LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w15 11/15 lup. 14-15
  • Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA Y’ASINGAYO OKUBA OMUGABI
  • “Omulimu Munene”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Engeri Gye Tuyinza Okukola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
w15 11/15 lup. 14-15
Omukazi ng’awaayo ssente ng’akozesa kaadi

Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde

YAKUWA KATONDA mugabi nnyo. (Yak. 1:17) Ekyo tukirabira ku bintu ebingi ennyo bye yakola ebiri mu bwengula n’ebyo ebiri ku nsi.—Zab. 65:12, 13; 147:7, 8; 148:3, 4.

Omuwandiisi wa Zabbuli yasiima nnyo ebyo Omutonzi we bye yakola n’atuuka n’okuyiiya oluyimba olumutendereza. Soma Zabbuli 104, olabe obanga naawe okkiriziganya n’ebigambo bye. Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Naayimbiranga Mukama nga nkyali mulamu: Naayimbanga okutendereza Katonda wange nga nkyaliwo.” (Zab. 104:33) Naawe ekyo ky’oyagala okukola?

YAKUWA Y’ASINGAYO OKUBA OMUGABI

Yakuwa ayagala tumukoppe mu kwoleka omwoyo omugabi. Era atubuulira ensonga lwaki tusaanidde okwoleka omwoyo omugabi. Yaluŋŋamya omutume Pawulo okuwandiika nti: “Lagira abagagga ab’omu nteekateeka y’ebintu eno obuteegulumiza, era n’obutateeka ssuubi lyabwe mu by’obugagga ebitali bya lubeerera, wabula mu Katonda atuwa byonna mu bungi olw’okutusanyusa; bakolenga ebirungi, babenga bagagga mu bikolwa ebirungi, bagabenga, bagabane n’abalala, nga beeterekera eby’obugagga, kwe kugamba, omusingi omulungi gwe balizimbako mu biseera eby’omu maaso, basobole okunyweza obulamu obwa nnamaddala.”—1 Tim. 6:17-19.

Mu bbaluwa ey’okubiri Pawulo gye yawandiikira ekibiina ky’e Kkolinso, yalaga endowooza ennuŋŋamu gye tulina okuba nayo ku kugaba. Yagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” (2 Kol. 9:7) Oluvannyuma, Pawulo yalaga emiganyulo egiva mu kwoleka omwoyo omugabi: kiganyula abo ababa baweereddwa n’abo ababa bawaddeyo.—2 Kol. 9:11-14.

Pawulo era yayogera ku kintu ekisingayo okwoleka nti Katonda mugabi. Yagamba nti: “Katonda yeebazibwe olw’ekirabo kye ekitalojjeka.” (2 Kol. 9:15) Ekirabo ekyo kizingiramu ebintu byonna Katonda by’awadde abantu be okuyitira mu Yesu Kristo. Ekirabo ekyo kya muwendo nnyo ne kiba nti tekirojjeka.

Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa n’Omwana we olw’ebyo bye batukoledde n’ebyo bye bajja okutukolera mu biseera eby’omu maaso? Engeri emu ekyo gye tuyinza okukikolamu, kwe kuwaayo ebiseera byaffe, amaanyi gaffe, n’ebintu byaffe okuwagira okusinza okw’amazima, ka tube nga tulina bingi oba bitono.—1 Byom. 22:14; 29:3-5; Luk. 21:1-4.

Engeri Abamu Gye Bawaayo Okuwagira Omulimu Mu Nsi Yonna

Nga bwe kyali mu kiseera ky’omutume Pawulo, ne leero bangi babaako ssente ze bawaayo nga baziteeka mu kasanduuko omuteekebwa ssente eziweebwayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (1 Kol. 16:2) Ku nkomerero ya buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era omuntu asobola okubaako ky’awaayo ng’akisindika butereevu ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ye. Bw’oba oyagala okumanya endagiriro ya ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo, genda ku mukutu gwaffe ogwa www.pr418.com. Ebimu ku bintu by’osobola okuwaayo ng’okolagana butereevu ne ofiisi y’ettabi bye bino:

EBIWEEBWAYO OBUTEREEVU

  • Omuntu asobola okuwaayo ssente okuva ku akawunta ye eya bbanka ng’akozesa Intaneeti oba ng’akozesa debit card, oba credit card. Mu nsi ezimu, ekyo omuntu ayinza okukikola ng’akozesa jw.org oba omukutu gwa intaneeti omulala gwonna ogukozesebwa ofiisi y’ettabbi ly’Abajulirwa ba Yakuwa.

  • Ssente enkalu, amajjolobera, oba ebintu ebirala eby’omuwendo. Owandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente oba ebintu ebirala by’oba owaddeyo, obiwaddeyo ng’ekirabo.

OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO

  • Omuntu awaayo ssente ze ne zikozesebwa ekibiina kya Yakuwa naye nga zisobola okumuddizibwa w’azisabira.

  • Alina okuwandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente z’awaddeyo ziriko akakwakkulizo.

OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA

Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu n’ebintu eby’omuwendo, waliwo engeri endala gy’oyinza okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Engeri ezo ziragiddwa wammanga. Bw’oba oyagala okuwaayo ng’okozesa emu ku ngeri ezo, osaanidde okusooka okwebuuza ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo. Okuva bwe kiri nti ensi ezitali zimu zirina amateeka ga njawulo agakwata ku by’emisolo, kikulu okusooka okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo.

Yinsuwalensi: Omuntu akiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ssente Eziri mu Bbanka: Ng’agoberera amateeka ga bbanka ye, omuntu ayinza okulagira bbanka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ye ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwa ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa.

Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa. Oyo aba awaddeyo bayinza okumukendeereza ku musolo gw’alina okusasula mu mwaka ogwo.

Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afanga, ebintu bye, ssente ze, oba amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni, biweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okukendeezebwa ku misolo gy’esasula.

Omuntu ayagala okuwaayo ng’ayitira mu emu ku ngeri zino asaanidde okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Ebimu ku bintu ebiri mu brocuwa eno biyinza okuba nga tebikwata ku mbeera yo okuva bwe kiri nti amateeka agakwata ku by’emisolo mu nsi yo gayinza okuba nga ga njawulo. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okusoma brocuwa eyo, weebuuze ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo. Bangi ku abo abawagidde omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna nga bawaayo mu ngeri ng’ezo, ab’obuyinza babakendeerezza ku misolo gye basasula. Bw’oba oyagala brocuwa eyo, yogerako n’omuwandiisi w’ekibiina kyammwe agikufunire.

Okumanya ebisingawo, weebuuze ku ofiisi y’ettabi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share