OLUYIMBA 104
Omwoyo Omutukuvu Kirabo Katonda ky’Atuwa
Printed Edition
	- 1. Yakuwa oli musaasizi nnyo; - Osinga emitima gyaffe. - Tutikkule emigugu gyaffe; - ’Mwoyo gwo ’mutukuvu gutuwe. 
- 2. Twonoona mu maaso go, Kitaffe; - Emirundi mingi tusobya. - Tukwegayirira otuwenga - Omwoyo gwo gutuluŋŋamyenga. 
- 3. Bwe tuba tuweddemu amaanyi, - Omwoyo gwo gutuzza buggya; - Tusab’o gutuwenga bulijjo - Kubanga tugwetaagira ddala. 
(Laba ne Zab. 51:11; Yok. 14:26; Bik. 9:31.)