LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w05 12/1/05 lup. 17-21
  • “Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Yakuwa Tayagala Bunnanfuusi
  • Katonda Alaga Abantu Be Ekisa
  • Teekanga Obwesige Bwo mu Yakuwa
  • Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu
  • Aboonoonyi Basobola Okudda eri Yakuwa
  • Weeyongere Okutambulira mu Makubo ga Yakuwa ag’Obutuukirivu
  • Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Koseya
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • Obunnabbi bwa Koseya Butuyamba Okutambula ne Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Tambula ne Katonda, Okungule Ebirungi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
  • Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Koseya
    Obuweereza Bwaffe Obuweereza bw’Obwakabaka—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2005
w05 12/1/05 lup. 17-21

“Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu”

“Amakubo ga Yakuwa ga butuukirivu n’abatuukirivu banaagatambulirangamu.”​—KOSEYA 14:9, NW.

1, 2. Ntandikwa ya ngeri ki Yakuwa gye yawa Abaisiraeri, naye kiki kye baakola?

MU KISEERA kya nnabbi Musa, Yakuwa yali awadde Abaisiraeri entandikwa ennungi. Kyokka, ekyasa eky’omunaana B.C.E. we kyatuukira, baali boonoonese nnyo era Katonda yabasalira omusango olw’ebibi eby’amaanyi bye baali bakola. Kino kyeyolekera bulungi mu Koseya essuula 10 okutuuka ku 14.

2 Abaisiraeri baali bafuuse bannanfuusi. ‘Baasiga ekibi’ ne bakungula obutali butuukirivu. (Koseya 10:1, 13) Yakuwa yagamba nti: “Isiraeri bwe yali omwana omuto, n[n]amwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.” (Koseya 11:1) Wadde nga Katonda yali anunudde Abaisiraeri okuva mu buddu e Misiri, mu kifo ky’okulaga okusiima baamujeemera bujeemezi. (Koseya 11:12) Bwe kityo, Yakuwa yabakubiriza nti: “Kale kyukira Katonda wo: [okwatenga] okusaasira n’omusango, [olindirirenga] Katonda wo ennaku zonna.”​—Koseya 12:6.

3. Kiki ekyali kigenda okutuuka ku bantu b’o mu Samaliya olw’obujeemu, era kiki Abaisirae ri kye baalina okukola okusobola okulagibwa ekisa?

3 Olw’okuba Abantu b’omu Samaliya baali bajeemu, baali bagenda kuzikirizibwa wamu ne kabaka waabwe. (Koseya 13:11, 16) Kyokka, essuula esembayo mu bunnabbi bwa Koseya etandika egamba nti: “Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo.” N’olwekyo Abaisiraeri bwe bandyenenyezza, Katonda yali asobola okubasaasira. Baalina okukitegeera nti ‘amakubo ge ga butuukirivu,’ bagatambuliremu.​—Koseya 14:1-6, 9.

4. Misingi ki gye tugenda okwekenneenya mu bunnabbi bwa Koseya?

4 Ekitundu ky’obunnabbi bwa Koseya kino kirimu emisingi mingi egiyinza okutuyamba okutambula ne Katonda. Gino gye gimu ku misingi gye tugenda okwekenneenya: (1) Yakuwa tayagala bunnanfuusi, (2) alaga abantu be ekisa, (3) twetaaga okumwesiga, (4) amakubo ge ga butuukirivu, ne (5) aboonoonyi basobola okudda gy’ali.

Yakuwa Tayagala Bunnanfuusi

5. Katonda ayagala tumuweereze tutya?

5 Yakuwa ayagala tumuweereze n’omutima gwaffe gwonna nga tetuli bannanfuusi. Wadde kiri kityo, Abaisiraeri bo baali bannanfuusi. Baali bafuuse “ng’omuzabbibu ogwera,” ogutabala bibala birungi. Baali ‘bongedde okuzimba ebyoto’ bye baaweerangako ssaddaaka eri bakatonda baabwe ab’obulimba. Ate era bakyewaggula bano bali bazimbye n’empagi​—oboolyawo nga nazo baali bazikozesa mu kusinza bakatonda baabwe abo. Yakuwa yali agenda kumenya ebyoto ebyo era azikirize n’empagi zaabwe.​—Koseya 10:1, 2.

6. Okusobola okutambula ne Katonda, kiki kye tuteekwa okwewala?

6 Abaweereza ba Yakuwa tebateekwa kuba bannanfuusi. Bo Abaisiraeri beeyisa batya? ‘Baali bafuuse bannanfuusi’! Wadde ng’okusooka Yakuwa yali akoze nabo endagaano era nga beewaddeyo gyali, yakizuula nti bannanfuusi era yali agenda kubasalira omusango. Kino kituyigiriza ki? Kituyigiriza nti, bwe tuba twewaddeyo eri Katonda tetuteekwa kuba bannanfuusi. Engero 3:32 lugamba nti: ‘Yakuwa akyawa abakola ebibi: naye asiima abagolokofu.’ N’olwekyo bwe tuba ab’okutambula ne Katonda, tusaanidde okwoleka okwagala “okuva mu mutima omulongoofu n’omwoyo omulungi n’okukkiriza okutalina bukuusa.”​—1 Timoseewo 1:5.

Katonda Alaga Abantu Be Ekisa

7, 8. (a) Kiki kye tulina okukola bwe tuba twagala Katonda atulage ekisa? (b) Kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba tulina ekibi eky’amaanyi kye tukoze?

7 Bwe tunaatambulira mu bugolokofu, ne tutaba bannanfuusi nga tuweereza Yakuwa, naye ajja kutulaga ekisa kye. Yakuwa yagamba bw’ati Abaisiraeri abaali beewaggudde: “Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng’okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alijja [n’abayigiriza] obutuukirivu.”​—Koseya 10:12.

8 Singa Abaisiraeri beenenya ne banoonya Yakuwa, naye yandibadde ‘abayigiriza obutuukirivu.’ Naffe bwe tuba tukoze ekibi eky’amaanyi, ka tunoonye Yakuwa nga tumusaba atusonyiwe era tutuukirire n’abakadde Abakristaayo batuyambe. (Yakobo 5:13-16) Ate era ka tunoonye obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda omutukuvu kubanga ‘omuntu ky’asiga era ky’akungula. Asigira omubiri gwe ye, alikungula mu mubiri okuvunda; naye asigira omwoyo, alikungula mu mwoyo obulamu obutaggwaawo.’ (Abaggalatiya 6:8) N’olwekyo bwe ‘tusigira omwoyo,’ Katonda ajja kutulaga ekisa.

9, 10. Koseya 11:1-4 lukwata lutya ku Baisiraeri?

9 Kyo kituufu nti Yakuwa akolagana n’abantu be mu ngeri ey’okwagala. Kino kirabikira mu Koseya 11:1-4 awagamba nti: “Isiraeri bwe yali omwana omuto n[n]amwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri. . . . Baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole. Era naye [n]nayigiriza Efulayimu [Abaisiraeri] okutambula; n[n]abawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze n[n]abawonya. N[n]abawalula n’emigwa egy’omuntu, n’ebisiba eby’okwagala; era n[n]abanga gye bali ng’abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe.”

10 Mu kyawandiikibwa ekyo Isiraeri ageraageranyizibwa ku mwana omuto. Mu ngeri ey’okwagala, Yakuwa yayigiriza Abaisiraeri okutambula ng’abateerayo emikono gye. Ate era yakozesanga ‘emigwa egy’okwagala’ n’abawalulako mpola mpola. Ng’ebigambo ebyo biraga nti yali abakwata mpola era ng’abafaako! Kuba akafaananyi nga naawe oli muzadde, ayigiriza omwana we okutambula. Ossaawo emikono gyo omwana wo asobole okwewanirira ng’asimbula ebigere. Ate singa waliwo mu biseera eby’edda, awatali kubuusabuusa wandikozesezza emigwa okuwanirira omwana wo aleme kugwa ng’ayiga okutambula. Ne Yakuwa akukwata mu ngeri y’emu ng’akuyigiriza okutambula. Mwetegefu okukuyigiriza engeri y’okutambulamu ng’akozesa ‘emigwa egy’okwagala.’

11. Mu ngeri ki Katonda gye ‘yali ng’omuntu aggya ekikoligo’ ku nsolo?

11 Yakuwa era bwe yali akolagana n’Abaisiraeri, yali “[ng’omuntu] ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, [n’anteeka] emmere mu maaso gaabwe.” Yali ng’omuntu aggya ekikoligo ku nsolo esobole okulya obulungi. Buli lwe baagondera amateeka ge abalabe baabwe tebaabanyigirizanga. Mu ngeri eyo amateeka ga Katonda gaali ng’agabawewudde ku kikoligo ky’abalabe baabwe. (Ekyamateeka 28:45, 48; Yeremiya 28:14) Naffe bwe tuneeyongera okutambula ne Katonda waffe ow’okwagala, omulabe waffe lukulwe Setaani tajja kutunyigiriza, kubanga ajja kuba tatulinaako buyinza.

Teekanga Obwesige Bwo mu Yakuwa

12. Okusinziira ku Koseya 12:6 kiki kye tusaanidde okukola bwe tuba ab’okutambula ne Katonda?

12 Okusobola okweyongera okutambula ne Katonda, tuteekwa okumwesiga. Abaisiraeri baagambibwa nti: “Kale kyukira Katonda wo: [oyoleke ekisa n’obwenkanya olindirirenga] Katonda wo ennaku zonna.” (Koseya 12:6) Yee, Abaisiraeri abajeemu bandikiraze nti beenenyezza era nti bazze eri Yakuwa nga booleka obusaasizi, obwenkanya, era nga ‘beesiga Katonda ennaku zonna.’ Ka tube nga tumaze bbanga ki nga tutambula ne Katonda, tuteekwa okuba abamalirivu okwoleka ekisa n’obwenkanya, n’okwesiganga Katonda bulijjo.​—Zabbuli 27:14.

13, 14. Bigambo ki Pawulo bye yajuliza mu Koseya 13:14 ebyandituleetedde okwesiga Yakuwa?

13 Ebyo Koseya bye yalagula ku Baisiraeri, bituleetera okussa obwesige bwaffe mu Katonda. Yakuwa yagamba nti: “Ndibanunula eri amaanyi ag’amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? Ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?” (Koseya 13:14) Yakuwa yali tagenda kuggyawo kufa mu kiseera ekyo, wabula yali agenda kukikola mu kiseera eky’omu maaso, okufa kube nga tekukyalina buyinza ku bantu era nga kuggwereddewo ddala.

14 Bwe yali awandiikira Bakristaayo banne abaafukibwako amafuta, Pawulo yajuliza obunnabbi bwa Koseya ng’agamba nti: “Oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n’ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula. Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa? Okuluma kw’okufa kye kibi; n’amaanyi g’ekibi ge mateeka: naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.” (1 Abakkolinso 15:54-57) Yakuwa bwe yazuukiza Yesu, kyakakasa nti ajja kusobola okuzuukiza abantu bonna abali mu ntaana ezijjukirwa. (Yokaana 5:28, 29) Naffe ekyo tekyandituleetedde okumussaamu obwesige? Kyokka, ng’oggyeko essuubi ery’okuzuukira, waliwo n’ensonga endala etuleetera okutambula ne Katonda.

Amakubo ga Yakuwa ga Butuukirivu

15, 16. Kiki ekyalagulwa ku Samaliya, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya?

15 Ekintu ekituleetera okutambula ne Katonda kwe kuba nti tuli bakakafu nti ‘amakubo ge ga butuukirivu.’ Abantu b’omu Samaliya baali beesambye amakubo ga Katonda ag’obutuukirivu. Olw’okuba baali beenyigira mu bikolwa ebikyamu era nga tebakkiririza mu Yakuwa, bandifunye ebizibu bingi. Obunnabbi bwagamba nti: “Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n’ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n’abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.” (Koseya 13:16) Ebyafaayo biraga nti Abasuuli abaawamba Samaliya baali basobola okukola ebikolobero ng’ebyo.

16 Wadde Samaliya kye kyali ekibuga ekikulu eky’obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi, mu kitundu kino, ekigambo Samaliya kiyinza n’okutegeeza obwakabaka obwo bwonna. (1 Bassekabaka 21:1) Kabaka w’e Bwasuli ayitibwa Salumaneseri owokutaano yazingiza Samaliya mu 742 B.C.E. Ekibuga ekyo bwe kyawambibwa mu 740 B.C.E., Abaisiraeri abaalimu baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Mesopotamiya n’e Bumeedi. Kyokka oyo eyawamba ekibuga ekyo tamanyiddwa bulungi. Kiteeberezebwa nti ayinza okuba yali Salumaneseri owokutaano oba Sarugoni owokubiri eyamuddira mu bigere. (2 Bassekabaka 17:1-6, 22, 23; 18:9-12) Wadde kiri kityo, ebiwandiiko bya Sarugoni biraga nti Abaisiraeri 27,290 be baatwalibwa mu buwaŋŋanguse mu bitundu ebiri ku mbalama z’Omugga Fulaati ne mu Bumeedi.

17. Mu kifo ky’okwesamba emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu kiki kye twandikoze?

17 Mazima ddala abantu b’omu Samaliya baafuna ebizibu olw’okwesamba amakubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu. Ng’Abakristaayo abeewaddeyo, naffe tusobola okufuna emitawaana bwe twesamba emitindo gya Katonda egy’obutuukirivu ne twenyigira mu bikolwa ebikyamu. Mazima ddala tusaanidde okwewala ekkubo eryo ekyamu! Ka tugoberere okubuulira kw’omutume Peetero okugamba nti: “Omuntu yenna ku mmwe tabonyaabonyezebwanga nga mussi, oba mubbi, oba mukozi wa bubi, oba aketta ebya banne: naye omuntu yenna bw’abonyaabonyezebwanga nga Omukristaayo, takwatibwanga nsonyi; naye atenderezanga Katonda mu linnya eryo.”​—1 Peetero 4:15, 16.

18. Tuyinza tutya okweyongera ‘okutendereza Katonda’?

18 ‘Katonda atenderezebwa’ bwe tutambulira mu makubo ge ag’obutuukirivu mu kifo ky’okukola ebintu nga ffe bwe twagala. Olw’okuba Kayini yasuula muguluka okubuulirira Yakuwa, yatta muganda we. (Olubereberye 4:1-8) Ne Balamu yakkiriza empeera kabaka w’Abamowaabu gye yamuwa, kyokka yalemererwa okukolimira Isiraeri. (Okubala 24:10) Ate era Katonda yazikiriza Koola Omuleevi ne banne lwa kunyooma bukulembeze bwa Musa ne Alooni. (Okubala 16:1-3, 31-33) Awatali kubuusabuusa tetwandyagadde ‘kutambulira mu kkubo kya Kayini ery’obutemu, ekkubo lya Balamu ekyamu, oba okuzikirizibwa olw’amalala ng’aga Koola.’ (Yuda 11) Kyokka, singa tuba tukoze ensobi, obunnabbi bwa Koseya bulina kye bwogera ekituzzaamu amaanyi.

Aboonoonyi Basobola Okudda eri Yakuwa

19, 20. Abaisiraeri abeenenya baawaayo ssaddaaka za ngeri ki?

19 N’abo abakoze ekibi eky’amaanyi basobola okudda eri Yakuwa. Koseya 14:1, 2, wagamba nti: “Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo; kubanga ogudde olw’obutali butuukirivu bwo. Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe ng’ente ennume.”

20 Abaisiraeri abeenenya baasobola okuwa Katonda ‘ebiweebwayo eby’emimwa gyabwe ebyalinga ebiweebwayo eby’ente ennume.’ Ebiweebwayo bye baamuwa kwe kumutendereza n’emitima egituukiridde. Pawulo yajuliza obunnabbi obwo ng’akubiriza Abakristaayo ‘okuwaayo eri Katonda bulijjo ssaddaaka ey’ettendo, kwe kugamba, ekibala eky’emimwa gyabwe egyatula erinnya lye.’ (Abaebbulaniya 13:15) Nga tulina enkizo ya maanyi okutambula ne Katonda n’okumuwa ssaddaaka ng’ezo!

21, 22. Kuwonyezebwa kwa ngeri ki Abaisiraeri abeenenya kwe bandifunye?

21 Abaisiraeri abo abaaleka amakubo gaabwe amakyamu ne badda eri Katonda, baasobola okumuwa ssaddaaka ‘ez’emimwa gyabwe ezaalinga ekiweebwayo eky’ente ennume.’ N’ekyavaamu, baddamu okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima. Koseya 14:4-7 wagamba nti: “[Nze Yakuwa] ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako. Ndiba eri Isiraeri ng’omusulo: alimulisa ng’eddanga, era alisimba [emirandira] gye nga Lebanooni. Amatabi ge galiranda, n’obulungi bwe buliba ng’omuzeyituuni, n’akaloosa ke nga Lebanooni. Ababeera wansi w’ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng’eŋŋaano, ne bamulisa ng’omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng’omwenge gwa Lebanooni.”

22 Abaisiraeri bwe bandyenenyezza bandiwonyezeddwa mu by’omwoyo, era ne baddamu okusiimibwa Katonda. Yakuwa yandibadde ng’omusulo ogubaweweeza era yandibawadde emikisa mingi. Ate era n’abantu be bandibadde balungi ‘ng’omuzeyituuni,’ era banditambulidde mu makubo ga Katonda. Okuva bwe kiri nti tuli bamalirivu okutambula ne Yakuwa Katonda, kiki kye twetaaga okukola?

Weeyongere Okutambulira mu Makubo ga Yakuwa ag’Obutuukirivu

23, 24. Ekitabo kya Koseya kifundikira na bubaka ki obuzaamu amaanyi, era obubaka obwo butukwatako butya?

23 Okusobola okwongera okutambula ne Katonda, tusaanidde okukkiriza “amagezi agava waggulu” n’okutambulira mu makubo ag’obutuukirivu. (Yakobo 3:17, 18) Olunyiriri olusembayo mu bunnabbi bwa Koseya lugamba nti: “Ani alina amagezi n’ategeera bino? Ani alina obukabakaba n’abimanya? Kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n’abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo.”​—Koseya 14:9.

24 Mu kifo ky’okugoberera amagezi g’ensi n’emitindo gyayo, ka tube bamalirivu okutambulira mu makubo ga Katonda ag’obutuukirivu. (Ekyamateeka 32:4) Koseya yatambulira mu makubo ga Katonda ag’obutuukirivu okumala emyaka egisukka mu 59. Yakola bulungi omulimu gwe ng’akimanyi nti abo abalina okutegeera bajja kutegeera obubaka bwe. Ate kiri kitya eri ffe? Nga Yakuwa akyatulese okulangirira obubaka bwe, tujja kweyongera okunoonya abo abaagala ekisa kye. Ate era tujja kweyongera okukolaganira awamu ‘n’omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ nga tukola omulimu guno​—Matayo 24:45-47.

25. Obunnabbi bwa Koseya bwandituyambye kukola ki?

25 Oluvannyuma lw’okwekenneenya obunnabbi bwa Koseya, twandibadde bamalirivu okweyongera okutambula ne Katonda nga bwe tulindirira okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya. (2 Peetero 3:13; Yuda 20, 21) Ng’essuubi lye tulina lya kitalo nnyo! Ffenna tujja kusobola okuganyulwa mu ssuubi eryo singa tukyoleka nti ‘Amakubo ga Yakuwa ga butuukirivu’ mu bigambo ne mu bikolwa.

Wandizzeemu Otya?

• Bwe tuweereza Katonda mu bwesimbu, kiki ky’ajja okutukolera?

• Lwaki tusaanidde okussanga obwesige bwaffe mu Yakuwa?

• Lwaki oli mukakafu nti amakubo ga Yakuwa ga butuukirivu?

• Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okweyongera okutambulira mu makubo ga Yakuwa ag’obutuukirivu?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 18]

Kkiriza okufuna obuyambi obw’eby’omwoyo okuva eri abakadde b’ekibiina

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 21]

Weeyongere okutambula ne Katonda ng’olina essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share