LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • lmd essomo 6
  • Totya Kubuulira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Totya Kubuulira
  • Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ekyo Yesu Kye Yakola
  • Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?
  • Koppa Yesu
  • Koppa Yesu ng’Obuulira n’Obuvumu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Obuulira n’Obuvumu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Yogera Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Weeyongere Okubuulira Ekigambo kya Katonda n’Obuvumu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
See More
Yoleka Okwagala—Ng’ofuula Abantu Abayigirizwa
lmd essomo 6

OKUTANDIKA OKUNYUMYA N’ABANTU

Yesu ng’agamba Zaakayo akke wansi okuva ku muti, era abantu abaliwo beewuunya.

Luk. 19:1-7

ESSOMO 6

Totya Kubuulira

Omusingi: “Katonda waffe yatusobozesa okuba abavumu ne tubabuulira amawulire . . . amalungi.”​—1 Bas. 2:2.

Ekyo Yesu Kye Yakola

Yesu ng’agamba Zaakayo akke wansi okuva ku muti, era abantu abaliwo beewuunya.

VIDIYO: Yesu Abuulira Zaakayo

1. Laba VIDIYO, oba soma Lukka 19:​1-7, oluvannyuma ofumiitirize ku bibuuzo bino:

  1. Lwaki abantu abamu bayinza okuba nga baali beewala okubuulira Zaakayo?

  2. Naye kiki ekyaleetera Yesu okumubuulira amawulire amalungi?

Kiki Kye Tuyigira ku Yesu?

2. Twetaaga okuba abavumu okusobola okubuulira abantu aba buli ngeri amawulire amalungi agakwata ku Bwakabaka.

Koppa Yesu

3. Weesige Yakuwa. Omwoyo omutukuvu gwayamba Yesu okubuulira amawulire amalungi, naawe gusobola okukuyamba. (Mat. 10:​19, 20; Luk. 4:18) Saba Yakuwa akuyambe okuba omuvumu osobole okubuulira abo b’otya okubuulira.​—Bik. 4:29.

4. Tosalira bantu musango. Oyinza okutya okubuulira abantu abamu olw’endabika yaabwe, olw’okuba bagagga nnyo, olw’engeri gye batambuzaamu obulamu bwabwe, oba olw’eddiini yaabwe. Naye kijjukire nti:

  1. Yakuwa ne Yesu basobola okumanya ekiri ku mutima gw’omuntu, naye ffe tetusobola.

  2. Tewali muntu Yakuwa gw’atasobola kulaga busaasizi.

5. Yogera nga weekakasa naye ng’ossaamu abalala ekitiibwa. (Mat. 10:16) Weewale okuwakana n’abantu. Komya emboozi mu ngeri ey’obukkakkamu omuntu bw’aba ng’ayagala kuwakana buwakanyi oba ng’owulira nti oyinza okutuusibwako obulabe.​—Nge. 17:14.

LABA NE

Bik. 4:31; Bef. 6:​19, 20; 2 Tim. 1:7

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share