Kino Kye Kiseera Okubaako ky’Okolawo
“Mulituusa wa okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri?”—1 BASSEKABAKA 18:21.
1. Lwaki ebiseera bye tulimu bya njawulo nnyo?
OKKIRIZA nti Yakuwa ye Katonda yekka ow’amazima? Era okkiriziganya n’obunnabbi bwa Baibuli obulaga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma” ez’enteekateeka ya Setaani eno embi? (2 Timoseewo 3:1) Ebyo byombi bw’oba ng’obikkiriza, awatali kubuusabuusa kino kye kiseera obeeko ky’okolawo. N’okusinga bwe kyali kibadde, obulamu bw’abantu buli mu kabi.
2. Kusinza kwa ngeri okwali mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi mu kiseera ky’obufuzi bwa Kabaka Akabu?
2 Mu kyasa eky’ekkumi B.C.E., eggwanga lya Isiraeri lyayolekagana n’okusalawo okw’amaanyi. Baalina okusalawo ani gwe banaaweereza. Ng’akubirizibwa mukyala we Yezeberi, Kabaka Akabu yatumbula okusinza Baali mu obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Baali oyo yalinga atwalibwa okuba katonda eyatonnyesanga enkuba era eyabazanga emmere. N’olwekyo, abantu bangi baavvunnamiranga ekifaananyi kya katonda waabwe oyo. Okusobola okuleetera Baali okubaza emmere yaabwe n’okwaza ebisolo byabwe, abantu baalina okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’abakazi abenzi abaabeeranga mu yeekaalu zaabwe. Ate era baalina n’akalombolombo ak’okwesalasala obwambe okutuusa omusaayi lwe gwakulukutanga.—1 Bassekabaka 18:28.
3. Okusinza Baali bwe kwatandikibwawo mu Isiraeri, kiki ekyatuuka ku baweereza ba Katonda, era kiki abasinga obungi kye baakola?
3 Abaisiraeri nga 7,000 be baagana okwenyigira mu kusinza okwo, okwalimu okusinza ebifaananyi, okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu, n’ebikolwa eby’ettemu. (1 Bassekabaka 19:18) Abaisiraeri abo baanywerera ku ndagaano gye baali bakoze ne Yakuwa Katonda era ekyo kyabaviirako okuyigganyizibwa. Ng’ekyokulabirako, Kwiini Yezeberi yatta bannabbi ba Yakuwa bangi. (1 Bassekabaka 18:4, 13) Olw’okuba baali batya okuttibwa, Abaisiraeri abasinga obungi baagattika enzikiriza, nga bagezaako okusanyusa Yakuwa ne Baali. Kyokka, Omuisiraeri yenna bwe yavanga ku Yakuwa n’atandika okusinza bakatonda ab’obulimba, yatwalibwanga okuba kyewaggula. Yakuwa yali asuubiza okuwa Abaisiraeri emikisa bwe bandimwagadde era ne bakwata ebiragiro bye. Ate era yali abagambye nti bwe batandimusinzizza ye yekka, yandibadde abazikiriza.—Ekyamateeka 5:6-10; 28:15, 63.
4. Bikolwa ki Yesu n’abatume bye baalagulako, ebyandibadde mu Kristendomu?
4 Embeera bw’etyo bw’eri ne mu Kristendomu leero. Abo abali mu Kristendomu beeyita Bakristaayo kyokka ng’ennaku ze bakuza, enneeyisa yaabwe, n’enjigiriza zaabwe bikontana n’enjigiriza za Baibuli. Okufaananako Yezeberi, abakulembeze b’amaddiini ga Kristendomu be bawomye omutwe mu kuyigganya Abajulirwa ba Yakuwa. Ebyafaayo biraga nti babaddenga beenyigira mu by’obufuzi nga bawagira entalo era be bavunaanyizibwa olw’okutirimbulwa kw’obukadde n’obukadde bw’abantu abali mu nzikiriza zaabwe. Ekyo kye bakola, Baibuli ekiyita obwenzi obw’eby’omwoyo. (Okubikkulirwa 18:2, 3) Ng’oggyeko ekyo, abo abali mu Kristendomu nga mw’otwalidde n’abakulembeze baabwe benyigidde nnyo mu bwenzi. Ebyo bye bakola Yesu Kristo n’abatume be baali baabiragulako dda. (Matayo 13:36-43; Ebikolwa 20:29, 30; 2 Peetero 2:1, 2) Kati olwo, kiki ekinaatuuka ku bantu abo abasukka mu kawumbi abali mu Kristendomu? Era buvunaanyizibwa ki abasinza ba Yakuwa bwe balina eri abantu abo bonna n’abalala ababuzaabuziddwa eddiini ez’obulimba? Okusobola okufuna eky’okuddamu mu bibuuzo ebyo, ka twekenneenye ebyaliwo nga ‘bazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri.’ —2 Bassekabaka 10:28.
Okwagala kwa Katonda eri Abantu be Abeewaggudde
5. Yakuwa yalaga atya okwagala eri abantu be abaali beewaggudde?
5 Yakuwa Katonda tasanyukira kubonereza bantu be ababa bamuvuddeko. Olw’okuba ye Kitaffe ow’okwagala, ayagala ababi beenenye era badde gyali. (Ezeekyeri 18:32; 2 Peetero 3:9) Kino kyeyoleka bulungi mu biseera bya Akabu ne Yezeberi, Yakuwa bwe yatuma bannabbi be okulabula abantu be ku ekyo ekyali kigenda okutuuka ku basinza ba Baali. Eriya yali omu ku bannabbi abo. Ng’abantu bamaze okulaba ekyeya eky’amaanyi ekyalagulwako, Eriya yagamba Kabaka Akabu okukunga Abaisiraeri ne bannabbi ba Baali bakuŋŋaanire ku Lusozi Kalumeeri.—1 Bassekabaka 18:1, 19.
6, 7. (a) Eriya bwe yategeera ekizibu ky’abantu, yababuuza kibuuzo ki? (b) Kiki bannabbi ba Baali kye baakola? (c) Kiki Eriya kye yakola?
6 Abantu bonna baakuŋŋaanira mu kifo awaali ekyoto kya Yakuwa ekyali ‘kyamenyebwa’ oboolyawo olw’okusanyusa Yezeberi. (1 Bassekabaka 18:30, NW) Eky’ennaku, ku Yakuwa ne Baali, Abaisiraeri abaaliwo baali tebamanyi bulungi ani asobola kubatonnyeseza nkuba. Ku lukuŋŋaana olwo, waaliwo bannabbi ba Baali 450, ate nga Eriya ye nnabbi wa Yakuwa yekka eyaliwo. Eriya bwe yategeera ekizibu kyabwe yababuuza nti: “Mulituusa wa okutta aga n’aga nga mulowooza wabiri?” Yeeyongera n’abagamba nti: “[Yakuwa] oba ye Katonda, mumugoberere; naye oba Baali, kale mumugoberere ye.” Okusobola okuyamba Abaisiraeri okutegeera nti Yakuwa ye Katonda yekka asaanidde okusinzibwa, Eriya yaleeta ekiteeso. Yabagamba basale ente bbiri emu bagiteeke ku kyoto kya Yakuwa ate endala bagiteeke ku kya Baali. Katonda eyandisobodde okwokya ekiweebwayo kye, ye yandibadde Katonda ow’amazima. Bannabbi ba Baali baakola nga Eriya bwe yagamba ne baateeka ekiweebwayo ku kyoto kya katonda waabwe era ne batandika okumukowoola nga bagamba nti: “Ai Baali, tuwulire.” Kino baakikolera essaawa eziwerako naye nga tabaanukula. Oluvannyuma Eriya yatandika okubaduulira. N’ekyavaamu, beesalasala obwambe okutuusa omusaayi lwe gwakulukuta.—1 Bassekabaka 18:21, 26-29.
7 Oluvannyuma lwa katonda waabwe obutabaako ky’akolawo, Eriya yatandika okuteekateeka ekiweebwayo kye. Yasooka kuddaabiriza kyoto kya Yakuwa era oluvannyuma n’akiteekako ente gye yali asaze. Bwe yamala, yalagira bayiwe mu kyoto epippa z’amazzi nnya. Kino baakikola emirundi esatu okutuusa ekyoto kyonna lwe kyajjula amazzi era ne gajjula ne mu nsalosalo ezaali zikyetoolodde. Oluvannyuma Eriya yatandika okusaba ng’agamba nti: “Ai [Yakuwa] Katonda wa Ibulayimu, owa Isaaka ne Isiraeri, kitegeerebwe leero nga ggwe Katonda mu Isiraeri, era nga nze ndi muddu wo, era nga nkoze bino byonna lwa kigambo kyo. Mpulira, ai [Yakuwa], mpulira, abantu bano bamanye nga ggwe, Mukama, ggwe Katonda, era ng’okyusizza emitima gyabwe okuddayo.”—1 Bassekabaka 18:30-37.
8. Katonda yaddamu atya okusaba kwa Eriya era oluvannyuma kiki ekyakolebwa?
8 Katonda ow’amazima yaddamu okusaba kwa Eriya ng’asindika omuliro okuva mu ggulu ne gwokya ekiweebwayo kyonna wamu n’ekyoto. Omuliro ogwo era gwakaliza amazzi gonna agaali mu nsalosalo. Ng’ekyo kiteekwa okuba kyewuunyisa nnyo Abaisiraeri! Abamu “bwe baakiraba ne bavuunama amaaso gaabwe: ne bagamba nti [Yakuwa] ye Katonda; [Yakuwa] ye Katonda.” Oluvannyuma Eriya yalagira Abaisiraeri nti: “Mukwate bannabbi ba Baali: waleme okuwona n’omu.” Bwe kityo bannabbi ba Baali bonna 450 baazikirizibwa ku Lusozi Kalumeeri.—1 Bassekabaka 18:38-40.
9. Kizibu ki abasinza ab’amazima kye beeyongera okwolekagana nakyo?
9 Ku lunaku olwo lwennyini, Yakuwa yatonnyesa enkuba wadde nga yali emaze emyaka esatu n’ekitundu nga tetonnya. (Yakobo 5:17, 18) Abaisiraeri bonna bwe baali baddayo eka bateekwa okuba nga baagenda banyumya ku ngeri Yakuwa gye yeeraze okuba Katonda ow’amazima. Kyokka, bo abasinza ba Baali baasigala bakyasinza katonda waabwe wadde nga baali beerabiddeko n’agaabwe ku ebyo ebyali bibaddewo. Ate era, ne Yezeberi yeeyongera okuyigganya abaweereza ba Yakuwa. (1 Bassekabaka 19:1, 2; 21:11-16) Bwe kityo, tekyali kyangu eri abaweereza ba Katonda abo okukuuma obugolokofu. Kyandibanguyidde okusigala nga basinza Yakuwa yekka okutuusa ku lunaku lwe yandizikiririzzaako abasinza ba Baali?
Laga Oludda lw’Oliko
10. (a) Mulimu ki Abakristaayo abaafukibwako amafuta gwe bakola mu kiseera kino? (b) Kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okwanukula omulanga oguli mu Okubikkulirwa 18:4?
10 Mu kiseera kyaffe, Abakristaayo abaafukibwako amafuta bakola omulimu gwe gumu ng’ogwa Eriya. Balabula abantu ab’amawanga gonna ku kabi akagenda okutuuka ku madiini ga Kristendomu. N’ekivuddemu, abantu bangi basazeewo okuva mu ddiini ezo. Beewaddeyo eri Yakuwa era ne bafuuka abagoberezi ba Yesu Kristo ababatize. Mu kukola kino, baanukudde omulanga ogugamba nti: “Mukifulumemu, abantu bange, muleme okussa ekimu n’ebibi bye era muleme okuweebwa ku bibonyoobonyo bye.”—Okubikkulirwa 18:4.
11. Kiki ekyetaagisa okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa?
11 Kyokka, waliwo n’abalala bangi abaagala amawulire amalungi Abajulirwa ba Yakuwa ge babuulira naye nga tebasalawo. Abamu ku bantu bano bayinza n’okuba bajja mu nkuŋŋaana zaffe ez’Ekikristaayo, gamba nga ku ky’Ekiro kya Mukama waffe, ne mu nkuŋŋaana za disitulikiti. Tukubiriza abalinga abo okulowooza ku bigambo bya Eriya ebigamba nti: “Mulituusa wa okutta aga n’aga?” (1 Bassekabaka 18:21) Abantu abo kibeetaagisa okubaako kye bakolawo mu bwangu. Basaanidde okukola enkyukakyuka ezeetaagisa basobole okwewaayo era bafuuke abaweereza ba Yakuwa ababatize. Ekyo bwe batakikola, kiyinza okubaviirako okusubwa obulamu obutaggwaawo.—2 Abasessaloniika 1:6-9.
12. Abakristaayo abamu bali mu mbeera ki mu by’omwoyo era kiki kye basaanidde okukola?
12 Eky’ennaku, waliwo n’Abakristaayo abamu ababatize abaddiridde mu by’omwoyo. (Abaebbulaniya 10:23-25; 13:15, 16) Abamu baweddemu amaanyi olw’okutya okuyigganyizibwa, okweraliikirira eby’obulamu, okwagala okugaggawala oba olw’okwagala ennyo eby’amasanyu. Yesu yagamba nti ebintu ng’ebyo byandireetedde abamu ku bagoberezi be okwesittala n’okuggwamu amaanyi mu by’omwoyo. (Matayo 10:28-33; 13:20-22; Lukka 12:22-31; 21:34-36) Mu kifo ‘ky’okutta aga n’aga,’ ng’Abaisiraeri bwe baakola, abantu ng’abo basaanidde ‘okwenenya’ n’okuddamu okuba ‘abanyiikivu’ basobole okutuukiriza ekyo kye beeyama bwe beewaayo eri Katonda.—Okubikkulirwa 3:15-19.
Enkomerero y’Amadiini ag’Obulimba
13. Nnyonnyola embeera eyaliwo mu Isiraeri mu kiseera we baalondera Yeeku okuba kabaka.
13 Okusobola okutegeera ensonga lwaki kikulu okulaga oludda lw’oliko, weetegereze ekyaliwo mu Isiraeri oluvannyuma lw’emyaka nga 18 nga Yakuwa amaze okweraga nga bw’ali Katonda ow’amazima ku Lusozi Kalumeeri. Nga tekisuubirwa, Yakuwa yazikiriza abasinza ba Baali era kino kyaliwo mu kiseera kya Erisa eyaddira Eriya mu bigere. Mu kiseera ekyo, Yekolaamu mutabani wa Kabaka Akabu ye yali afuga Isiraeri, era ne Yezeberi yali akyali mulamu ng’akola nga nnamasole. Erisa yatuma omuweereza we mu kyama okufuka amafuta ku Yeeku omudduumizi w’eggye lya Isiraeri okulaga nti ye yali agenda okuba kabaka omuppya. Mu kiseera ekyo, Yeeku yali Lamosugireyaadi ekyali ebuvanjuba wa Yoludaani ng’aduumira eggye lya Isiraeri. Ate Kabaka Yekolaamu ye yali mu kiwonvu kya Yezureeri ekiri okumpi ne Megiddo ng’apookya n’ebiwundu bye yali afunidde mu lutalo.—2 Bassekabaka 8:29–9:4.
14, 15. Yeeku yaweebwa mulimu ki era kiki kye yakola?
14 Yakuwa yagamba Yeeku nti: “Olikuba ennyumba ya Akabu mukama wo mpalane eggwanga ly’omusaayi gw’abaddu bange bannabbi, n’omusaayi gw’abaddu bonna aba Mukama eri omukono gwa Yezeberi. Kubanga ennyumba yonna eya Akabu erizikirira . . . n’embwa ziririira Yezeberi mu musiri ogw’e Yezuleeri, so tewaliba wa kumuziika.”—2 Bassekabaka 9:7-10.
15 Yeeku yali musajja akolerawo. Yasitukiramu n’akwata eggaali lye, n’ayolekera e Yezureeri. Omukuumi bwe yalengera nga Yeeku y’awulumula eggaali, yategeeza Kabaka Yekolaamu. Yekolaamu olwakiwulira, naye yasitukiramu n’akwata eggaali lye n’agenda okusisinkana Yeeku omuduumizi w’eggye. Bwe yamusisinkana yamubuuza nti: “Mirembe, Yeeku?” Yeeku yamuddamu nti: “Mirembe ki, obwenzi bwa nnyoko Yezeberi n’obulogo bwe nga bukyali bungi obwenkanidde awo?” Kabaka Yekolaamu bwe yali agezaako okudduka Yeeku n’aggyayo omutego gwe n’amulasa akasaale mu mutima.—2 Bassekabaka 9:20-24.
16. (a) Kusoomooza ki abakuumi ba Yezeberi kwe baali boolekaganye nakwo? (b) Ekyo Yakuwa kye yali alagudde ku Yezeberi kyatuukirira kitya?
16 Oluvannyuma lw’ekyo, Yeeku yavugirawo eggaali lye n’ayolekera ekibuga. Bwe yatuuka mu kibuga yasanga Yezeberi ali mu ddirisa nga yeekozeeko n’anekaneka. Yezeberi bwe yalaba Yeeku yamugamba ebigambo ebitiisatiisa. Nga tafuddeyo ku bigambo ebyo, Yeeku yabuuza abaali mu nnyumba nti: “Ani ali ku lwange, ani?” Abakuumi babiri oba basatu bwe baalingiza mu ddirisa Yeeku n’abagamba nti: “Mumusuule wansi.” Abakuumi abo baayolekagana n’okusoomooza kwa maanyi kubanga baalina okulaga oludda lwe baaliko. Amangu ago baakwata Yezeberi ne bamusuula wansi era embalaasi za Yeeku ne zimulinnyirira, bw’atyo omuwagizi wa Baali lukulwe n’azikirira. Bwe baagenda okukima omulambo gwe okuguziika, baasanga embwa zimulidde nga Yakuwa bwe yali alagudde.—2 Bassekabaka 9:30-37.
17. Ekyo ekyatuuka ku Yezeberi kitukakasa ki ku ekyo ekinaabaawo mu biseera eby’omu maaso?
17 Nga Yezeberi bwe yazikirizibwa mu ngeri embi ennyo bw’etyo, n’omwenzi ow’akabonero ayitibwa “Babulooni ekinene” naye bw’atyo bw’ajja kuzikirizibwa. Omwenzi oyo akiikirira amadiini ag’obulimba agaasibuka mu kibuga Babulooni eky’edda. Amadiini ago bwe ganaamala okuzikirizibwa Yakuwa Katonda ajja kukyukira abo bonna abawagira enteekateeka ya Setaani abanaaba bakyasigaddewo. Na bano bajja kuzikirizibwa waddewo ensi empya ey’obutuukirivu.—Okubikkulirwa 17:3-6; 19:19-21; 21:1-4.
18. Oluvannyuma lw’okuzikirizibwa kwa Yezeberi kiki ekyatuuka ku basinza ba Baali abaali mu Isiraeri?
18 Oluvannyuma lwa Kabaka Yeeku okuzikiriza Yezeberi, yasitukiramu n’agenda okuzikiriza ab’ennyumba ya Akabu n’abakungu be. (2 Bassekabaka 10:11) Kyokka, mu Isiraeri mwali mukyalimu abasinza ba Baali bangi. Olw’okuba yalina ‘obuggya ku lwa Mukama,’ Yeeku nabo yasalawo okubazikiriza. (2 Bassekabaka 10:16) Nga yeefuula omusinza wa Baali, Yeeku yakola embaga ey’amaanyi mu yeekaalu ya Baali, Akabu gye yazimba mu Samaliya. Yayita abasinza ba Baali bonna abaali mu Isiraeri ku mbaga eyo era buli omu teyalutumira mwana. Nga bonna bakuŋŋaanidde mu yeekaalu omwo, Yeeku yalagira abasajja be ne babagwaako kiyifuyifu era ne babatta bonna. “Bw’atyo Yeeku bwe yazikiriza Baali okumumalawo mu Isiraeri,” bw’etyo Baibuli bw’egamba.—2 Bassekabaka 10:18-28.
19. “Ekibiina ekinene” eky’abasinza ba Yakuwa abeesigwa banaafuna mikisa ki mu biseera eby’omu maaso?
19 Ng’okusinza Baali bwe kwamalibwawo mu Isiraeri, n’eddiini ez’obulimba nazo zijja kuggibwawo. Olunaku olw’okuzikiriza amadiini ago bwe lunaaba lutuuse, onoobeera ku ludda lw’ani? Kino kye kiseera okulaga oludda lw’oliko osobole okubeera mu ‘kibiina ekinene’ abanaayita ‘mu kubonaabona okungi.’ Yakuwa bw’anaamala okuzikiriza “omwenzi omukulu eyayonoona ensi n’obwenzi bwe,” ojja kusanyuka nnyo era omutendereze. Ng’oli wamu n’abasinza abalala ab’amazima, mujja kuyimbira wamu n’ebitonde eby’omu ggulu nti: “Aleruuya: kubanga Mukama Katonda waffe Omuyinza w’ebintu byonna afuga.”—Okubikkulirwa 7:9, 10, 14; 19:1, 2, 6.
Ebibuuzo eby’Okufumiitirizaako
• Isiraeri yatuuka etya okusinza Baali?
• Bintu ki Baibuli bye yalagulako ebyandikoleddwa abo abeeyita Abakristaayo?
• Yeeku yamalawo atya okusinza Baali?
• Kiki omuntu ky’alina okukola okusobola okuwonawo ku lunaku olw’okuzikiririzaako amadiini ag’obulimba?
[Mmaapu eri ku lupapula 9]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu magazini)
Soko
Afeki
Kerukasi
Yokuneamu
Megido
Taanaki
Dosani
SAMALIYA
Endoli
Sunemu
Ofula
Yezuleeri
Ibuleamu (Gasulimmoni)
Tiruza
Besusemesi
Besuseani (Besusani)
Yabesugireyaadi?
Aberumekola
Ennyumba ya Aluberi
Lamosugireyaadi
Ensozi
Olusozi Kalumeeri
Olusozi Taboli
Mole
Olusozi Girubowa
[Ennyanja]
Ennyanja Meditereniyani
Ennyanja ey’e Ggaliraaya
[Omugga]
Omugga Yoludaani
[Oluzzi]
Oluzzi lwa Kalodi
[Ensibuko y’ekifaananyi]
Based on maps copyrighted by Pictorial Archive (Near Eastern History) Est. and Survey of Israel
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 10]
Abasinza ab’amazima balina okunyiikirira okubuulira amawulire g’Obwakabaka n’okubaawo mu nkuŋŋaana
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]
Okufaananako Yeeku abo bonna abaagala okuwonawo ku lunaku lwa Yakuwa balina okubaako kye bakolawo mu bwangu