oyiga mu Bayibuli
  • Yayoleka Obuvumu, Obumalirivu, n’Obunyiikivu
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2022
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
w11 11/15 lup. 3-5

Yeeku Yalwanirira Okusinza okw’Amazima

YEEKU yalwanirira okusinza okw’amazima. Kino yakikola n’amaanyi, n’obunyiikivu, n’obuvumu, awatali kulwa, era awatali kuddirira. Yeeku yayoleka engeri ennungi naffe ze tusaanidde okuba nazo.

Katonda we yaweera Yeeku omulimu ogw’okukola, eggwanga lya Isiraeri lyali mu mbeera mbi. Mu kiseera ekyo, Yezeberi, nnamwandu wa Akabu era maama wa Kabaka Yolaamu eyali afuga mu kiseera ekyo, yali atwalirizza abantu bangi n’ebikolwa bye ebibi. Yaleetera abantu okusinza Baali mu kifo ky’okusinza Yakuwa, yatta bannabbi ba Katonda, era yaleetera abantu okwenyigira mu ‘bwenzi n’obulogo.’ (2 Bassek. 9:22; 1 Bassek. 18:4, 13) Yakuwa yasalawo okusaanyaawo ennyumba ya Akabu, nga mw’otwalidde Yolaamu ne Yezeberi. Yeeku ye yali agenda okuwoma omutwe mu kukola ekyo.

Ebyawandiikibwa bisooka okwogera ku Yeeku ng’ali wamu n’abakungu b’eggye lya Isiraeri, Abaisiraeri bwe baali balwana n’Abasuuli e Lamosugireyaadi. Yeeku yalina ekifo ekya waggulu mu ggye lya Isiraeri, era ayinza n’okuba nga ye yali omuduumizi waalyo. Nnabbi Erisa yatuma omu ku baana ba bannabbi okufuka amafuta ku Yeeku okuba kabaka era n’okumulagira okutta buli mwana ow’obulenzi ow’ennyumba ya Akabu.​​—2 Bassek. 8:28; 9:1-10.

Abakungu abalala bwe baabuuza Yeeku ensonga lwaki omu ku baana ba bannabbi yali azze gy’ali, Yeeku yali tayagala kubabuulira. Naye bwe beeyongera okumubuuza, yababuulira ekyali kireese omusajja oyo, era Yeeku awamu ne banne baatandika okukola olukwe okutta Yolaamu. (2 Bassek. 9:11-14) Kirabika abamu ku bakungu mu ggye baali tebakkiriziganya na nkola ya Akabu ne Yezeberi. Ka kibe nti kyali kityo oba nedda, Yeeku yafuba okulaba nti afuna engeri esingayo obulungi okutuukiriza omulimu ogwali gumuweereddwa.

Kabaka Yolaamu yali atuusiddwako ebisago mu lutalo era ng’addukidde mu kibuga Yezuleeri, ng’asuubira okuwonera eyo. Yeeku yali akimanyi nti bw’aba ow’okutuukiriza obulungi omulimu gwe, abantu b’omu Yezuleeri baali tebalina kumanya ekyo kye yali agenda okukola. Yeeku yagamba nti: “Waleme okubaawo anaawona n’ava mu kibuga okugenda okukibuulira mu Yezuleeri.” (2 Bassek. 9:14, 15) Oboolyawo Yeeku yali alowooza nti abamu ku basajja ba Yolaamu abaali bakyali abeesigwa gy’ali baali bajja kumulwanyisa. Yeeku yali ayagala okukakasa nti ekyo tekibaawo.

AVUGA NG’OMULALU!

Okusobola okugwa ku balabe be nga tebeetegese, Yeeku yavuga eggaali lye okuva e Lamosugireyaadi n’agenda e Yezuleeri, olugendo olwa mayiro 45. Bwe yali anaatera okutuuka, omukuumi eyali ayimiridde ku kigo yalengera “ekibiina kya Yeeku.” (2 Bassek. 9:17) Yeeku ateekwa okuba nga yagenda n’abasajja be bangi ddala okusobola okukakasa nti atuukiriza ekigendererwa kye.

Bwe yalengera Yeeku, omusajja omuvumu, ng’ali mu limu ku magaali, omukuumi yagamba nti: “Atambula ng’awulukuka.” (2 Bassek. 9:20) Bwe kiba nti Yeeku yateranga okuvuga eggaali lye ng’awulukuka, ku mulundi guno ateekwa okuba nga yali alivugira ddala ng’omulalu.

Oluvannyuma lw’okugaana okubaako ky’anyega ababaka ababiri abaali batumiddwa gy’ali, Yeeku yasisinkana Kabaka Yolaamu ne mukwano gwe Akaziya, kabaka wa Yuda, buli omu ng’ali mu ggaali lye. Yolaamu bwe yamubuuza nti: “Mirembe, Yeeku?” Yeeku yamuddamu nti: “Mirembe ki, obwenzi bwa nnyoko Yezeberi n’obulogo bwe nga bukyali bungi obwenkanidde awo?” Bwe yamuddamu bw’atyo, Yolaamu yakyusa eggaali lye adduke. Amangu ago Yeeku yakwata omutego gwe, n’alasa Yolaamu akasaale ne kamuyita mu mutima, n’agwa n’afiira mu ggaali lye. Wadde nga Akaziya yasobola okutoloka, Yeeku yamuwondera n’alagira abasajja be naye ne bamutta.​​—2 Bassek. 9:22-24, 27.

Omuntu omulala ow’ennyumba ya Akabu eyaddako okuttibwa yali Nnaabakyala Yezeberi. Yeeku yamuyita oyo “eyakolimirwa.” Yeeku bwe yatuuka mu Yezuleeri, yalaba Yezeberi ng’alingiza mu ddirisa. Yeeku yalagira abalaawe b’omu lubiri okusuula Yezeberi wansi nga bamuyisa mu ddirisa. Oluvannyuma, Yeeku yakozesa embalaasi ze okulinnyirira Yezeberi eyali ayonoonye Isiraeri yenna. N’ekyaddirira, Yeeku yatta abantu abalala bangi ab’ennyumba ya Akabu.​​—2 Bassek. 9:30-34; 10:1-14.

Wadde ng’ebikolwa eby’obukambwe tebitusanyusa, tulina okukijjukira nti mu kiseera ekyo, Yakuwa yakozesanga abaweereza be okubonereza abantu abajeemu. Ebyawandiikibwa bigamba nti: “Okuzikirira kwa Akaziya kwava eri Katonda, kubanga yagenda eri Yolaamu: kubanga bwe yajja, n’agenda ne [Yolaamu] eri Yeeku mutabani wa Nimusu Mukama gwe yali afuseeko amafuta okumalawo ennyumba ya Akabu.” (2 Byom. 22:7) Bwe yali alagira omulambo gwa Yolaamu guggibwe mu ggaali lye, Yeeku yajjukira nti ekyo kyali kituukiriza omusango Yakuwa gwe yali asalidde Akabu olw’okutta Nabosi. Ate era, Yeeku yali alagiddwa ‘okuwalana eggwanga olw’omusaayi gw’abaddu ba Katonda’ Yezeberi gwe yayiwa.​​—2 Bassek. 9:7, 25, 26; 1 Bassek. 21:17-19.

Leero, tewali muweereza wa Yakuwa n’omu alwana n’abantu abataagala kusinza okw’amazima. Katonda agamba nti: “Okuwoolera eggwanga kwange.” (Beb. 10:30) Naye okusobola okukuuma ekibiina nga kiyonjo mu by’omwoyo, oluusi abakadde mu kibiina kibeetaagisa okwoleka obuvumu ng’obwa Yeeku. (1 Kol. 5:9-13) Ate era n’abantu abalala bonna mu kibiina balina okuba abamalirivu okwewala okukolagana n’abantu ababa bagobeddwa mu kibiina.​​—2 Yok. 9-11.

YEEKU YALINA OBUGGYA OLWA YAKUWA

Ensonga lwaki Yeeku yakkiriza okukola omulimu ogwamuweebwa eragibwa mu bigambo bino bye yagamba Yekonadabu: “Jjangu tugende f[f]embi olabe obuggya bwange olwa Mukama.” Yekonadabu yakkiriza okugenda naye, bw’atyo n’alinnya eggaali lya Yeeku n’agenda naye e Samaliya. Nga bali eyo, Yeeku ‘yasala olukwe asobole okuzikiriza abaali basinza Baali.’​​—2 Bassek. 10:15-17, 19.

Yeeku yalangirira nti yali agenda kuwaayo “ssaddaaka enkulu” eri Baali. (2 Bassek. 10:18, 19) Omwekenneenya wa Bayibuli omu agamba nti: “Mu kukola ekyo, Yeeku yali abazannyira ku bwongo.” Wadde ng’ekigambo kye yakozesa “kitegeeza ‘ssaddaaka,’ era kisobola n’okutegeeza ‘okutta’ bakyewaggula.” Olw’okuba Yeeku yali ayagala bonna abasinza Baali babeewo ku olwo, bonna yabagamba okukuŋŋaanira mu nnyumba ya Baali era n’abalagira okwambala ebyambalo eby’enjawulo. “Bwe baamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa,” Yeeku yalagira abasajja be 80 okutta abasinza ba Baali bonna. Oluvannyuma yalagira ennyumba ya Baali emenyebwemenyebwe era ekifo we yali kifuulibwe kaabuyonjo, nga tekikyasaanira kusinzizaamu.​​—2 Bassek. 10:20-27.

Kyo kituufu nti Yeeku yayiwa omusaayi mungi. Naye Ebyawandiikibwa bimwogerako ng’omusajja eyali omuvumu eyanunula Isiraeri okuva mu mukono gwa Yezeberi n’ennyumba ya Akabu. Omufuzi wa Isiraeri yenna okusobola okukola ekyo Yeeku kye yakola, yalina okuba omuvumu, omumalirivu, era omunyiikivu. Enkuluze emu ennyonnyola ebigambo bya Bayibuli egamba nti: “Tegwali mulimu mwangu naye gwakolebwa ddala nga bwe gwali gulina okukolebwa. Singa oyo eyali agukola teyali muvumu, teyandisobodde kumalawo kusinza Baali mu Isiraeri.”

Tewali kubuusabuusa kwonna nti n’Abakristaayo leero beetaaga okwoleka engeri ng’eza Yeeku. Ng’ekyokulabirako, twandyeyisizza tutya singa tukemebwa okukola ekintu Yakuwa ky’akyawa? Tusaanidde okubaako ne kye tukolawo mu bwangu, okuba abavumu, era abanyiikivu nga tuziyiza ekikemo ekyo. Bwe kituuka ku kusinza okw’amazima, naffe tusaanidde okuba n’obuggya olwa Yakuwa.

SSAAYO OMWOYO OTAMBULIRE MU MATEEKA GA YAKUWA

Kyokka waliwo ekintu ekibi Yeeku kye yakola kye tusaanidde okwewala. Yeeku ‘teyaleka kugoberera ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n’ezaali mu Ddaani.’ (2 Bassek. 10:29) Naye lwaki omusajja eyalwanirira ennyo okusinza okw’amazima ate yalekawo okusinza ebifaananyi?

Yeeku ayinza okuba nga yalowooza nti olw’okuba obwakabaka bwa Isiraeri bwali bwetongodde ku bwa Yuda, kyali kyetaagisa buli bwakabaka okusinza mu ngeri ey’enjawulo. Bwe kityo, okufaananako bakabaka ba Isiraeri abaasooka, Yeeku yagezaako okulaba nti obwakabaka obwo busigala nga bweyawudde ng’alekawo okusinza ennyana. Naye kino kyalaga nti yali talina kukkiriza mu Yakuwa, eyali amufudde kabaka.

Yakuwa yasiima Yeeku olw’okuba ‘yakola ebyo ebyali ebirungi mu maaso ga Katonda.’ Wadde kyali kityo, Yeeku ‘teyassaayo mwoyo okutambulira mu mateeka ga Yakuwa Katonda wa Isiraeri n’omutima gwe gwonna.’ (2 Bassek. 10:30, 31) Bw’olowooza ku bintu ebirungi byonna Yeeku bye yali akoze, kino kiyinza okukwewuunyisa era kiyinza n’okukunakuwaza. Naye kirina kye kituyigiriza. Enkolagana yaffe ne Yakuwa tulina okugitwala ng’ekintu ekikulu ennyo. Buli lunaku, tusaanidde okukulaakulanya obwesigwa bwaffe eri Katonda nga twesomesa Ekigambo kye, nga tukifumiitirizaako, era nga tumusaba okuviira ddala ku ntobo y’omutima gwaffe. N’olwekyo, ka tube beegendereza, tuleme kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kutambulira mu mateeka ga Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna.​​—1 Kol. 10:12.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Yeeku Ayogerwako mu Byafaayo

Abantu abamu bagamba nti abantu aboogerwako mu Byawandiikibwa tebaaliyo. Kati olwo ng’oggyeko ebyo bye tusoma mu Bayibuli, waliwo obujulizi obulala obulaga nti Yeeku yaliwo?

Waliwo ebiwandiiko bya mirundi esatu okuva mu Bwasuli eky’edda ebyogera ku linnya lya kabaka wa Isiraeri oyo. Ekimu ku byo kiraga Yeeku oba omu ku babaka be ng’afukaamiridde kabaka wa Bwasuli Salumaneseri III era ng’amuwa ekirabo kye yali asabye. Ebigambo ebiriko bigamba nti: “Ekirabo okuva eri Yeeku (Ia-ú-a), omwana wa Omuli (Hu-um-ri); ampadde ffeeza, zaabu, ekibya ekya zaabu saplu, ensumbi eya zaabu, ebikopo ebya zaabu, bbaketi eza zaabu, ebbaati, omuggo gwa kabaka, (ne) puruhtu ow’embaawo [ekigambo puruhtu amakulu gaakyo tegamanyiddwa].” Yeeku teyali “mwana wa Omuli,” naye ebigambo ebyo byakozesebwanga ku bakabaka ba Isiraeri, oboolyawo olw’okuba Omuli yali mututumufu nnyo era nga ye yazimba ekibuga kya Isiraeri ekikulu, Samaliya.

Kyo kituufu nti tetulina we tuyinza kukakasiza nti Yeeku yawa kabaka wa Bwasuli ekirabo ekyo. Wadde kiri kityo, kabaka oyo ayogera ku linnya lya Yeeku emirundi esatu miramba​​—ku kiwandiiko ekyo, ku kifaananyi kya Salumaneseri, ne mu biwandiiko bya bakabaka ba Bwasuli. Obwo bukakafu bwa maanyi obulaga nti Yeeku ayogerwako mu Bayibuli, muntu eyaliyo ddala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share