Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Noovemba 11
WIIKI ETANDIKA NOOVEMBA 11
Oluyimba 119 n’Okusaba
□ Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
jl Essomo 5-7 (Ddak. 30)
□ Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Abebbulaniya 1-8 (Ddak. 10)
Na. 1: Abebbulaniya 4:1-16 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Tuyinza Tutya Okulaga nti Tulina “Amagezi Agava Waggulu”?—Yak. 3:17, 18 (Ddak. 5)
Na. 3: Okwagala Bantu Bannaffe Kimala?—rs-E lup. 327 ¶4 (Ddak. 5)
□ Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 10: Engeri Gye Tuyinza Okukola ku Byetaago by’Abalala. Kwogera nga kwa kuweebwa mukadde nga kwesigamiziddwa ku Omunaala gw’Omukuumi ogwa Noovemba 15, 2013, olupapula 8-9
Ddak. 10: Engeri y’Okuvvuunukamu Okutya nga Tuli mu Buweereza. Kukubaganya birowoozo ku bibuuzo bino: (1) Bwe tutuuka ku mulyango gw’omuntu ne tuwulira nga tutidde, okusaba kuyinza kutuyamba kutya? (2) Okweteekateeka obulungi kutuyamba kutya obutatya nnyo? (3) Biki ebiyinza okutuyamba obutatya nnyo nga tubuulira n’omulabirizi akyalira ebibiina? (4) Lwaki gye tukoma okugenda okubuulira, n’okutya gye kukoma okukendeera? (5) Kiki ekikuyambye okuggwaamu okutya?
Ddak. 10: “Mugoberere Ekyokulabirako kya Bannabbi—Koseya.” Kubuuza bibuuzo na kuddamu.
Oluyimba 113 n’Okusaba