LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w02 6/1 lup. 3-4
  • Olina Ndowooza Ki ku Kufa?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Olina Ndowooza Ki ku Kufa?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Okufa Kukusobedde?
  • Okwawulibwawo ku Balala ng’Onootera Okufa
  • Okufa Nsonga Erina Okulowoozebwako
  • Okwekkenneenya Endowooza Enkyamu Ezikwata ku Kufa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
  • Okutya Okufa​—Oyinza Otya Okukuvvuunuka?
    Ebibuuzo Ebikwata ku Bayibuli Biddibwamu
  • Okufa Kunaggibwawo Kutya?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2002
w02 6/1 lup. 3-4

Olina Ndowooza Ki ku Kufa?

KA TUBEERE ba maanyi oba bagagga kwenkana wa, ekiseera kyonna tuyinza okufa. Tuyinza okufa nga tusala oluguudo oba nga twebase mu buliri. Obutyabaga gamba ng’obulumbaganyi bwa bannalukalala obwaliwo nga Ssebutemba 11, 2001 ku bibuga New York ne Washington, D.C., butulaga nti “omulabe ow’enkomerero,” kufa, anoga abantu ab’ebiti eby’enjawulo, era tasosola mu myaka nga n’emirundi egimu, amira enkumi n’enkumi z’abantu mu ddakiika ntono nnyo.​—1 Abakkolinso 15:26.

Newakubadde guli gutyo, abantu baagala nnyo okumanya ebikwata ku kufa. Teri kintu kirala kisinga kuguzisa bantu mpapula za mawulire na kubasikiriza kulaba ttivi nga lipoota ezikwata ku kufa, naddala okufa okw’abantu abangi, nga bafudde mu ngeri ey’ekikangabwa. Abantu tebakoowa kuwulira lipoota ezikwata ku bantu abafiiridde mu ntalo, mu butyabaga obw’omu butonde, abafudde olw’ebikolwa eby’obumenyi bw’amateeka oba endwadde. W’okirabira nti abantu okufa kubakwatako nnyo, y’engeri gye bakungubagamu ng’abantu abatutumufu bafudde.

Wadde kiri kityo, basigala nga baagala nnyo okumanya ebikwata ku kufa naddala okw’abantu abalala. Wabula bwe gutuuka ku kufa okwabwe, beewalira ddala okukulowoozaako. N’abasinga obungi ku ffe, tetwagalira ddala n’akatono okulowooza ku kufa kwaffe.

Okufa Kukusobedde?

Gye buva ne gye bulaga tetwagalangako kulowooza ku kufa kwaffe. Lwaki kiri kityo? Kubanga Katonda yatukola nga twagala okubeerawo emirembe gyonna. Baibuli egamba mu Omubuulizi 3:11, (NW) nti: ‘Yabakola nga baagala okubeerawo emirembe gyonna.’ Olw’okuba okufa tekwebeereka, ekyo kireetera abantu okusoberwa. Okusobola okunnyonnyola ensonga eno ereetedde abantu okusoberwa, abantu bagunjizzaawo endowooza nnyingi nnyo, nga mwe muli enjigiriza ey’obutafa bw’emmeeme, n’eyo egamba nti omuntu bw’afa asobola okubbulukukira mu bulamu obw’ekika ekirala.

Mu buli ngeri, okufa kweraliikiriza nnyo, era bwe kityo bwe kiri okwetooloola ensi yonna. N’olwekyo, tetwandyewuunyizza lwaki abantu bonna okutwalira awamu beeraliikirira nnyo okufa. Okufa kwoleka bulungi nti omuntu okwemalira mu kunoonya eby’obugagga n’obuyinza ekiseera ky’obulamu bwe kyonna butaliimu.

Okwawulibwawo ku Balala ng’Onootera Okufa

Edda, omuntu eyabanga n’obulwadde obw’olukonvuba oba n’ebisago eby’amaanyi, yalekebwanga okufiira mu kifo ky’amanyidde, ng’awaka. Bwe kityo bwe kyali ne mu biseera bya Baibuli, era kikyali bwe kityo mu bitundu ebimu. (Olubereberye 49:1, 2, 33) Mu bitundu ng’ebyo, ab’omu maka bakuŋŋaana wamu era n’abaana bakkirizibwa okubaako bye boogera. Kino kireetera buli wa mu maka okuwulira nti tanakuwadde yekka era kino kimubudaabuda.

Kino kyawukana nnyo n’ekyo ekiri mu bifo ebirala gye kitwalibwa ng’eky’omuzizo okwogera ku kufa, era nga n’abaana tebabuulirwa kubanga balowooza nti kijja kubasukkirirako. Ennaku zino abantu bafiira mu mbeera za njawulo era nga n’emirundi egisinga baba baawuliddwa ku balala. Newakubadde ng’abasinga obungi bandyagadde kufiira waka nga balabirirwa ab’eŋŋanda zaabwe, eky’ennaku bangi bafiira mu malwaliro, emirundi mingi nga baawuliddwa ku bantu abalala, nga bali mu bulumi, era nga bayungiddwako aguuma agatiisa. Ku luuyi olulala, obukadde n’obukadde bw’abantu bafa tewali amanyi mayitire gaabwe ng’abo abattibwa ekirindi, enjala, AIDS, entalo, oba n’obwavu.

Okufa Nsonga Erina Okulowoozebwako

Baibuli tevumirira kulowooza ku kufa. Mu butuufu, Omubuulizi 7:2 wagamba: “Okugenda mu nnyumba [ey’okukungubagiramu] kusinga okugenda mu nnyumba ey’okuliiramu embaga: kubanga eyo ye nkomerero y’abantu bonna.” Bwe tumanya nti eriyo okufa, tuyinza okuggya ebirowoozo ku mirimu gyaffe egya bulijjo ne tufumiitiriza ku ngeri obulamu gye buli obumpi ennyo. Kino kiyinza okutuyamba okweyisa mu ngeri eraga nti obulamu bwaffe bulina ekigendererwa, mu kifo ky’okweyisa mu ngeri etali ya buvunaanyizibwa.

Olina ndowooza ki ku kufa? Wali weekenneenyezza enneewulira oba endowooza gy’olina ku nkomerero y’obulamu bwo?

Obulamu n’okufa bisusse okutegeera kw’omuntu era tayinza kubinnyonnyola mu ngeri ematiza. Omutonzi waffe ye yekka ayinza okutunnyonnyola ebikwata ku nsonga zino mu ngeri eyeesigika. Kubanga ‘y’ensibuko y’obulamu,’ era “ye nnanyini kuwonya mu kufa.” (Zabbuli 36:9, NW; 68:20) Wadde nga kiyinza okukwewuunyisa, okwekkenneenya ezimu ku ndowooza ezimanyiddwa ennyo ezikwata ku kufa nga tweyambisa Baibuli, kijja kukuzzaamu amaanyi. Ojja kukiraba nti okufa si y’enkomerero ya byonna.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 4]

Bwe tukimanya nti ekiseera kyonna tuyinza okufa, kiyinza okutuyamba okuyisa obulamu bwaffe mu ngeri ey’amakulu

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share