Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Okugaba tulakiti Amawulire g’Obwakabaka Na. 38
“Tuli mu kaweefube akolebwa mu nsi yonna ow’okutuusa ku bantu obubaka buno obukulu. Buno bwe bubaka bwo.”
Weetegereze: Okusobola okumalako ekitundu kye tubuuliramu, kirungi okukozesa ennyanjula ennyimpimpi. Kyokka oluusi oyo gwe tuba tubuulira ayinza okusiima obubaka bwaffe n’ayagala okumanya ebisingawo. Bwe kiba bwe kityo, musabe akuwe ndowooza ye ku kibuuzo ekiri ku kungulu ku tulakiti eyo, musomere eky’okuddamu okuva mu Bayibuli ekiri mu tulakiti, era obudde bwe bubaawo mukubaganye ebirowoozo ku bimu ku ebyo ebiri mu tulakiti. Nga tonnagenda, mulage ekibuuzo ekiri emabega wa tulakiti ekirina omutwe, “Ky’Oyinza Okulowoozaako” era okole enteekateeka ey’okuddayo mukikubaganyeeko ebirowoozo.
Omunaala gw’Omukuumi Noovemba 1
“Olowooza kintu ki ekikyasinze okuba eky’obulimba eky’okwogera ku Katonda? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli eraga nti Katonda ayagala abantu bamwagale era bamwesige. [Soma Isaaya 41:13.] Akatabo kano kalaga ebintu bisatu eby’obulimba ebitera okwogerwa ku Katonda ebiviiriddeko abantu bangi okumukyawa.”
Awake! Noovemba
“Abantu bangi be twogeddeko nabo balaba ng’empisa ziggweredde ddala mu bantu. Ggwe ekyo okiraba otya? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bayibuli yalaga dda nti endowooza n’empisa z’abantu byandikyuse. [Soma 2 Timoseewo 3:1-5.] Akatabo kano kalaga ensonga eyandituleetedde okwesiga emitindo gy’empisa egiri mu Bayibuli.”