Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Koseya
1. Kibuuzo ki ky’oyinza okuba nga wali weebuuzizzako?
1 ‘Biki bye nnyinza okwefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa mu bujjuvu?’ Oboolyawo wali weebuuzizzaako ekibuuzo ekyo oluvannyuma lw’okufumiitiriza ku birungi Yakuwa by’akukoledde ne ku busaasizi bwe. (Zabbuli. 103:2-4; 116:12) Koseya yakola ekyo Yakuwa kye yamulagira, wadde nga kyali kimwetaagisa okwefiiriza. Tuyinza tutya okumukoppa?
2. Kyakulabirako ki ekirungi Koseya kye yatuteerawo?
2 Buulira mu Biseera Ebizibu: Obubaka bwa nnabbi Koseya okusingira ddala bwali bugenda eri Abaisiraeri abaali mu bwakabaka obw’ebika ekkumi, olw’okuba baali banaatera okuviira ddala ku kusinza okw’amazima. Kabaka Yerobowaamu II yakola ebintu ebibi mu maaso ga Yakuwa era yatumbula okusinza ennyana okwali kwatandikibwawo kabaka Yerobowaamu I. (2 Bassek. 14:23, 24) Bakabaka abaamuddirira beeyongera okutumbula okusinza okw’obulimba, okutuusa obwakabaka obwo lwe bwazikirizibwa mu mwaka gwa 740 E.E.T. Wadde ng’abantu bangi baali beenyigira mu kusinza okw’obulimba, Koseya yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumalira ddala emyaka nga 59. Naffe tuli bamalirivu okubuulira awatali kuddirira, wadde ng’abantu tebeefiirayo era batuziyiza?—2 Tim. 4:2.
3. Ebyaliwo mu bulamu bwa Koseya byoleka bitya obusaasizi bwa Yakuwa?
3 Lowooza ku Busaasizi bwa Yakuwa: Yakuwa yalagira nnabbi Koseya okuwasa “omukazi ow’obwenzi.” (Kos. 1:2) Wadde nga mukazi we, Gomeri, yali amuzaalidde omwana, kirabika oluvannyuma yazaala abaana abalala babiri abataali ba Koseya. Koseya yasonyiwa mukazi we, era ekyo kyalaga engeri Yakuwa gye yasaasiramu Abaisiraeri bwe beenenya. (Kos. 3:1; Bar. 9:22-26) Tuli beetegefu okwerekereza ebyo bye twagala tusobole okumanyisa abantu aba buli ngeri obusaasizi bwa Yakuwa?—1 Kol. 9:19-23.
4. Biki bye tuyinza okwefiiriza okusobola okuweereza Yakuwa?
4 Abaweereza ba Yakuwa abamu beefiirizza emirimu emirungi okusobola okwongera ku biseera bye bamala mu buweereza. Abalala basazeewo obutayingira bufumbo oba obutazaala baana basobole okukulembeza Obwakabaka. Bwe tufumiitiriza ku ebyo Koseya bye yakola, oboolyawo tuyinza okugamba nti, ‘Nze sandisobodde kubikola.’ Kyokka, bwe tugenda tweyongera okusiima Yakuwa by’atukolera olw’ekisa kye eky’ensusso, era ne tumusaba omwoyo gwe omutukuvu, asobola okutuyamba okukola ebintu bye tubadde tulowooza nti tetusobola kukola, nga bwe yayamba Koseya.—Mat. 19:26; Baf. 2:13.