LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w06 12/1 lup. 8-12
  • Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Laga nti Oyagala Katonda
  • Laga Okwagala eri Omwana wa Katonda
  • Leka Omwoyo gwa Katonda Gukukulembere
  • Laga Abalala Okwagala Okwannamaddala
  • Kuuma Omuntu Wo ow’Omunda nga Mulungi
  • Ebintu Ebirala Ebituyamba Okwewala Empisa Embi
  • Kitya ng’Oyonoonye?
  • ‘Mwekuumirenga mu Kwagala kwa Katonda’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2009
  • Oyonoonye eri Omwoyo Omutukuvu?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
  • ‘Okwagala Katonda kye Kitegeeza’
    ‘Mwekuumire Mu Kwagala Kwa Katonda’
  • Okwagala kwa Katonda kwa Lubeerera
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
w06 12/1 lup. 8-12

Weekuumire mu Kwagala kwa Katonda!

‘Abaagalwa, mwekuumire mu kwagala kwa Katonda, nga musuubira obulamu obutaggwaawo.’​—YUDA 20, 21.

1, 2. Oyinza otya okusigala mu kwagala kwa Katonda?

YAKUWA yayagala nnyo abantu n’atuuka n’okuwaayo Omwana we omu eyazaalibwa omu yekka bonna abamukkiriza basobole okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Nga kirungi nnyo okulagibwa okwagala ng’okwo! Bw’oba oli muweereza wa Yakuwa, mazima ddala oyagala okulagibwa okwagala ng’okwo emirembe gyonna.

2 Omuyigirizwa Yuda yalaga engeri gy’oyinza okusigala mu kwagala kwa Katonda. Yawandiika nti, “Bwe mwezimba ku kukkiriza kwammwe okutukuvu ennyo nga musaba mu mwoyo omutukuvu” muyinza ‘okwekuumira mu kwagala kwa Katonda nga mulindirira okusaasira kwa Mukama waffe Yesu Kristo olw’obulamu obutaggwaawo.’ (Yuda 20, 21) Okusoma Ekigambo kya Katonda n’okubuulira amawulire amalungi, kiyinza okukuyamba okunywerera ku ‘kukkiriza okutukuvu’​—enjigiriza ez’Ekikristaayo. Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, oteekwa okusaba ‘n’omwoyo omutukuvu’ oba okuba wansi w’obulabirizi bwagwo. Okusobola okufuna obulamu obutaggwaawo oteekwa okukkiririza mu kinunulo kya Yesu Kristo.​—1 Yokaana 4:10.

3. Lwaki abamu tebakyali Bajulirwa ba Yakuwa?

3 Abamu abaalina okukkiriza tebaasigala mu kwagala kwa Katonda. Olw’okuba baalondawo okweyongera okukola ekibi, tebakyali Bajulirwa ba Yakuwa. Oyinza otya okwewala ekyo okukutuukako? Okufumiitiriza ku nsonga eziddirira kiyinza okukuyamba okwewala ekibi n’osigala mu kwagala kwa Katonda.

Laga nti Oyagala Katonda

4. Obuwulize eri Katonda bukulu kwenkana wa?

4 Laga nti oyagala Katonda ng’omugondera. (Matayo 22:37) Omutume Pawulo yawandiika nti: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye: era ebiragiro bye tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Okubeeranga omuwulize eri Katonda kiyinza okukusobozesa obutatwalirizibwa kukemebwa era n’okukuleetera essanyu. Omuwandiisi wa zabbuli yagamba: “Alina omukisa omuntu atatambulira mu kuteesa kw’ababi, . . . naye [nga] amateeka ga Mukama ge gamusanyusa.”​—Zabbuli 1:1, 2.

5. Okwagala Yakuwa kunaakuleetera kukola ki?

5 Okwagala kw’olina eri Yakuwa kujja kukusobozesa okwewala okukola ekibi eky’amaanyi ekiyinza okuleeta ekivume ku linnya lye. Aguli yagamba: “Tompanga bwavu newakubadde obugagga; Ndisanga emmere gye nneetaaga: nneme okkukutanga ne nkwegaana ne njogera nti Mukama y’ani? Era nnemenga okuba omwavu ne nziba ne njogera bubi erinnya lya Katonda wange.” (Engero 30:1, 8, 9) Beera mumalirivu ‘obutayogera bubi ku linnya lya Katonda’ n’olireetako ekivume. Wabula, bulijjo fubanga okukola ebintu ebirungi ebimuweesa ekitiibwa.​—Zabbuli 86:12.

6. Kiki ekiyinza okubaawo singa okola ekibi mu bugenderevu?

6 Saba obutayosa Kitaffe ow’okwagala ow’omu ggulu akuyambe okuziyiza okukemebwa okukola ekibi. (Matayo 6:13; Abaruumi 12:12) Weeyongere okugoberera okubuulirira kwa Katonda okusaba kwo kulemenga okuziyizibwa. (1 Peetero 3:7) Singa okola ekibi mu bugenderevu ebivaamu biyinza okuba ebibi ennyo, kubanga mu ngeri ey’akabonero, Yakuwa yeebikka ekire essaala z’abajeemu zireme okumutuukako. (Okukungubaga 3:42-44) N’olwekyo, beera mwetoowaze era saba oleme okukola ekintu kyonna ekinaaziyiza essaala zo okutuuka eri Katonda.​—2 Abakkolinso 13:7.

Laga Okwagala eri Omwana wa Katonda

7, 8. Okugoberera okubuulirira kwa Yesu kiyinza kitya okukuyamba okwewala okukola ekibi?

7 Laga nti oyagala Yesu Kristo ng’ogondera amateeka ge, kubanga kino kijja kukuyamba okwewala okukola ekibi. Yesu yagamba: “Bwe mukwata ebiragiro byange, munaabeeranga mu kwagala kwange; nga nze bwe nnakwata ebiragiro bya kitange, ne mbeera mu kwagala kwe.” (Yokaana 15:10) Okussa mu nkola ebigambo bya Yesu ebyo, kiyinza kitya okukuyamba okusigala mu kwagala kwa Katonda?

8 Okussaayo omwoyo ku bigambo bya Yesu ebyo kiyinza okukuyamba okunywerera ku misingi egy’empisa. Etteeka Katonda lye yawa Isiraeri ligamba: “Toyendanga.” (OKuva 20:14) Naye Yesu yalaga omusingi oguli emabega w’ekiragiro ekyo ng’agamba: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:27, 28) Omutume Peetero yagamba nti abamu abaali mu kibiina ky’omu kyasa ekyasooka baalina “amaaso agajjudde obwenzi” era ‘baasendasenda abatali banywevu.’ (2 Peetero 2:14) Kyokka, obutafaananako bo, osobola okwewala ebikolwa eby’obukaba singa olaga nti oyagala Katonda ne Kristo era n’obagondera ate n’oba mumalirivu okukuuma enkolagana ennungi gy’olina nabo.

Leka Omwoyo gwa Katonda Gukukulembere

9. Kubikwata ku mwoyo omutukuvu, kiki ekiyinza okubaawo singa omuntu yeeyongera okukola ekibi?

9 Saba omwoyo gwa Katonda omutukuvu era okkirize gukukulembere. (Lukka 11:13; Abaggalatiya 5:19-25) Singa weeyongera okukola ekibi, Katonda ayinza okukuggyako omwoyo gwe. Oluvannyuma lwa Dawudi okwenda ne Basuseba, yasaba bw’ati Katonda: “Tongoba wooli; So tonziggyako omwoyo gwo omutukuvu.” (Zabbuli 51:11) Olw’okuba Kabaka Sawulo yali mwonoonyi ateenenya, Katonda yamuggyako omwoyo gwe omutukuvu. Sawulo yayonoona ng’awaayo ekiweebwayo ekyokebwa era n’awonyawo endiga, embuzi, n’ente ezimu era ne kabaka w’Abamaleki. Oluvannyuma lw’ekyo, Yakuwa yaggya omwoyo gwe omutukuvu ku Sawulo.​—1 Samwiri 13:1-14; 15:1-35; 16:14-23.

10. Lwaki wandyewaze okulowooza okukola ekibi?

10 Weewalire ddala okulowooza ne ku kukola ekibi. Omutume Pawulo yagamba: “Bwe tugenderera okwonoona nga tumaze okuweebwa okutegeera amazima, [waba] tewasigaddeyo ssaddaaka olw’ekibi.” (Abaebbulaniya 10:26-31) Nga kyandibadde kya kabi nnyo singa okola ekibi mu bugenderevu!

Laga Abalala Okwagala Okwannamaddala

11, 12. Mu ngeri ki okwagala n’okussa ekitiibwa mu bufumbo gye biyinza okutangira omuntu obuteenyigira mu mpisa ez’obukaba?

11 Okwagala bantu banno kujja kukutangira okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. (Matayo 22:39) Okwagala ng’okwo kujja kukuuma omutima gwo oleme kusendasenda omukazi oba omwami w’omuntu omulala mu bubba. Bw’okikola, kiyinza okukuviirako okuggwa mu bwenzi. (Engero 4:23; Yeremiya 4:14; 17:9, 10) Beera nga Yobu omutuukirivu, atakkiriza kutwalirizibwa mukazi mulala.​—Yobu 31:1.

12 Okussa ekitiibwa mu bufumbo kiyinza okukuyamba okwewala okukola ekibi eky’amaanyi. Katonda yakigenderera nti obufumbo obw’ekitiibwa n’okwetaba, abantu mwe bandiyitidde okuzaala. (Olubereberye 1:26-28) Jjukira nti ebitundu eby’ekyama birina kukozesebwa mu kuzaala, era ng’obulamu bw’omuntu oyo azaaliddwa buba butukuvu. Abakaba n’abenzi bajeemera Katonda, tebassa kitiibwa mu kwetaba, mu bufumbo, era bakola ekibi ku mibiri gyabwe. (1 Abakkolinso 6:18) Naye okwagala Katonda ne muliraanwa awamu n’obuwulize eri Katonda bijja kuyamba omuntu okwewala enneeyisa eyinza okumuviirako okugobebwa mu kibiina Ekikristaayo.

13. Mu ngeri ki omwenzi ‘gy’amalawo ebintu bye eby’omuwendo’?

13 Twetaaga okuziyiza ebirowoozo ebibi tuleme kuleetera baagalwa baffe bulumi. Engero 29:3 lugamba: “Oyo abeera n’abakazi abenzi amalawo ebintu bye [eby’omuwendo].” Omwenzi ateenenya ayonoona enkolagana ye ne Katonda era atabangula n’amaka ge. Mukyala we abaako ne ky’asinziirako okugattulula obufumbo. (Matayo 19:9) Ka kibe nti omwami oba omukyala y’ayonoonye, okugattulula obufumbo kiyinza okuleetera munne mu bufumbo, abaana n’abalala obulumi obw’amaanyi. Tokikkiriza nti bwe tumanya akabi akayinza okuva mu nneeyisa ng’eyo embi kyandituleetedde okugyewala?

14. Kiki ekikwata ku kwonoona kye tuyiga okuva mu Engero 6:30-35?

14 Olw’okuba tolina ngeri yonna gy’oyinza kuliyirira munno mu bufumbo ng’okoze obwenzi, ekyo kyandikuleetedde okubwewalira ddala. Engero 6:30-35 ziraga nti abantu bayinza okusaasira omubbi abba olw’okulumwa enjala, naye banyooma omwezi olw’okuba aba n’ekiruubirirwa ekibi. Aba “ayagala okuzikiriza obulamu bwe.” Wansi w’Amateeka ga Musa, yandibadde attibwa. (Eby’Abaleevi 20:10) Olw’okuba ayagala okukkusa okwegomba kwe, oyo akola obwenzi aleetera abalala obulumi, era omwenzi ateenenya tasigala mu kwagala kwa Katonda era agobebwa mu kibiina Ekikristaayo ekiyonjo.

Kuuma Omuntu Wo ow’Omunda nga Mulungi

15. Omuntu ow’omunda ayokeddwa “n’ekyuma ekyokya” abeera mu mbeera ki?

15 Okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda, tetusobola kuleka muntu waffe ow’omunda okuguba n’aba nga takyatulumiriza nga tukoze ekibi. Kya lwatu, tetuteekwa kugoberera emitindo gy’ensi egy’empisa, era tuteekwa okwegendereza bwe kituuka ku kulonda mikwano gyaffe, bye tusoma, era n’eby’okwesanyusaamu. Pawulo yalabula nti: “Mu nnaku ez’oluvannyuma walibaawo abaliva mu kukkiriza, nga bawulira emyoyo egikyamya n’okuyigiriza kwa ba setaani, olw’obunnanfuusi bw’abalimba, nga bookebwa emyoyo [“omuntu ow’omunda,” NW] gyabwe nga n’ekyuma ekyokya.” (1 Timoseewo 4:1, 2) Omuntu ow’omunda ayokebwa “n’ekyuma ekyokya,” alinga enkovu eba ku mubiri era nga omuntu bw’agikwatako tolina ky’owulira. Omuntu ow’omunda ng’oyo aba takyayinza kukulabula kwewala ba kyewaggula n’embeera eziyinza okukuleetera okuva mu kukkiriza.

16. Lwaki kikulu okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo?

16 Obulokozi bwaffe bwesigamye ku kubeera n’omuntu ow’omunda omuyonjo. (1 Peetero 3:21) Olw’okukkiririza mu musaayi gwa Yesu ogwayiibwa, omuntu waffe ow’omunda alongoosebwa okuva mu bikolwa ebifu tusobole “okuweereza Katonda omulamu.” (Abaebbulaniya 9:13, 14) Singa twonoona mu bugenderevu, omuntu waffe ow’omunda ayonooneka era tuba tetukyali bantu balongoofu abagwanira okuweereza Katonda. (Tito 1:15, NW) Naye, n’obuyambi bwa Yakuwa, tusobola okuba n’omuntu ow’omunda omuyonjo.

Ebintu Ebirala Ebituyamba Okwewala Empisa Embi

17. Miganyulo ki egiri mu ‘kugoberera Yakuwa mu byonna’?

17 ‘Goberera Yakuwa mu byonna,’ nga Kalebu w’omu Isiraeri ey’edda bwe yakola. (Ekyamateeka 1:34-36) Kola ekyo Katonda ky’akwetaagisa era tolowooza kulya ku “mmeeza ya balubaale.” (1 Abakkolinso 10:21) Weesambe ba kyewaggula. Weeyambise emmere ey’eby’omwoyo eri ku mmeeza ya Yakuwa era tojja kubuzaabuzibwa bayigiriza ba bulimba oba emyoyo emibi. (Abaefeso 6:12; Yuda 3, 4) Weemalire ku bintu eby’omwoyo ng’okwesomesa Baibuli, okubaawo mu nkuŋŋaana n’okugenda mu buweereza bw’ennimiro. Awatali kubuusabuusa ojja kuba musanyufu bw’onoogoberera Yakuwa mu byonna era n’oba na bingi eby’okukola mu mulimu gwa Mukama waffe.​—1 Abakkolinso 15:58.

18. Okutya Yakuwa kunaakola ki ku nneeyisa yo?

18 Beera mumalirivu ‘okuweereza Katonda n’okutya era ng’omussaamu ekitiibwa.’ (Abaebbulaniya 12:28) Okutya Yakuwa kijja kukuleetera okwesamba ekkubo ebbi. Kujja kukuyamba okugoberera okubuulirira kwa Peetero eri abaafukibwako amafuta okugamba nti: “Bwe mumuyitanga Kitammwe, asala omusango awatali kusaliriza ng’omulimu gwa buli muntu bwe guli, mutambulenga n’entiisa mu biro byammwe eby’okuba abayise.”​—1 Peetero 1:17.

19. Lwaki buli kiseera wanditadde mu nkola ebintu by’oyiga okuva mu Kigambo kya Katonda?

19 Bulijjo teeka mu nkola by’oyiga okuva mu Kigambo kya Katonda. Ekyo kijja kukuyamba okwewala ekibi eky’amaanyi kubanga ojja kuba mu abo ‘abakozesa amagezi gaabwe okwawulawo ekituufu n’ekikyamu.’ (Abaebbulaniya 5:14) Mu kifo ky’obutafaayo ku njogera yo n’enneeyisa yo, fuba nnyo okutambula ng’omuntu ow’amagezi, ‘eyeegulira ebiseera’ mu nnaku zino embi. “Mutegeerenga Mukama waffe ky’ayagala bwe kiri,” era mweyongere okukikola.​—Abaefeso 5:15-17; 2 Peetero 3:17.

20. Lwaki twandyewaze okwegomba?

20 Weewalire ddala okwegomba ebintu eby’abalala. Erimu ku mateeka ekkumi ligamba: “Teweegombanga ennyumba ya muntu munno, teweegombanga mukazi wa muntu munno, newakubadde omuddu we, newakubadde omuzaana we, newakubadde ente ye, newakubadde endogoyi ye, newakubadde buli kintu ekya muntu munno.” (Okuva 20:17) Ennyumba, omukyala, omuzaana ensolo era n’ebintu ebirala eby’omuntu, byakuumibwanga eteeka lino. Naye ekisinga obukulu bye bigambo bya Yesu nti okwegomba kwonoona omuntu.​—Makko 7:20-23.

21, 22. Kiki Omukristaayo ky’ayinza okukola okwewala okwonoona?

21 Weegendereze okwegomba kwo kuleme kukuleetera kukola kibi. Omuyigirizwa Yakobo yawandiika: “Buli muntu akemebwa, ng’awalulwa okwegomba kwe ye n’asendebwasendebwa. Okwegomba okwo ne kulyoka kuba olubuto ne kuzaala okwonoona: n’okwonoona okwo, bwe kumala okukula, ne kuzaala okufa.” (Yakobo 1:14, 15) Ng’ekyokulabirako, singa omuntu yali alina ekizibu ky’okwekamirira omwenge mu biseera eby’emabega, ayinza okusalawo obutabeera na mwenge mu nnyumba ye. Okusobola okwewala okukemebwa okuggwa mu bwenzi n’omuntu bwe mutafaananya butonde, Omukristaayo kiyinza okumwetaagisa okukyusa ekifo ky’akoleramu oba omulimu gwe.​—Engero 6:23-28.

22 Weewale okukola ekintu kyonna ekiyinza okukuviirako okugwa mu kibi. Okuzannyirira n’omuntu bwe mutafaananya butonde n’okulowooza ebintu eby’obugwenyufu, kiyinza okukuviirako okwenyigira mu bukaba oba obwenzi. Okulimba okutonotono kuyinza okuviirako omuntu okulimba ku bintu ebinene ne kimuviiramu okuba n’omuze gw’okulimba. Okubba obuntu obutonotono kiyinza okugubya omuntu ow’omunda ne kikuviirako n’okubba ebintu ebinene. N’okuwulirizaako akatono ebyo bakyewaggula bye bagamba, kiyinza okuviirako omuntu okufuukira ddala kyewaggula.​—Engero 11:9; Okubikkulirwa 21:8.

Kitya ng’Oyonoonye?

23, 24. Kubudaabuda ki kwe tuyinza okufuna okuva mu 2 Ebyomumirembe 6:29, 30 ne Engero 28:13?

23 Abantu bonna tebatuukiridde. (Omubuulizi 7:20) Naye bw’oba ng’okoze ekibi eky’amaanyi, oyinza okubudaabudibwa okusaba kwa Kabaka Sulemaani ng’atongoza yeekaalu ya Yakuwa. Sulemaani yasaba bw’ati Katonda: “Kyonna kyonna omuntu yenna ky’anaasabanga era kyonna ky’aneegayiriranga oba abantu bo bonna Isiraeri, abanaamanyanga buli muntu endwadde ye n’obuyinike bwe ye, n’ayanjuluza engalo ze eri ennyumba eno: Kale owuliranga ggwe ng’oyima mu ggulu ekifo ky’obeeramu, osonyiwanga osasulanga buli muntu ng’amakubo ge gonna bwe gali, gw’omanyiiko omutima gwe; (kubanga ggwe, ggwe wekka, ggwe omanyi emitima gy’abaana b’abantu).”​—2 Ebyomumirembe 6:29, 30.

24 Yee, Katonda amanyi emitima era asonyiwa. Engero 28:13 lugamba: “Abikka ku kusobya kwe taliraba mukisa: Naye buli akwatula n’akuleka alifuna okusaasirwa.” Bwe twenenya ne twatula era ne tuleka ekibi kyaffe Katonda asobola okutusaasira. Naye bw’oba ng’onafuye mu by’omwoyo, kiki ky’oyinza okukola okusobola okusigala mu kwagala kwa Katonda?

Wandizzeemu Otya?

• Tuyinza tutya okwekuumira mu kwagala kwa Katonda?

• Okwagala Katonda ne Kristo kutuyamba kutya okwesamba ekibi?

• Lwaki okwagala abalala kututangira okwenyigira mu bikolwa eby’obukaba?

• Bintu ki ebimu ebiyinza okutuyamba okwewala enneeyisa embi?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]

Yuda atulaga engeri y’okusigala mu kwagala kwa Katonda

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 9]

Okugattulula obufumbo kiyinza okuleetera munno mu bufumbo atalina musango n’abaana obulumi obw’amaanyi

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]

Okufaananako Kalebu, oli mumalirivu ‘okugoberera Yakuwa mu byonna’?

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 11]

Saba obutayosa okufuna obuyambi oleme kutwalirizibwa kukemebwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share