Bye Baawaayo Byakola ku Byetaago by’Abalala
MU MWAKA gwa 49 E.E. Peetero, Yakobo, ne Yokaana, “abaali batwalibwa ng’empagi mu kibiina,” baakwasa omutume Pawulo ne Balunabba obuvunaanyizibwa obw’amaanyi. Baabalagira okufaayo ku byetaago by’ab’oluganda abaali mu bwetaavu nga babuulira mu b’amawanga. (Bag. 2:9, 10) Baasobola batya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo?
Bye tusoma mu bbaluwa Pawulo ze yawandiika biraga nti yafuba nnyo okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo. Ng’ekyokulabirako, bwe yali awandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolinso Pawulo yagamba nti: “Ku bikwata ku kukuŋŋaanyiza abatukuvu ebintu, nammwe mukole nga bwe nnalagira ebibiina by’e Ggalatiya. Buli lunaku olusooka mu wiiki buli omu ku mmwe abeeko ky’aterekawo mu nnyumba ye okusinziira ku ebyo by’alina, ebintu bireme kukuŋŋaanyizibwa nga nzize. Naye bwe ndijja eyo, abo be musemba mu mabaluwa ge munaawandiika be ndituma okutwala ekirabo kyammwe e Yerusaalemi.”—1 Kol. 16:1-3.
Mu bbaluwa ye ey’okubiri eri Abakkolinso, Pawulo yaddamu okwogera ku nsonga lwaki ab’oluganda baalina okukuŋŋaanyiza bakkiriza bannaabwe ebintu. Yagamba nti: “Olw’okwenkanankana, bye mulina ebisukka ku bye mwetaaga bikole ku bwetaavu bwabwe.”—2 Kol. 8:12-15.
Pawulo we yawandiikira Abakristaayo ab’e Rooma ebbaluwa, awo nga mu 56 E.E., ab’oluganda kumpi baali bamaze okukuŋŋaanya ebintu ebyo. Yagamba nti: “Nnaatera okugenda e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu. Ab’omu Makedoni ne Akaya basanyufu okugabana ebintu byabwe n’abalala nga babaako bye bawa abaavu ab’omu batukuvu abali e Yerusaalemi.” (Bar. 15:25, 26) Pawulo yatuukiriza obuvunaanyizibwa obwali bumukwasiddwa, kubanga bwe yali azzeeyo e Yerusaalemi era ng’asibiddwa, yagamba Gavana wa Rooma Ferikisi nti: “Nnajja okuleeta ebirabo eby’okugabira ab’eggwanga lyange n’okuwaayo ebiweebwayo.”—Bik. 24:17.
Omwoyo Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka gwe baalina gweyolekera mu bigambo Pawulo bye yayogera ku Bakristaayo ab’omu Makedoni. Yagamba nti: “Baatusaba ku lwabwe era ne batwegayirira nnyo tubawe akakisa bawe abatukuvu ekirabo.” Omutume Pawulo yakubiriza Abakristaayo b’omu Kkolinso nabo okuba n’omwoyo omugabi. Yabagamba nti: “Buli muntu akole nga bw’amaliridde mu mutima gwe, si lwa nnaku oba olw’okuwalirizibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.” Kiki ekyakubiriza ab’oluganda mu bibiina ebyo okwoleka omwoyo omugabi? Baali baagala ‘okukola ku byetaago by’abatukuvu n’okwebaza Katonda.’ (2 Kol. 8:4; 9:7, 12) Ekyo naffe kye kisaanidde okutukubiriza okubaako bye tuwaayo. Yakuwa Katonda awa omukisa abo bonna abooleka omwoyo omugabi, era omukisa gwe gwe gugaggawaza.—Nge. 10:22.
ENGERI ABAMU GYE BAWAAYO OKUWAGIRA OMULIMU MU NSI YONNA
Nga bwe kyali mu kiseera ky’omutume Pawulo, ne leero bangi babaako ssente ze bawaayo nga baziteeka mu kasanduuko omuteekebwa ssente eziweebwayo okuwagira omulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi yonna. (1 Kol. 16:2) Ku nkomerero ya buli mwezi, ebibiina biweereza ssente ezo ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa. Ate era omuntu asobola okubaako ky’awaayo ng’akisindika butereevu ku ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi ye. Bw’oba oyagala okumanya endagiriro ya ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo, genda ku mukutu gwaffe ogwa www.pr418.com. Ebimu ku bintu by’osobola okuwaayo ng’okolagana butereevu ne ofiisi y’ettabi bye bino:
EBIWEEBWAYO OBUTEREEVU
- Ssente enkalu, amajolobero, oba ebintu ebirala eby’omuwendo. 
- Omuntu awaayo mu ngeri eno awandiikirako akabaluwa akalaga nti ssente oba ebintu ebirala by’aba awaddeyo, abiwaddeyo ng’ekirabo. 
OKUWAAYO OKULIKO AKAKWAKKULIZO
- Omuntu awaayo ssente ze ne zikozesebwa ekibiina kya Yakuwa naye nga zisobola okumuddizibwa wonna w’azisabira. 
- Omuntu oyo aba alina okuwandiikirako akabaluwa akalaga nti ssente z’awaddeyo ziriko akakwakkulizo. 
OKUWAAYO OKW’ENGERI ENDALA
Ng’oggyeko okuwaayo ssente enkalu n’ebintu eby’omuwendo, waliwo engeri endala gy’oyinza okuwaayo okuwagira omulimu gw’Obwakabaka ogukolebwa mu nsi yonna. Engeri ezo ziragiddwa wammanga. Bw’oba oyagala okuwaayo ng’okozesa emu ku ngeri ezo, osaanidde okusooka okwebuuza ku ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo. Okuva bwe kiri nti ensi ezitali zimu zirina amateeka ga njawulo agakwata ku by’emisolo, kikulu okusooka okwebuuza ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo nga tonnasalawo ngeri gy’onoowaayo.
Yinsuwalensi: Omuntu akiraga mu buwandiike nti bw’afanga, ssente ze eza pensoni oba eza yinsuwalensi gye yasasula ku bulamu bwe, ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.
Ssente Eziri mu Bbanka: Ng’agoberera amateeka ga bbanka ye, omuntu ayinza okulagira bbanka ye nti bw’afanga, ssente eziba ku akaawunta ze ez’enjawulo ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.
Emigabo oba Ssente Ezaawolebwa: Omuntu ayinza okulagira nti emigabo gye oba ssente ze yawola kampuni oba gavumenti ziweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa.
Ettaka oba Ebizimbe: Ettaka oba ebizimbe ebiyinza okutundibwa bisobola okuweebwa ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Bwe kiba nti ennyumba omuntu gy’awaddeyo ate mw’asula, agibeeramu okutuusa lw’afa.
Okuwaayo ng’Oddizibwa Buli Mwaka: Omuntu awaayo ssente oba emigabo gye eri ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Omuntu awaayo mu ngeri eno abaako ssente engereke ezimuweebwa buli mwaka okutuusa lw’afa, oba eziweebwa omuntu omulala nga bw’aba alagidde. Oyo aba awaddeyo bamukendeereza ku musolo gw’alina okusasula omwaka ogwo.
Ebiraamo oba Ssente Eziri mu Kampuni: Omuntu ayinza okukola ekiraamo n’alagira nti bw’afanga, ebintu bye, ssente ze, oba amagoba agava mu ssente ze yateeka mu kampuni, biweebwe ekibiina ky’Abajulirwa ba Yakuwa. Ssente ng’ezo bwe ziba ziweebwa kibiina kya ddiini, kampuni eziwaayo eyinza okukendeezebwa ku misolo gy’esasula.
Omuntu ayagala okuwaayo mu emu ku ngeri zino alina okusooka okukola enteekateeka ennungi. Waliwo brocuwa mu Lungereza ne mu Lusipeyini eyitibwa Charitable Planning to Benefit Kingdom Service Worldwide esobola okuyamba abo abaagala okuwaayo mu ngeri zino okuwagira omulimu ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. Brocuwa eno eraga engeri ezitali zimu omuntu mw’ayinza okuyitira okuwaayo mu buliwo oba ng’akola ekiraamo. Ebimu ku bintu ebiri mu brocuwa eno biyinza okuba nga tebikwata ku mbeera yo okuva bwe kiri nti amateeka agakwata ku by’emisolo mu nsi yo gayinza okuba nga ga njawulo. N’olwekyo, oluvannyuma lw’okusoma brocuwa eyo, weebuuze ku abo abamanyi obulungi amateeka n’eby’emisolo. Bangi ku abo abawagidde omulimu gwaffe ogw’obwannakyewa ogukolebwa mu nsi yonna nga bawaayo mu ngeri ng’ezo, ab’obuyinza babakendeerezza ku misolo gye basasula. Bw’oba oyagala brocuwa eyo, yogerako n’omuwandiisi w’ekibiina kyammwe agikufunire.
Okumanya ebisingawo, wandiikira Charitable Planning Office ku ndagiriro eno wammanga, oba kubayo essimu; ku luuyi olulala oyinza okuwandiikira ofiisi y’ettabi erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yo.