LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 12/1/05 lup. 12-17
  • Tambula ne Katonda, Okungule Ebirungi

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tambula ne Katonda, Okungule Ebirungi
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Ebiri mu Ssuula Zino
  • Ekiraga nti Omuntu Yeenenyezza mu Bwesimbu
  • Yakuwa Tasanyukira Biweebwayo Byokka
  • Yakuwa Anakuwala ng’Abasinza be Bamwabulidde
  • Engeri Gye Tuyinza Okukungulamu Ebirungi
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Koseya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Obunnabbi bwa Koseya Butuyamba Okutambula ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • “Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Koseya
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 12/1/05 lup. 12-17

Tambula ne Katonda, Okungule Ebirungi

“Kubanga basiga embuyaga, era balikungula embuyaga.”​—KOSEYA 8:7.

1. Tuyinza tutya okutambula ne Yakuwa?

OMUNTU bw’aba aliko gy’agenda naye nga tamanyiiyo bulungi, kiba kirungi okutambula n’omuntu amanyi obulungi ekifo ekyo mu kifo ky’okutambula yekka. Naffe tuli mu mbeera efaananako bw’etyo. Yakuwa mwetegefu okutuwa obulagirizi nga tuli mu nsi eno embi. N’olwekyo kiba kya magezi okutambula naye mu kifo ky’okutambula ffekka. Tuyinza tutya okutambula ne Katonda? Kino tukikola nga tugoberera obulagirizi obuli mu Kigambo kye.

2. Kiki kye tugenda okwekenneenya mu kitundu kino?

2 Mu kitundu ekyayita, twalaba amakulu g’ebyo ebiri mu Koseya essuula 1 okutuuka ku 5. Nga bwe twalaba, essuula ezo zaalimu ebintu ebiwerako ebiyinza okutuyamba okutambula ne Katonda. Kati ka tulabe ezimu ku nsonga enkulu eziri mu ssuula 6 okutuuka ku 9, naye tugenda kusooka kuziyitaayitamu mu bufunze.

Ebiri mu Ssuula Zino

3. Mu bufunze, yogera ku ebyo ebiri mu Koseya essuula 6 okutuuka ku 9.

3 Yakuwa yatuma Koseya okulagula ebyandituuse ku bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Eggwanga eryo, era eryali limanyiddwa nga Efulayimu olw’okuba kye kika ekyali kyasinga obunene, lyali livudde ku Katonda. Okusinziira ku Koseya essuula 6 okutuuka ku 9, abantu abo baayoleka obutali bwesigwa bwe baamenya endagaano gye baakola ne Yakuwa era ne beenyigira mu bikolwa ebikyamu. (Koseya 6:7) Mu kifo ky’okwesiga Yakuwa baateeka obwesige bwabwe mu mawanga. Olw’okuba bye baakolanga tebyali birungi, bye baali bagenda kukungula nabyo tebyali birungi. Baali bagenda kubonerezebwa. Obunnabbi bwa Koseya era bwalimu obubaka obuzzaamu amaanyi. Abantu baakakasibwa nti, bwe bandyenenyezza mu bwesimbu era ne badda eri Yakuwa, naye yandibalaze ekisa kye.

4. Biki bye tugenda okwekenneenya mu bunnabbi bwa Koseya?

4 Essuula zino ennya ez’obunnabbi bwa Koseya zirimu ebintu ebiyinza okutuyamba okutambula ne Katonda. Ka tulabeyo eby’okuyiga bina ebiri mu ssuula ezo: (1) Okwenenya mu bwesimbu kyeyolekera mu bikolwa, so si mu bigambo bugambo; (2) ebiweebwayo ku bwabyo si bye bisanyusa Katonda; (3) Yakuwa anakuwala ng’abasinza be bamwabulidde; ne (4) okusobola okukungula ebirungi, tuteekwa kusiga birungi.

Ekiraga nti Omuntu Yeenenyezza mu Bwesimbu

5. Kiki Koseya 6:1-3 kye zoogerako?

5 Obunnabbi bwa Koseya bwogera nnyo ku ngeri gye tusaanidde okwenenyamu bwe tuba twagala okulagibwa ekisa. Koseya 6:1-3 wagamba nti: “Mujje tudde eri Mukama: kubanga ye yataagula, era ye alituwonya; ye yafumita; era ye alitunyiga. Ennaku bbiri nga ziyiseewo alitulamya: alitugolokosa ku lunaku olw’okusatu, naffe tuliba balamu mu maaso ge. Era tumanye, tunyiikire okumanya Mukama; okufuluma kwe kwa nkalakkalira ng’enkya: era alijja gye tuli ng’enkuba, ng’enkuba eya ddumbi efukirira ettaka.”

6-8. Kikyamu ki ekyali ku kwenenya kw’Abaisiraeri?

6 Ani yayogera ebigambo ebiri nnyiriri ezo? Abamu bagamba nti Abaisiraeri abajeemu be baabyogera era nti baali beefuula abeenenya, Katonda asobole okubalaga ekisa. Ate abalala bagamba nti nnabbi Koseya ye yabyogera nga yeegayirira Abaisiraeri okudda eri Yakuwa. K’abe ani eyayogera ebigambo ebyo, ekibuuzo ekikulu kiri nti, Abaisiraeri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi badda eri Yakuwa? Eky’okuddamu kiri nti, tebaakikola. Ng’ayitira mu Koseya, Yakuwa yabagamba nti: “Ai Efulayimu, naakukola ntya? Ai Yuda, naakukola ntya? Kubanga obulungi bwammwe buliŋŋanga ekire eky’enkya era ng’omusulo oguggwaako nga bukyali?” (Koseya 6:4) Ng’ebigambo ebyo biraga bulungi nti embeera y’abantu ba Katonda ey’eby’omwoyo teyali nnungi! Obulungi bwabwe n’okusingira ddala okwagala kwabwe kwali kuweddewo​—ng’omusulo oguggwaawo ng’enjuba evuddeyo. Wadde beefuula abeenenyezza, Yakuwa yali tasobola kubalaga kisa kye. Lwaki?

7 Kubanga okwenenya kwabwe kwali tekuviira ddala ku mutima. Okusinziira ku Koseya 7:14 Yakuwa teyasiima kwenenya kwabwe. Yagamba: “Tebankaabidde n’omutima gwabwe, naye bawowogganira ku bitanda byabwe.” Olunyiriri 16 lwongerako nti: “Bakomawo, naye si eri oyo ali waggulu.” Abantu tebaali beetegefu kudda eri oyo ali waggulu ennyo, Yakuwa, nga bakola enkyukakyuka ezaali zeetaagisa okusobola okuzzaawo enkolagana yaabwe naye. Amazima gali nti, baali tebaagala kutambula na Katonda.

8 Waaliwo n’ekintu ekirala ekiraga nti okwenenya kw’Abaisiraeri kwali tekuviiridde ddala ku mutima. Wadde baali beenenyezza, baali bakyenyigira mu bikolwa ebikyamu ng’obukumpanya, okutta, okubba, n’okusinza ebifaananyi. Ate era baali bakyatadde obwesige bwabwe mu mawanga amalala. Koseya 7:4 lubageraageranya ku ‘kikoomi ky’omuliro,’ oba ku ttanuulu kubanga okwegomba okubi okwali mu mitima gyabwe kwali ng’omuliro ogubumbujja. Bw’olowooza ku mbeera yaabwe ey’eby’omwoyo, ddala olaba abantu abo baali bagwana okusaasirwa? N’akatono! Ate era Koseya yagamba abantu abo abaali abajeemu nti Yakuwa ‘yali agenda kujjukira obutali butuukirivu bwabwe era ababonereze olw’ebibi byabwe.’ (Koseya 9:9) Yali tagenda kubalaga kisa n’akamu!

9. Obunnabbi bwa Koseya butuyigiriza ki ku kwenenya n’okulagibwa ekisa?

9 Kya kuyiga ki ekiri mu bunnabbi bwa Koseya ku bikwata ku kwenenya n’okulagibwa ekisa? Ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri abataalina kukkiriza bituyigiriza nti Yakuwa okusobola okutulaga ekisa, tuteekwa okwenenya mu bwesimbu. Omuntu ayinza atya okulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu? Ateekwa okukijjukira nti Yakuwa talimbibwalimbibwa na bigambo wadde amaziga. Omuntu okulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu kyeyolekera mu bikolwa. N’olwekyo Yakuwa okusobola okusaasira omuntu omwonoonyi, omuntu oyo ateekwa okulekayo ebikolwa bye ebikyamu n’atuukanya obulamu bwe n’emitindo gye.

Yakuwa Tasanyukira Biweebwayo Byokka

10, 11. Okusinziira ku ebyo bye tuyize ku Baisiraeri, lwaki ebiweebwayo ku bwabyo si bye byokka ebisanyusa Yakuwa?

10 Kati ka tulabe ekintu eky’okubiri ekiyinza okutuyamba okutambula ne Yakuwa. Kigamba nti: Ebiweebwayo ku bwabyo si bye bisanyusa Katonda. Koseya 6:6 lugamba nti: “Njagala ekisa so si ssaddaaka; n’okumanya Katonda okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.” Weetegereze nti Yakuwa ky’asinga okwagala kye kisa​—engeri esibuka mu mutima, n’okumanya Katonda. Oboolyawo oyinza okwebuuza nti: ‘Lwaki olunyiriri lugamba nti Yakuwa tasanyukira “ssaddaaka” oba “ebiweebwayo”? Amateeka ga Musa gaali tegeetaaza bantu kuwaayo ssaddaaka?’

11 Ekituufu kiri nti, Amateeka gaali geetaaza abantu okuwaayo ssaddaaka, naye abantu b’omu kiseera kya Koseya balina ekikyamu kye baali bakola. Kirabika, Abaisiraeri abamu baawangayo ssaddaaka lwa kutuusa butuusa mukolo, ate nga mu kiseera kye kimu bakyenyigira mu bikolwa ebikyamu. Olw’okuba baali bakyenyigira mu bikolwa ebikyamu, kyalaga nti tebaagala Katonda. Ate era baalaga nti beesambye okumanya okukwata ku Katonda, kubanga baali tebakukolerako. N’olwekyo bwe kiba nti tebaali beesimbu era nga tebafaayo kukola Katonda ky’ayagala, kati olwo ssaddaaka zaabwe zaalina mugaso ki? Awatali kubuusabuusa, ssaddaaka ezo zaali tezisanyusa Yakuwa Katonda.

12. Kulabula ki okuli mu Koseya 6:6 okukwata ku bantu abaliwo leero?

12 Leero, ebigambo bya Koseya birimu okulabula eri abo abanyiikirira okugenda mu makanisa. Bawa Katonda ssaddaaka nga bajjumbira emirimu gy’eddiini. Kyokka, eddiini zaabwe tezibakubiriza kukyusa mu nneeyisa yaabwe. Ddala abantu ng’abo bayinza okusanyusa Katonda singa emitima gyabwe giba tegibakubiriza kumanya mazima n’okwewala ebikolwa by’akyawa? Omuntu yenna teyandibadde na ndowooza nti okunyiikirira emirimu gy’eddiini kye kyokka ekisanyusa Katonda. Yakuwa tasanyukira bantu bagamba nti bamusinza naye nga tebakolera ku ebyo biri mu Kigambo kye.​—2 Timoseewo 3:5.

13. Ssaddaaka za ngeri ki Abakristaayo ze bawaayo, era kiki kye balina okujjukira?

13 Ng’Abakristaayo ab’amazima, naffe tusaanidde okujjukira nti ssaddaaka ku bwazo tezisanyusa Katonda. Kyo kituufu nti, mu kiseera kino Yakuwa tetumuwa ssaddaaka za nsolo wabula tumuwa “ssaddaaka ey’ettendo, kye kibala eky’emimwa egyatula erinnya lye.” (Abaebbulaniya 13:15) Tetusaanidde kukola ng’Abaisiraeri ab’omu kiseera kya Koseya nga tulowooza nti bwe tuwa Katonda ssaddaaka ajja kubuusa amaaso ebibi byaffe. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu yakola obukaba ne watabaawo amutegeera. Oluvannyuma yagamba: “Nneeyongera okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira nga ndowooza nti kiyinza okubikka ku kibi kye nnali nkoze.” Ekyo omuvubuka oyo kye yakola kifaananako n’ekyo Abaisiraeri abajeemu kye baakola. Naye tusaanidde okukijjukira nti, Yakuwa okusobola okusiima ssaddaaka zaffe ez’ettendo, ziteekwa okuba nga ziviiridde ddala ku mutima era nga n’enneeyisa yaffe emusanyusa.

Yakuwa Anakuwala ng’Abasinza be Bamwabulidde

14. Obunnabbi bwa Koseya butubuulira ki ku nneewulira za Katonda?

14 Eky’okuyiga eky’okusatu ekiri mu Koseya essuula 6 okutuuka ku 9 kikwata ku ngeri Yakuwa gy’awuliramu ng’abaweereza be bamwabulidde. Katonda asobola okusanyuka era asobola n’okunakuwala. Singa omuntu yeenenya n’aleka amakubo ge amabi, ekyo Yakuwa kimusanyusa nnyo era asobola okumulaga ekisa. Naye ate singa abaweereza be bagaana okwenenya, kimunakuwaza era abaako ky’akolawo. Olw’okuba atufaako, kimusanyusa nnyo okulaba nga tutambula naye era nga tutambulira mu bugolokofu. Zabbuli 149:4 lugamba nti: “Mukama asanyukira abantu be.” Naye, Katonda awulira atya singa abantu be bamwabulira?

15. Okusinziira ku Koseya 6:7, Abaisiraeri abamu beeyisa batya?

15 Ng’ayogera ku Baisiraeri abajeemu, Yakuwa yagamba bw’ati: “Naye bo, nga Adamu basobezza endagaano, [era] bankuusizza.” (Koseya 6:7) Wano ekigambo ky’Olwebbulaniya ekivuunuddwa ‘okukuusa’ kiyinza okutegeeza ‘okukumpanya oba obutaba mwesigwa.’ Ekigambo kye kimu kikozesebwa mu Malaki 2:10-16, okulaga engeri Abaisiraeri gye baayolekamu obutali bwesigwa eri bakazi baabwe. Ekitabo ekimu kigamba nti, ekigambo ekikozesebwa mu Koseya 6:7, ‘kitera okukozesebwa singa omu ku bafumbo aba talaze munne kwagala.’

16, 17. (a) Kiki Abaisiraeri kye baakola ku bikwata ku ndagaano Katonda gye yali akoze nabo? (b) Bwe tuba tulina kye tusazeewo okukola, kiki kye tusaanidde okujjukira?

16 Yakuwa yali atwala Isiraeri nga mukazi we, kubanga yali akoze naye endagaano. N’olwekyo, bwe baamenya endagaano eyo, baali ng’abakoze obwenzi. Katonda yali mwesigwa eri abantu be, naye bo baamwabulira!

17 Ate kiri kitya eri ffe? Kyonna kye tusalawo okukola Katonda kimukwatako ka tube nga tutambula naye oba nedda. Tusaanidde okukijjukira nti, olw’okuba “Katonda kwagala” buli kye tukola kimukwatako. (1 Yokaana 4:16) N’olwekyo bwe tweyisa obubi tuba tumunakuwaza. Bwe tunaakuumira ensonga ezo mu birowoozo, kijja kutuyamba okukola ekituufu ne bwe tuba twolekaganye n’okugezesebwa.

Engeri Gye Tuyinza Okukungulamu Ebirungi

18, 19. Musingi ki oguli mu Koseya 8:7, era gwatuukirira gutya ku Baisiraeri?

18 Kati ka tulabe eky’okuyiga eky’okuna ekiri mu bunnabbi bwa Koseya​—engeri gye tuyinza okukungulamu ebirungi. Ng’ayogera ku butali bwesigwa bw’Abaisiraeri, Koseya yagamba nti: “Basiga embuyaga, era balikungula embuyaga.” (Koseya 8:7) Wano waliwo omusingi ffenna gwe tusaanidde okujjukira: Waliwo akakwate wakati w’ebyo bye tukola kati n’ebyo ebivaamu. Ekyo kyatuukirira kitya eri Abaisiraeri abataali beesigwa?

19 Abaisiraeri bwe beenyigiranga mu bikolwa ebikyamu, baali ng’abasiga ekibi. Bandyeyongedde okwenyigira mu bikolwa ebyo ne batakungula kibi? Awatali kubuusabuusa baali tebasobola kusimattuka musango Katonda gwe yali abasalidde. Koseya 8:13 lugamba: “Kaakano [Yakuwa] anajjukira obutali butuukirivu bwabwe n’a[ba]bonereza olw’ebibi byabwe.” Ate mu Koseya 9:17 wagamba nti: “Katonda wange alibasuula kubanga tebaamuwulira: era baliba mmomboze mu mawanga.” Yakuwa yali agenda kubonereza Abaisiraeri olw’ebibi byabwe. Olw’okuba baali basize kibi, baali bagenda kukungula kibi. Katonda yatuukiriza omusango gwe yali abasalidde mu 740 B.C.E., bwe yaleka amagye ga Bwasuli ne gawamba obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi era ne gatwala n’Abaisiraeri mu buwaŋŋanguse.

20. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri?

20 Ekyo ekyatuuka ku Baisiraeri kirina ekintu ekikulu kye kituyigiriza: Kyonna kye tusiga, kye tukungula. Ekigambo kya Katonda kitulabula nti: “Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa: kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.” (Abaggalatiya 6:7) N’olwekyo, bwe tusiga ekibi, tuba tujja kukungula kibi. Ng’ekyokulabirako, abo abasalawo okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu ebibaviiramu tebiba birungi n’akamu. Ate era n’abo abakola ebibi ne bateenenya, enkomerero yaabwe tejja kuba nnungi n’akamu.

21. Kiki kye tulina okukola okusobola okukungula ebirungi?

21 Kati olwo tuyinza tutya okukungula ebirungi? Ekyokulabirako kino kijja kutuyamba okufuna eky’okuddamu. Singa omulimi aba ayagala kukungula kasooli, anaasiga binyeebwa? Kya lwatu nedda! Omulimi aba akimanyi nti, ky’asiga ky’akungula. Mu ngeri y’emu, naffe bwe tuba twagala okukungula ebirungi, tuba tulina kusiga birungi. Oyagala okweyongera okukungula ebirungi, kwe kugamba, weeyongere okuba n’obulamu obumatiza mu kiseera kino era ng’olina n’essuubi ery’okubeerawo emirembe gyonna mu nsi ya Katonda empya? Bwe kiba bwe kityo, weeyongere okusiga ebirungi ng’otambula ne Katonda era ng’ogoberera emitindo gye egy’obutuukirivu.

22. Biki bye tuyize mu Koseya essuula 6 okutuuka ku 9?

22 Mu Koseya essuula 6 okutuuka ku 9, tuyize ebintu bina ebiyinza okutuyamba okutambula ne Katonda: (1) Okwenenya mu bwesimbu kyeyolekera mu bikolwa, so si mu bigambo bugambo; (2) ebiweebwayo ku bwabyo si bye bisanyusa Katonda; (3) Yakuwa anakuwala ng’abasinza be bamwabulidde; ne (4) okusobola okukungula ebirungi, tuteekwa kusiga birungi. Naye, essuula ettaano ezisembayo mu kitabo kino zinaatuyamba zitya okutambula ne Katonda?

Wandizzeemu Otya?

• Omuntu ayinza atya okulaga nti yeenenyezza mu bwesimbu?

• Lwaki ebiweebwayo ku bwabyo si bye bisanyusa Kitaffe ow’omu ggulu?

• Katonda awulira atya singa abasinza be bamwabulira?

• Kiki kye tulina okusiga singa tuba twagala okukungula ebirungi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]

Lwaki Yakuwa teyasiima ssaddaaka za bantu be?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 16]

Okusobola okukungula ebirungi, tuteekwa kusiga birungi

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share