LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w16 Noovemba lup. 19-20
  • “Omulimu Munene”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Omulimu Munene”
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Similar Material
  • Kirage nti Osiima Ebyo Yakuwa by’Atukoledde
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Yakuwa Awa Omukisa Abo Abawaayo n’Omutima Ogutawalirizibwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
  • Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Engeri Gye Tuyinza Okukola ku Byetaago by’Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
w16 Noovemba lup. 19-20
Kabaka Dawudi ng’alaga omusajja pulaani ya yeekaalu; ow’oluganda ng’atunuulira pulaani y’ekizimbe

“Omulimu Munene”

EKISEERA kituuse olukuŋŋaana olukulu ennyo oluli mu Yerusaalemi lutandike. Kabaka Dawudi akuŋŋaanyizza abaami, abakungu b’omu lubiri, n’abasajja ab’amaanyi. Bonna abaliwo basanyuka nnyo okuwulira ekirango eky’enjawulo. Yakuwa alonze Sulemaani, mutabani wa Dawudi, okuzimba yeekaalu ejja okukozesebwa mu kusinza Katonda ow’amazima. Katonda yawa Kabaka Dawudi, kati akaddiye, pulaani ya yeekaalu eyo era Dawudi agikwasizza Sulemaani. Dawudi agamba nti: “Omulimu munene; kubanga yeekaalu si ya muntu wabula ya Yakuwa Katonda.”​—1 Byom. 28:1, 2, 6, 11, 12; 29:1.

Oluvannyuma Dawudi abuuza abantu nti: “Ani ayagala okubaako ky’awa Yakuwa leero?” (1 Byom. 29:5) Singa waliwo ku lukuŋŋaana olwo, kiki kye wandikoze? Wandibaddeko ne ky’owaayo okuwagira omulimu ogwo omunene? Abayisirayiri baawagira omulimu ogwo. Mu butuufu abantu “basanyuka olw’okuwaayo . . . eri Yakuwa ebiweebwayo ebya kyeyagalire n’omutima gwabwe gwonna.”​—1 Byom. 29:9.

Nga wayiseewo ebyasa by’emyaka, Yakuwa yassaawo yeekaalu ey’eby’omwoyo esingira ewala yeekaalu Sulemaani gye yazimba. Yeekaalu ey’eby’omwoyo ye nteekateeka Yakuwa gye yassaawo abantu okumusinza nga bayitira mu ssaddaaka ya Yesu. (Beb. 9:11, 12) Yakuwa ayamba atya abantu okutabagana naye leero? Ekyo akikola okuyitira mu mulimu gw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. (Mat. 28:19, 20) Okuyitira mu mulimu ogwo, buli mwaka abantu bukadde na bukadde bayigirizibwa Bayibuli, bangi ku bo babatizibwa, era ebibiina bingi bitandikibwawo.

Enkulaakulana eyo ereetawo obwetaavu obw’okwongera ku muwendo gw’ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli ebikubibwa, obw’okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka, n’obw’okuzimba ebizimbe ebituuza enkuŋŋaana ennene. Naawe okiraba nti omulimu gwe tukola ogw’okubuulira amawulire amalungi munene nnyo?​—Mat. 24:14.

Olw’okuba baagala Katonda ne bantu bannaabwe, era olw’okuba bakimanyi nti omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi mukulu nnyo, abaweereza ba Katonda bawaayo kyeyagalire okuwagira omulimu ogwo. Nga kitusanyusa nnyo okussaamu Yakuwa ekitiibwa nga tumuwa ku bintu byaffe eby’omuwendo, era ne tulaba engeri ebyo bye tuwaayo gye bikozesebwamu obulungi okuwagira omulimu ogusingayo obukulu mu byafaayo by’omuntu!​—Nge. 3:9.

Engeri Abamu Gye Bawaayo Okuwagira Omulimu Mu Nsi Yonna

Nga bwe kyali mu kiseera ky’omutume Pawulo, ne leero bangi babaako ssente ze bawaayo nga baziteeka mu kasanduuko omuteekebwa ssente eziweebwayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (1 Kol. 16:2) Ku nkomerero ya buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era omuntu asobola okubaako ky’awaayo ng’akisindika butereevu ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ye. Bw’oba oyagala okumanya endagiriro ya ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo, genda ku mukutu gwaffe ogwa www.pr418.com. Ebimu ku bintu by’osobola okuwaayo ng’okolagana butereevu ne ofiisi y’ettabi bye bino:

EBIWEEBWAYO OBUTEREEVU

  • Omuntu asobola okuwaayo ssente okuva ku akawunta ye eya bbanka ng’akozesa Intaneeti oba ng’akozesa debit card, oba credit card. Mu nsi ezimu, ekyo omuntu ayinza okukikola ng’akozesa jw.org oba omukutu gwa intaneeti omulala gwonna ogukozesebwa ofiisi y’ettabbi ly’Abajulirwa ba Yakuwa.

  • Ssente enkalu, amajjolobera, oba ebintu ebirala eby’omuwendo. Owandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente oba ebintu ebirala by’oba owaddeyo, obiwaddeyo ng’ekirabo.

OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO

  • Omuntu awaayo ssente ze ne zikozesebwa ekibiina kya Yakuwa naye nga zisobola okumuddizibwa w’azisabira.

  • Alina okuwandiikirako ebbaluwa eraga nti ssente z’awaddeyo ziriko akakwakkulizo.

OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA

Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu n’ebintu eby’omuwendo, waliwo engeri endala gy’oyinza okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Engeri ezo ziragiddwa wammanga. Bw’oba oyagala okuwaayo ng’okozesa emu ku ngeri ezo, osaanidde okusooka okwebuuza ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo. Okuva bwe kiri nti ensi ezitali zimu zirina amateeka ga njawulo agakwata ku by’emisolo, kikulu okusooka okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo.

Yinsuwalensi: Omuntu akiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ssente Eziri mu Bbanka: Ng’agoberera amateeka ga bbanka ye, omuntu ayinza okulagira bbanka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ye ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.

Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwa ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa.

Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa. Oyo aba awaddeyo bayinza okumukendeereza ku musolo gw’alina okusasula mu mwaka ogwo.

Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afanga, ebintu bye, ssente ze, oba amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni, biweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okukendeezebwa ku misolo gy’esasula.

Omuntu ayagala okuwaayo ng’ayitira mu emu ku ngeri zino asaanidde okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Ebimu ku bintu ebiri mu brocuwa eno biyinza okuba nga tebikwata ku mbeera yo okuva bwe kiri nti amateeka agakwata ku by’emisolo mu nsi yo gayinza okuba nga ga njawulo. Bangi ku abo abawagidde omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna nga bawaayo mu ngeri ng’ezo, ab’obuyinza babakendeerezza ku misolo gye basasula. Bw’oba oyagala brocuwa eyo, yogerako n’omuwandiisi w’ekibiina kyammwe agikufunire.

Okumanya ebisingawo, genda ku jw.org, onyige ku bigambo “Make a Donation to Our Worldwide Work” oba weebuuze ku ofiisi y’ettabi.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share