Engeri Gye Tuyinza Okukola ku Byetaago by’Abalala
OW’OLUGANDA ayitibwa François, aweereza ng’omukadde era abeera mu nsi emu ekyakulaakulana yagamba nti: “Oluvannyuma lw’okulonda, waabalukawo obwegugungo mu ggwanga era ekyo ne kiviirako Abajulirwa ba Yakuwa bangi okuleka amaka gaabwe ne badduka. Emmere n’eddagala byafuuka bya bbula, era ebyali bisigaddewo byali bya buseere nnyo. Bbanka zaggalwawo, era ebyuma bya ATM byaggwamu ssente ate ebirala ne bisalwako.”
Ab’oluganda ku ofiisi y’ettabi baasitukiramu ne batwala obuyambi eri bakkiriza bannaabwe abaali bakuŋŋaanidde ku Bizimbe by’Obwakabaka ebitali bimu okwetooloola eggwanga. Abantu abaali balwanagana baazibanga enguudo. Naye olw’okuba baali bakimanyi nti Abajulirwa ba Yakuwa tebaaliiko ludda lwe bawagira mu by’obufuzi, baateranga okukkiriza emmotoka ezaavanga ku ofiisi y’ettabi okuyitawo.
François yagamba nti: “Lumu bwe twali tugenda ku Kizimbe ky’Obwakabaka ekimu, abasirikale baasindirira emmotoka yaffe amasasi. Naye amasasi ago gaayita wakati waffe era tegaatukwasa. Bwe twalaba omusirikale eyalina emmundu ng’adduka ajja gye tuli, twazza emmotoka yaffe emabega, oluvannyuma ne tugikyusa ne tuvuga ku sipiidi ne tuddayo ku ofiisi y’ettabi. Yakuwa ye yatutaasa. Olunaku olwaddako, ab’oluganda 130 abaali mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyo baasobola okuddukira mu kifo awataali bwegugungo. Ab’oluganda abamu bajja ku ofiisi y’ettabi, ne tubalabirira mu by’omwoyo ne mu by’omubiri okutuusa embeera lwe yatereera.”
François agamba nti: “Oluvannyuma ofiisi y’ettabi yafuna amabaluwa mangi okuva mu b’oluganda ababeera mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga basiima ebyo byonna ab’oluganda bye baali babakoledde. Okulaba engeri ab’oluganda ab’enjawulo gye baabayambamu kyabaleetera okwongera okwesiga Yakuwa.”
Bakkiriza bannaffe bwe bagwirwako obutyabaga, tetubagamba nti ‘mubugume era mulye mukkute.’ (Yak. 2:15, 16) Mu kifo ky’ekyo, tukola kyonna ekisoboka okubayamba. Oluvannyuma lw’okukitegeerako nti waaliwo enjala eyali egenda okugwa, ‘abayigirizwa mu kyasa ekyasooka baasalawo buli omu ku bo okusinziira ku busobozi bwe, okuwaayo obuyambi eri ab’oluganda ab’omu Buyudaaya.’—Bik. 11:28-30.
Abaweereza ba Yakuwa tufuba okukola ku byetaago by’abalala eby’omubiri. Naye era tukimanyi nti abantu beetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo. (Mat. 5:3) Okusobola okuyamba abantu mu by’omwoyo, Yesu yalagira abagoberezi be okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Tufuba okukozesa ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’eby’obugagga byaffe okuwagira omulimu gw’okubuulira. Ebiseera ebimu, ekibiina kya Yakuwa kikozesa ezimu ku ssente eziweebwayo kyeyagalire okukola ku byetaago by’abalala eby’omubiri, naye okusingira ddala kikozesa ssente ezo mu mulimu gw’Obwakabaka. Mu ngeri eyo, tukiraga nti twagala Katonda ne bantu bannaffe.—Mat. 22:37-39.
Abo ababaako bye bawaayo okuwagira omulimu gw’Abajulirwa ba Yakuwa ogukolebwa mu nsi yonna basaanidde okuba abakakafu nti ebyo bye bawaayo bikozesebwa bulungi. Olina ky’osobola okukola okusobola okuyamba bakkiriza banno abali mu bwetaavu? Oyagala okuwagira omulimu gw’okufuula abantu abayigirizwa? Bwe kiba kityo, “tommanga birungi abo abagwanira, bwe [kiba] kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.”—Nge. 3:27.