LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 3/1 lup. 3-4
  • Emisingi gy’Osalawo Okutambulirako

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Emisingi gy’Osalawo Okutambulirako
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Misingi ki Gye Tulina Okulondawo?
  • Emisingi gya Katonda Giyinza Okukuganyula
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Kolera ku Misingi gya Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Amateeka ga Katonda Gatuganyula Gatya?
    Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda!
  • Kkiriza Amateeka ga Katonda n’Emisingi Gye Okutendeka Omuntu Wo ow’Omunda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2018
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 3/1 lup. 3-4

Emisingi gy’Osalawo Okutambulirako

OLI muntu alina emisingi gy’ogoberera? Oba okitwala nti okubaako n’emisingi gy’ogoberera tekikyali ku mulembe? Amazima gali nti, buli omu alina emisingi gy’agoberera era gy’atwala okuba nti mikulu. Okusinziira ku The New Shorter Oxford English Dictionary, omusingi guyinza okunnyonnyolwa ‘ng’etteeka omuntu ly’akozesa okusalawo ekituufu.’ Emisingi gikola kinene nnyo ku ngeri gye tusalawo era n’engeri gye tutambuzaamu obulamu bwaffe. Giyinza okukola nga compass (akuuma akayamba omuntu okumanya ensonda z’ensi gye ziyolekedde).

Ng’ekyokulabirako, Yesu yakubiriza abagoberezi be okugoberera Etteeka ery’Omuwendo erisangibwa mu Matayo 7:12: “Kale byonna bye mwagala abantu okubakola mmwe, nammwe mubakolenga bo bwe mutyo.” Abagoberezi ba Confucius baagoberera emisingi egissa essira ku mpisa ennungi gamba nga ekisa, obwetoowaze, okuwa abalala ekitiibwa, n’obwesigwa. N’abantu abatali banyiikivu nnyo mu bya ddiini, balina bye batwala ng’ebikulu oba emisingi gye bagoberera mu bulamu bwabwe.

Misingi ki Gye Tulina Okulondawo?

Kyokka, tulina okukijjukira nti emisingi giyinza okuba emirungi oba emibi. Ng’ekyokulabirako, emyaka egisukka mu kkumi egiyise, abantu bangi bakubiriziddwa endowooza y’okwefaako bokka. Wadde nga bangi bayinza obutakimanya oba bakitwala nti tekibakwatako, bangi bagoberera endowooza eno nebasuula muguluka emitindo gy’empisa egya waggulu. Endowooza eyo eyoleka okwerowoozaako era n’okululunkanira ebintu. “Tulina emisingi ebiri gye tugoberera, ogumu kwe kukola ku byetaago bya bantu, omulala kwe kukola ssente,” bw’atyo omukungu omu owa ttivi mu China bwe yagamba.

Endowooza eno eyinza okugeraageranyizibwa ku magnet (ekyuma ekisika ebyuma ebirala). Ekyuma ekyo kikola ki ku compass? Ebintu bino byombi bwe biriraanaganyizibwa, akalimi ka compass kawaba ne katunula ku ludda olukyamu. Mu ngeri y’emu, endowooza y’okwefaako ereetera omuntu okuwaba, oba okusuula omuguluka emitindo gy’empisa n’akulembeza okwegomba kwe.

Kinaakwewuunyisa okukimanya nti endowooza ey’okwefaako si mpya? Endowooza eno yatandikira mu lusuku Adeni, bazadde baffe abaasooka bwe baasuula omuguluka emitindo gy’empisa omutonzi waffe gye yateekawo. Ekyo kyakyusa emitindo gyabwe egy’empisa. Ng’abazzukulu ba Adamu ne Kaawa, abantu batawaanyizibwa endowooza eno ‘ey’okwefaako bokka.’​—Olubereberye 3:6-8, 12.

Endowooza eno yeeyolese nnyo naddala mu biseera Baibuli by’eyita “ennaku ez’oluvannyuma” omuli “ebiro eby’okulaba ennaku.” Abantu bangi “beeyagala bokka.” Tekyewuunyisa nti twesanga nga tupikirizibwa okukoppa endowooza eno.​—2 Timoseewo 3:1-5.

Oboolyawo ojja kukkiriziganya n’omuvubuka ayitibwa Olaf, eyawandiikira erimu ku ttabi ly’Abajurirwa ba Yakuwa mu Bulaaya. Yagamba: “Kizibu nnyo okubeera omugolokofu mu mpisa nnaddala ffe abavubuka. Tusaba mweyongere okutujjukizanga okunywerera ku misingi gya Baibuli.”

Olaf yayoleka endowooza ey’amagezi. Emisingi gya Katonda gisobola okutuyamba okunywerera ku mitindo gy’empisa egya waggulu ka tubeere bato oba bakulu. Giyinza n’okutuyamba okuziyiza endowooza ey’okwefaako ffekka. Bw’oba oyagala okuyiga ebisingawo ku ngeri emisingi gya Baibuli gye giyinza okukuyambamu, tukusaba osome ekitundu ekiddako.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 4]

Abantu bangi leero tebafaayo ku byetaago by’abalala

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share