Ekigambo kya Yakuwa Kiramu
Okunokolayo Ebimu ku Biri mu Kitabo kya Koseya
OKUSINZA okw’amazima kumpi kuggwereddewo ddala mu bwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi. Mu bufuzi bwa Yerobowaamu II, embeera y’eby’enfuna mu Isiraeri nnungi, naye eyonooneka oluvannyuma lw’okufa kwe. Waddawo ekiseera eky’obusambattuko n’obunyoolagano bw’eby’obufuzi. Bakabaka bana ku abo omukaaga abazze baddawo battibwa. (2 Bassekabaka 14:29; 15:8-30; 17:1-6) Koseya aweereza nga nnabbi okumala emyaka 59 okuva mu 804 B.C.E., okutuukira ddala mu kiseera kino eky’obusambattuko.
Ebyo ebibaawo mu bufumbo bwa Koseya byoleka bulungi engeri Yakuwa gy’awuliramu ng’eggwanga lya Isiraeri limwewagguddeko. Obubaka bwa Koseya bwogera ku kwonoona kwa Isiraeri n’omusango Katonda gwe yasalira eggwanga eryo n’obwakabaka bwa Yuda. Ng’akozesa ebigambo mu ngeri y’obwegendereza naye ng’atuukira ddala ku nsonga, Koseya yawandiika ebintu bino byonna mu kitabo ekiyitibwa erinnya lye. Olw’okuba kye kimu ku bitabo ebyaluŋŋamizibwa ebiri mu Kigambo kya Katonda, obubaka obukirimu bulamu era bwa maanyi.—Abaebbulaniya 4:12.
‘WASA OMUKAZI OW’OBWENZI’
Yakuwa agamba Koseya nti: “Genda owase omukazi ow’obwenzi.” (Koseya 1:2) Koseya akkiriza era azaala omwana mu Gomeri. Abaana ababiri Gomeri b’addako okuzaala si ba Koseya. Amannya gaabwe, Lolukama ne Lowami, galaga nti Yakuwa tajja kusaasira Isiraeri era nti ajja kwegaana abantu be abatali beesigwa.
Yakuwa ddala awulira atya olw’obujeemu bw’abantu be? Agamba Koseya nti: “Genda nate, oyagale omukazi ayagalibwa mukwano gwe, era omwenzi, era nga Mukama bw’ayagala abaana ba Isiraeri, newakubadde nga bakyukira bakatonda abalala.”—Koseya 3:1.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
1:1—Lwaki Koseya amenya bakabaka ba Yuda bonna abana abaafuga mu kiseera ky’obuweereza bwe ate owa Isiraeri n’ayogerako omu yekka? Kino kyali bwe kityo kubanga bakabaka b’omu lunyiriri lwa Dawudi be bokka abaali bateekwa okufuga abantu ba Katonda abalonde. Bakabaka b’obwakabaka obw’omu bukiika kkono tebaali ba mu lunyiriri lwa Dawudi, ng’aba Yuda.
1:2-9—Ddala Koseya yawasa omukazi ow’obwenzi? Yee, Koseya ddala yawasa omukazi eyamala n’afuuka omwenzi. Nnabbi talaga nti ebyo bye yayogera ku bulamu bw’amaka ge byali mu kirooto oba mu kwolesebwa.
1:7—Ennyumba ya Yuda yakwatirwa ddi ekisa n’erokolebwa? Kino kyatuukirizibwa mu 732 B.C.E., mu nnaku za Kabaka Keezeekiya. Mu kiseera ekyo, Yakuwa yakomya obulumbaganyi bwa Bwasuli eri Yerusaalemi bwe yakozesa malayika okutta abalwanyi b’eggye ly’abalabe 185,000 mu kiro kimu. (2 Bassekabaka 19:34, 35) Bwe kityo Yakuwa yanunula Yuda si “na mutego newakubadde ekitala newakubadde olutalo newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde,” wabula yakozesa malayika.
1:10, 11—Okuva obwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono lwe bwagwa mu 740 B.C.E., mu ngeri ki abaana ba Isiraeri gye ‘bakuŋŋaanyizibwa’ awamu n’abaana ba Yuda? Bangi ku bantu b’omu bwakabaka obw’omu bukiika kkono baali bagenze e Yuda ng’abantu b’omu Yuda tebannatwalibwa mu buwambe e Babulooni mu 607 B.C.E. (2 Ebyomumirembe 11:13-17; 30:6-12, 18-20, 25) Abayudaaya bwe baakomawo ku butaka mu 537 B.C.E., bazzukulu b’abo ab’omu bwakabaka bw’omu bukiika kkono baali bamu ku abo abaakomawo.—Ezera 2:70.
2:21-23—Ebigambo bya Yakuwa: ‘Yezuleeri ndimusiga mu nsi, era ndimusaasira,’ byali biragula ki? Mutabani wa Koseya omubereberye gwe yazaala mu Gomeri ye yali Yezuleeri. (Koseya 1:2-4) Amakulu g’erinnya eryo, “Katonda Alisiga Ensigo,” gaali galagula nti Yakuwa ajja kukuŋŋaanya ensigalira y’abantu be abeesigwa mu 537 B.C.E., abasige ng’ensigo mu Yuda. Ensi ebadde amatongo okumala emyaka 70 kati erina okuvaamu ebibala, omwenge oguwooma, n’amafuta. Mu lulimi olw’ekitontome, obunnabbi bugamba nti ebintu ebyo ebirungi byandisabye ensi okubiwa obugimu bwayo, n’ensi yandisabye eggulu okugiwa enkuba. Olwo n’eggulu lyandisabye Katonda okuliwa ebire by’enkuba. Bino byonna byandibadde bya kuyamba ensigalira y’abakomyewo okufuna ebyetaago byabwe byonna. Abatume Pawulo ne Peetero bakwataganya ebiri mu Koseya 2:23 n’okukuŋŋaanyizibwa kw’ensigalira ya Isiraeri ow’omwoyo.—Abaruumi 9:25, 26; 1 Peetero 2:10.
Bye Tuyigamu:
1:2-9; 3:1, 2. Lowooza ku ngeri Koseya gye yagondera ekiragiro kya Katonda n’asigala ne mukazi we omwenzi, ekintu ye ku lulwe ky’atandikoze! Bwe kituuka ku kukola Katonda by’ayagala, tuli beetegefu okwerekereza ebyo bye twandyagadde okukola?
1:6-9. Yakuwa akyawa obwenzi obw’eby’omwoyo, nga bw’akyawa obwenzi obw’omubiri.
1:7, 10, 11; 2:14-23. Yakuwa kye yalagula ku Isiraeri ne Yuda kyatuukirira. Ekigambo kya Yakuwa bulijjo kituukirira.
2:16, 19, 21-23; 3:1-4. Yakuwa mwetegefu okusonyiwa abo abeenenya mu bwesimbu. (Nekkemiya 9:17) Okufaananako Yakuwa, tusaanidde okuba abasaasizi era ab’ekisa mu nkolagana yaffe n’abalala.
“YAKUWA ALINA KY’AVUNAANA”
“Yakuwa alina ky’avunaana abantu abali mu nsi eyo.” Lwaki? Kubanga “tewali mazima newakubadde ekisa newakubadde okumanya Katonda mu nsi eyo.” (Koseya 4:1, NW) Abantu b’omu Isiraeri bakyewaggula beenyigidde mu bikolwa eby’obukumpanya, n’okuyiwa omusaayi era ne mu bwenzi obw’omubiri n’obw’omwoyo. Mu kifo ky’okwesiga Katonda abayambe, “bakaabira Misiri, bagenda eri Obwasuli.”—Koseya 7:11.
Yakuwa alangirira omusango ng’agamba nti: “Isiraeri aliiriddwa ddala.” (Koseya 8:8) Obwakabaka bwa Yuda bulina omusango. Koseya 12:2, NW wagamba nti: “Yakuwa alina ky’avunaana Yuda, era alibonereza Yakobo ng’amakubo ge bwe gali; alimusasula ng’ebikolwa bye bwe biri.” Naye waliwo essuubi ekkakafu ery’okudda ku butaka, kubanga Katonda agamba nti: “Ndibanunula eri amaanyi ag’amagombe; ndibagula eri okufa.”—Koseya 13:14.
Ebibuuzo Ebikwata ku Byawandiikibwa Biddibwamu:
6:1-3—Ani yali agamba nti: “Mujje tudde eri Mukama”? Abaisiraeri abataali beesigwa bayinza okuba nga baakubirizanga bannaabwe okudda eri Yakuwa. Bwe kiba kityo, okwenenya kwabwe tekwali kwa bwesimbu. Okwagala kwabwe kwali kwa kaseera buseera ‘ng’ekire eky’enkya era ng’omusulo oguggwako nga bukyali.’ (Koseya 6:4) Ku luuyi olulala, Koseya ayinza okuba nga ye yayogera ebigambo ebyo ng’akubiriza abantu okudda eri Yakuwa. K’abe ani eyali ayogera, bakyewaggula ab’omu bwakabaka bwa Isiraeri obw’omu bukiika kkono baali balina okwenenya mu bwesimbu era badde eri Yakuwa.
7:4—Mu ngeri ki Abaisiraeri abenzi gye baali ‘ng’akabiga akakumibwa’? Kino kiraga nti obubi obwali mu mitima gwabwe bwali busukkiridde.
Bye Tuyigamu:
4:1, 6. Bwe tuba twagala okusigala nga tusiimibwa Yakuwa, tulina okweyongera okuyiga by’ayagala n’okubissa mu nkola.
4:9-13. Yakuwa ajja kusalira omusango abo abeenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’okusinza okutali kulongoofu.—Koseya 1:4.
5:1. Abo abatwala obukulembeze mu bantu ba Katonda balina okwewalira ddala obwa kyewaggula. Bwe kitaba kityo bayinza okuleetera abamu okwenyigira mu kusinza okw’obulimba, mu ngeri eyo ne bafuuka ‘ekyambika era ekitimba’ gye bali.
6:1-4; 7:14, 16. Okugamba obugambi nti twenenyezza tekigasa era buba bunnanfuusi. Okusobola okufuna obusaasizi bwa Katonda, omwonoonyi alina okwenenya mu bwesimbu, kino nga kyeyolekera mu kuba nti akomawo eri “ekintu ekya waggulu,” kwe kugamba, okusinza okugulumiziddwa. Ebikolwa bye birina okuba nga bituukana n’emitindo gya Katonda egya waggulu.—Koseya 7:16, NW.
6:6. Okwonoona mu bugenderevu kiraga obutaba na kwagala eri Katonda. Tewali ssaddaaka ya bya mwoyo yonna gy’oyinza kuwaayo kuzibiikiriza bibi ebyo.
8:7, 13; 10:13. Omusingi ogugamba nti, “omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula” gwatuukirira ku Baisiraeri abenzi.—Abaggalatiya 6:7.
8:8; 9:17; 13:16. Obunnabbi obukwata ku bwakabaka obw’omu bukiika kkono bwatuukirira ng’ekibuga kyabwo ekikulu, Samaliya, kiwambibwa Bwasuli. (2 Bassekabaka 17:3-6) Tusobola okuba abakakafu nti Katonda ajja kukola ekyo ky’agambye era nti ajja kutuukiriza ky’ayogedde.—Okubala 23:19.
8:14. Mu 607 B.C.E., Yakuwa yasindika “omuliro ku bibuga [bya Yuda]” ng’akozesa Abababulooni, n’afuula Yerusaalemi n’ensi ya Yuda matongo nga bwe kyali kiraguddwa. (2 Ebyomumirembe 36:19) Ekigambo kya Katonda tekiyinza butatuukirira.—Yoswa 23:14.
9:10. Wadde nga baali beewaddeyo eri Katonda ow’amazima, Abaisiraeri “bajja eri Baalipyoli, ne beeyawulira ekyo ekikwasa ensonyi.” Kiba kya magezi kino okukitwala ng’okulabula ne twewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona obuweereza bwaffe eri Yakuwa.—1 Abakkolinso 10:11.
10:1, 2, 12. Tusaanidde okusinza Katonda n’omutima ogutaliimu bukuusa. Bwe ‘twesigira ensigo mu butuukirivu, tujja kukungula mu kusaasirwa kwa Katonda.’
10:5. Besaveni (ekitegeeza “Ennyumba ey’Okulumya”) linnya lya bunyoomi eryaweebwa Beseri (ekitegeeza “Ennyumba ya Katonda”). Ekifaananyi ky’ennyana eya Besaveni bwe kyatwalibwa mu buwaŋŋanguse, abantu b’omu Samaliya baanakuwala olw’okufiirwa ekibumbe kyabwe kye baali basinza. Nga kiba kya busirusiru okwesiga ekifaananyi ekitalina bulamu ekitasobola na kwerwanako!—Zabbuli 135:15-18; Yeremiya 10:3-5.
11:1-4. Yakuwa bulijjo akolagana n’abantu be mu ngeri ey’okwagala. Okugondera Katonda tekinyigiriza.
11:8-11; 13:14. Ekigambo kya Yakuwa ekikwata ku kuzza abantu be mu kusinza okw’amazima ‘tekyadda gy’ali nga kyereere.’ (Isaaya 55:11) Mu 537 B.C.E., ensigalira bakomawo e Yerusaalemi okuva e Bababulooni mu buwaŋŋanguse. (Ezera 2:1; 3:1-3) Byonna Yakuwa bye yayogera okuyitira mu bannabbi be bijja kutuukirira.
12:6. Tusaanidde okuba abamalirivu okulaga ekisa, obwenkanya, n’obutaleka ssuubi lyaffe mu Yakuwa kuddirira.
13:6. Abaisiraeri ‘bakkuta, omutima gwabwe ne gwegulumiza; kye baava beerabira Yakuwa.’ Tulina okwewala omuze gw’okwegulumiza.
“AMAKUBO GA MUKAMA GA NSONGA”
Koseya yeegayirira nti: “Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda, kubanga ogudde olw’obutali butuukirivu bwo.” Akubiriza abantu okugamba Yakuwa nti: “Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky’omu mimwa gyaffe, ng’ente ennume.”—Koseya 14:1, 2.
Omwonoonyi eyeenenyezza asaanidde okujja eri Yakuwa, n’akkiriza amakubo ge, era n’awaayo ssaddaaka ey’okutendereza. Lwaki? Kubanga “amakubo ga Mukama ga nsonga, n’abatuukirivu banaagatambulirangamu.” (Koseya 14:9) Nga kitusanyusa okulaba nti bangi “[bakyajja] eri Mukama nga batya n’eri obulungi bwe mu nnaku ez’oluvannyuma”!—Koseya 3:5.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Obulamu bw’amaka ga Koseya bw’alaga enkolagana eyaliwo wakati wa Yakuwa n’Abaisiraeri
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 17]
Samaliya bwe kyawambibwa mu 740 B.C.E., obwakabaka bwa Isiraeri obw’ebika ekkumi bwakoma