LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 1/1 lup. 6-9
  • Mwoyo Omutukuvu—Amaanyi Ge Weetaaga mu Bulamu Bwo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Mwoyo Omutukuvu—Amaanyi Ge Weetaaga mu Bulamu Bwo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Subheadings
  • Similar Material
  • “Musabenga, Muliweebwa”
  • Okutumbiira “n’Ebiwaawaatiro ng’Empungu”
  • Okukulemberwa Omwoyo Gwa Katonda—Mu Kyasa Ekyasooka ne Leero
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Mwoyo Omutukuvu Kye Ki?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Tambulira mu Mwoyo Otuukirize Okwewaayo Kwo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Lwaki Twetaaga Okukulemberwa Omwoyo gwa Katonda?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 1/1 lup. 6-9

Mwoyo Omutukuvu​—Amaanyi Ge Weetaaga mu Bulamu Bwo

‘TONGOBA w’oli; so tonziggyako omwoyo gwo omutukuvu.’ (Zabbuli 51:11) Bw’atyo Kabaka Dawudi bwe yasaba oluvannyuma lw’okukola ekibi ekya maanyi.

Omwoyo omutukuvu gwali guyambye Dawudi okumala emyaka mingi. Bwe yali ng’akyali mu myaka gye egy’obutiini, gwamuyamba okuwangula Goliyaasi​—omujaasi eyali ow’entiisa. (1 Samwiri 17:45-50) Era gwali gumuyambye okuwandiika ezimu ku zabbuli ezisingayo obulungi. Dawudi yagamba nti “Omwoyo gwa Mukama gwayogerera mu nze, ekigambo kye ne kiba ku lulimi lwange.”​—2 Samwiri 23:2.

Yesu Kristo naye yakikakasa nti Dawudi yalina omwoyo omutukuvu. Lumu, Yesu yagamba abaali bamuwuliriza nti: “Ng’aliko omwoyo omutukuvu, Dawudi kennyini yagamba, ‘Yakuwa yagamba Mukama wange nti: “Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo okutuusa lwe nditeeka abalabe bo wansi w’ebigere byo.”’” (Makko 12:36; Zabbuli 110:1) Yesu yali akimanyi nti omwoyo omutukuvu gwe gwasobozesa Dawudi okuwandiika zabbuli ze. Ddala omwoyo ogwo omutukuvu naffe gusobola okutuyamba?

“Musabenga, Muliweebwa”

Oyinza okuba nga toliwandiika zabbuli, naye oyinza okwolekagana n’ebizibu eby’amaanyi ebiringa Goliyaasi omuwagguufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Isabel.a Omwami we yamwabulira n’awasa omuwala omuto. Yamuleka n’ebbanja eddene, era teyamuwanga buyambi bwonna okulabirira bawala baabwe ababiri abato. Agamba nti, “Muli nnawulira nga mpisiddwa ng’eki ntu ekitagasa. Wadde kyali kityo, okuva lwe yandekawo, omwoyo gwa Katonda gunnyambye okuguma.”

Ddala Isabel yali asuubira okufuna omwoyo omutukuvu nga talina ky’akozeewo? Nedda, yeegayiriranga Katonda buli lunaku amuwe omwoyo omutukuvu. Yali akimanyi nti yeetaaga amaanyi ga Katonda okusobola okwaŋŋanga ebiseera eby’omu maaso n’obuvumu, okulabirira obulungi abaana be, n’okuddamu okuwulira nti akyali wa mugaso. Yakolera ku bigambo bya Yesu bino: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo.”​—Matayo 7:7.

Roberto naye yawulira nga yali yeetaaga omwoyo gwa Katonda okusobola okumuyamba okuvvuunuka ekizibu kye yalina. Yalina omuze ogw’okunywa taaba n’ebiragalalagala ebirala. Omuze guno yagulwanyisa okumala emyaka ebiri, naye emirundi mingi yalemererwanga. Roberto agamba nti, “Owulira bubi nnyo bw’olekera awo okukozesa ebiragalalagala. Buli lunaku muli oba owulira ng’obiyoya.”

Roberto yeeyongera n’agamba nti, “Naye nnali mumalirivu okukyusa obulamu bwange nsobole okuweereza Katonda mu ngeri gy’asiima. Nnagezaako nnyo okujjuza ebirowoozo byange n’ebintu ebirungi okuva mu Baibuli. Buli lunaku, nneegayiriranga Katonda ampe amaanyi nsobole okulongoosa embeera y’obulamu bwange. Nnali nkimanyi nti sisobola kuvvuunuka muze guno ku bwange. Era nnalaba engeri Yakuwa gye yaddamu okusaba kwange, naddala bwe nnabanga mpeddemu amaanyi oluvannyuma lw’okulemererwa ne nziramu okukozesa ebiragalalagala. Ndi mukakafu nti omwoyo gwa Katonda omutukuvu gwe gwampa amaanyi; awatali mwoyo ogwo sandisobodde kuvvuunuka muze gwange.”​—Abafiripi 4:6-8.

Okutumbiira “n’Ebiwaawaatiro ng’Empungu”

Okufaananako Isabel ne Roberto, omwoyo omutukuvu guyambye Abajulirwa ba Yakuwa bangi. Osobola okufuna amaanyi ga Yakuwa agakola, agaakozesebwa mu kutonda obutonde bwonna, bw’oba ng’ogaagala. Katonda mwetegefu okukuwa omwoyo gwe bw’onoofuba okugumusaba. Naye okusobola okufuna omwoyo ogwo, weetaaga okuyiga amazima agamukwatako era n’okukola by’ayagala.​—Isaaya 55:6; Abebbulaniya 11:6.

Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okuweereza obulungi Katonda era n’okwaŋŋanga ekizibu kyonna ky’oyinza okwolekagana nakyo. Baibuli etukakasa nti: “[Yakuwa] awa amaanyi abazirika; n’oyo atalina buyinza amwongerako amaanyi. . . . Abo abalindirira Mukama baliddamu obuggya amaanyi gaabwe; balitumbiira n’ebiwaawaatiro ng’empungu; balidduka mbiro ne batakoowa; balitambula ne batazirika.”​—Isaaya 40:28-31.

[Obugambo obuli wansi]

a Amannya agamu gakyusiddwa.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 8]

‘Buli lunaku, nneegayiriranga Katonda ampe amaanyi. Nnali nkimanyi nti sisobola kuvvuunuka muze guno ku bwange. Era nnalaba engeri Yakuwa gye yaddamu okusaba kwange’

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 7]

ENGERI OMWOYO OMUTUKUVU GYE GUKOLAMU

Katonda yakozesa omwoyo omutukuvu okutonda ensi n’ebintu ebirala byonna. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba nti: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo. Otuma omwoyo gwo, ne bitondebwa.”​—Zabbuli 104:24, 30; Olubereberye 1:2; Yobu 33:4.

Omwoyo omutukuvu gwaluŋŋamya abasajja abatya Katonda okuwandiika Baibuli. Omutume Pawulo yagamba nti: “Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda, era kigasa.” (2 Timoseewo 3:16) Ekigambo ky’Oluyonaani ekyavvuunulwa nti “kyaluŋŋamizibwa Katonda” butereevu kitegeeza nti “Katonda ye yakifuuwamu omukka.” Omukka gwa Yakuwa oba omwoyo gwe, gwe gwawa abo abaawandiika Baibuli obulagirizi, ne basobola okuwandiika “ekigambo kya Katonda.”​—1 Abassessaloniika 2:13.

Omwoyo omutukuvu gwasobozesa abaweereza ba Katonda okulagula ebyo byennyini ebyandibaddewo mu biseera eby’omu maaso. Omutume Peetero yagamba nti: “Tewali bunnabbi mu Byawandiikibwa busibuka mu bantu. Kubanga tewali mulundi na gumu obunnabbi lwe bwali buleeteddwa olw’okwagala kw’abantu, naye abantu baayogeranga ebyava eri Katonda nga balina obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu.”​—2 Peetero 1:20, 21; Yoweeri 2:28.

Omwoyo omutukuvu gwayamba Yesu n’abasajja abalala abaalina okukkiriza okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda n’okukola eby’amagero. Yesu yagamba nti: “Omwoyo gwa Yakuwa guli ku nze, kubanga yanfukako amafuta okubuulira abaavu amawulire amalungi, yantuma okubuulira abasibe nti bajja kuteebwa n’abazibe b’amaaso nti bajja kulaba.”​—Lukka 4:18; Matayo 12:28.

[Akasanduuko/​Ebifaananyi ebiri ku lupapula 9]

ENGERI OMWOYO OMUTUKUVU GYE GUYINZA OKUTUYAMBAMU

Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okulwanyisa ebikemo era n’okuvvuunuka emize emibi. Omutume Pawulo yagamba nti: “Katonda mwesigwa, tajja kubaleka kukemebwa kusukka ku kye muyinza okugumira, naye bwe mukemebwa ajja kubateerawo obuddukiro musobole okugumiikiriza.” ​—1 Abakkolinso 10:13.

Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okukulaakulanya engeri ezisanyusa Katonda. “Ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza, obukkakkamu, okwefuga.”​—Abaggalatiya 5:22, 23.

Omwoyo omutukuvu gusobola okukuyamba okugumira ebizibu. “Nnyinza byonna olw’oyo ampa amaanyi.”​—Abafiripi 4:13.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share