LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w10 1/1 lup. 10
  • Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Similar Material
  • “Weeroboze Obulamu, Olyoke Obenga Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Okusalawo Kukwo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Musa​—Omusajja Eyalina Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yoleka Okukkiriza ng’Okwa Musa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2014
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
w10 1/1 lup. 10

Semberera Katonda

Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo

Ekyamateeka 30:11-20

“N NALOWOOZANGA nti sirisobola kuba mwesigwa eri Yakuwa.” Bw’atyo omukyala omu Omukristaayo bwe yagamba eyali alowooza nti ebyo ebyamutuukako ng’akyali muto byandimulemesezza okuba omwesigwa. Ddala bwe kityo bwe kiri? Ddala ebyo ebiba bitutuuseeko mu bulamu biyinza okutulemesa okuba abeesigwa eri Katonda? Nedda. Yakuwa Katonda atuwadde ekirabo eky’eddembe ly’okwesalirawo, ne kiba nti tusobola okwesalirawo kye twagala okubeera mu bulamu. Yakuwa ayagala tusalewo bulungi, era Ekigambo kye Baibuli, kitubuulira engeri gye tuyinza okukikolamu. Lowooza ku bigambo bya Musa ebiri mu Ekyamateeka essuula 30.

Ddala kizibu okutegeera ebyo Katonda by’atwetaagisa era n’okubikola?a Musa yagamba nti: “Ekiragiro kino kye nkulagira leero tekiiyinze kukukaluubirira, so tekiri wala.” (Olunyiriri 11) Yakuwa tatusaba kukola kintu kye tutasobola. Ebyo by’atwetaagisa si bizibu era tusobola okubimanya. Tekitwetaagisa kulinnya “mu ggulu” oba okugenda ‘emitala w’ennyanja’ okusobola okuyiga Katonda by’atwetaagisa. (Olunyiriri 12, 13) Baibuli etubuulira kaati engeri gye tusaanidde okweyisaamu.​—Mikka 6:8.

Kyokka, Yakuwa tatukaka kumugondera. Musa yagamba nti: ‘Ntadde mu maaso go obulamu n’obulungi, okufa n’obubi.’ (Olunyiriri 15) Tulina eddembe okulondawo obulamu oba okufa, ekirungi oba ekibi. Tuyinza okusalawo okusinza Katonda n’okumugondera ne tufuna emikisa oba okumujeemera ne tufuna emitawaana. Ffe twesalirawo kye twagala.​—Ennyiriri 16-18; Abaggalatiya 6:7, 8.

Ddala Yakuwa afaayo ka tube nga tusazeewo mu ngeri ki? Kya lwatu afaayo! Ng’aluŋŋamiziddwa Katonda, Musa yagamba nti: “Weeroboze obulamu.” (Olunyiriri 19) Kati olwo, tuyinza tutya okweroboza obulamu? Musa yagamba nti: ‘Ng’oyagalanga Mukama Katonda wo, ng’ogonderanga eddoboozi lye, era ng’omunywererako.’ (Olunyiriri 20) Bwe tuba twagala Yakuwa, tujja kumugondera era tumunywerereko, ka kibe ki ekiyinza okubaawo. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulonzeewo obulamu​—obusingayo obulungi mu kiseera kino era tujja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwawo mu nsi ya Katonda empya enaatera okutuuka.​—2 Peetero 3:11-13; 1 Yokaana 5:3.

Ebigambo bya Musa bituzzaamu amaanyi. K’ebeere mbeera ki gy’oyolekaganye nayo mu nsi eno embi, olina ky’osobola okukolawo era osobola okuba omwesigwa. Yakuwa akuwadde ekirabo eky’eddembe ly’okwesalirawo. Yee, osobola okusalawo okumwagala, okumuwulira, n’okuba omwesigwa gyali. Bw’osalawo okukola ekyo, Yakuwa ajja kukuwa emikisa mingi.

Omukyala eyayogeddwako waggulu yabudaabudibwa nnyo bwe yakimanya nti tulina eddembe okusalawo okwagala Yakuwa n’okumuweereza. Agamba nti: “Njagala nnyo Yakuwa. Naye oluusi nneerabira nti ekisinga obukulu kwe kuba nti mwagala. N’olwekyo ndi mukakafu nti nsobola okuba omwesigwa gyali.” Naawe Yakuwa asobola okukuyamba okuba omwesigwa.

[Obugambo obuli wansi]

a Laba ekitundu “Semberera Katonda​—Yakuwa Atwetaagisa Ki?” ekiri mu Watchtower eya Okitobba 1, 2009.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share