LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp18 Na. 2 lup. 14-15
  • Okusalawo Kukwo!

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusalawo Kukwo!
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
  • Subheadings
  • Similar Material
  • SALAWO OKWAGALA KATONDA
  • WULIRIZA EDDOBOOZI LYE
  • MUNYWEREREKO
  • OKUSALAWO KUKWO
  • “Weeroboze Obulamu, Olyoke Obenga Omulamu”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
  • Yakuwa Atuwa Eddembe ly’Okwesalirawo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
  • Osobola Okusalawo Ebiseera Byo eby’Omu Maaso Bwe Binaaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2021
  • Yagala Katonda Akwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2006
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2018
wp18 Na. 2 lup. 14-15
Amasaŋŋanzira

Okusalawo Kukwo!

OSOBOLA OKUSALAWO EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO BWE BINAABEERA? Abantu abamu balowooza nti ebintu ebibatuukako mu bulamu Katonda yabiteekateeka dda. Bwe balemererwa okutuuka ku kye baluubirira, bakivaako buvi ne bagamba nti: “Ekyo tekyantonderwa!”

Abalala baggwaamu amaanyi bwe balaba obutali bwenkanya obujjudde mu nsi. Bayinza okuba nga bafubye okukola basobole okuba obulungi, kyokka ebintu ng’entalo, obumenyi bw’amateeka, obutyabaga, n’endwadde, ne bigootaanya enteekateeka zaabwe. Bayinza okugamba nti, ‘Ntawaanira ki?’

Kyo kituufu nti ebizibu ebibaawo mu bulamu biyinza okugootaanya enteekateeka zo. (Omubuulizi 9:11) Kyokka osobola okusalawo ebiseera byo eby’omu maaso bwe binaabeera. Mu butuufu, Bayibuli eraga nti ebiseera byo eby’omu maaso byesigamye ku ngeri gy’osalawo. Ka tulabe ky’eyogera ku nsonga eyo.

Abayisirayiri bwe baali banaatera okutuuka mu Nsi Ensuubize, Musa eyali omukulembeze waabwe yabagamba nti: ‘Ntadde mu maaso gammwe obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo; mweroboze obulamu mulyoke mubeere balamu mmwe ne bazzukulu bammwe, nga mwagala Yakuwa Katonda wammwe, nga muwuliriza eddoboozi lye, era nga mumunywererako.’​—Ekyamateeka 30:15, 19, 20.

“Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’ekikolimo; weeroboze obulamu.”​—Ekyamateeka 30:19

Katonda yanunula Abayisirayiri n’abaggya mu buddu e Misiri era n’abasuubiza okubatwala mu Nsi Ensuubize basobole okuba mu mbeera ennungi. Naye baalina okubaako kye bakolawo. Baalina ‘okweroboza obulamu.’ Ekyo bandikikoze batya? Baalina ‘okwagala Katonda waabwe, okuwuliriza eddoboozi lye, era n’okumunywererako.’

Ne leero, oyolekaganye n’okusalawo kwe kumu, era ky’onoosalawo kye kijja okulaga engeri ebiseera byo eby’omu maaso bwe binaabeera. Bw’onoosalawo okwagala Katonda, okuwuliriza eddoboozi lye, era n’okumunywererako, ojja kufuna obulamu obutaggwaawo ku nsi. Naye, biki ebizingirwa mu kukola ebintu ebyo byonna?

SALAWO OKWAGALA KATONDA

Katonda y’asinga okuba n’okwagala. Bayibuli egamba nti: “Katonda kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Yesu bwe yabuuzibwa etteeka erisinga obukulu yaddamu nti: “Oyagalanga Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Omuntu okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda talina kumuweereza lwa kutya kubonerezebwa, wabula amuweereza lwa kwagala. Naye lwaki twandisazeewo okwagala Katonda?

Okwagala Katonda kw’alina eri abantu kulinga okwagala omuzadde kw’aba nakwo eri abaana be. Olw’okuba abazadde baba baagala abaana baabwe babe basanyufu, bafuba okubayigiriza, okubakangavvula, n’okubazzaamu amaanyi. Kiki abazadde kye baba baagala abaana baabwe babakolere? Baagala abaana baabwe babaagale era babagondere. Ne Kitaffe ow’omu ggulu ayagala tumwagale era tulage nti tusiima ebirungi byonna by’atukolera.

WULIRIZA EDDOBOOZI LYE

Mu lulimi Bayibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, ekigambo “okuwuliriza” kiyinza okutegeeza “okugondera.” Ekyo si kye tuba tutegeeza bwe tugamba omwana nti, “Wuliriza bazadde bo”? Mu ngeri y’emu, okuwuliriza eddoboozi lya Katonda kitegeeza okuyiga ebimukwatako n’okumugondera. Wadde nga Katonda tayogera naffe butereevu, bwe tukola ebyo bye tuyiga mu Kigambo kye Bayibuli, tuba tuwuliriza eddoboozi lye.​—1 Yokaana 5:3.

Ng’alaga obukulu bw’okuwuliriza eddoboozi lya Katonda, Yesu yagamba nti: “Omuntu taba mulamu lwa mmere yokka, naye aba mulamu olwa buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Matayo 4:4) Ng’okulya bwe kuli okw’omugaso ennyo gye tuli, okuyiga ebikwata ku Katonda kikulu n’okusingawo. Lwaki? Kabaka Sulemaani eyalina amagezi amangi yagamba nti: “Amagezi kya bukuumi nga ne ssente bwe ziri ez’obukuumi, naye ensonga lwaki okumanya kwe kusinga okuba okw’omugaso y’eno: Amagezi gakuuma obulamu bwa nnyini go.” (Omubuulizi 7:12) Amagezi agava eri Katonda gasobola okutuyamba mu kiseera kino, era ne gatusobozesa okufuna obulamu obutaggwaawo mu biseera eby’omu maaso.

MUNYWEREREKO

Jjukira ebigambo bya Yesu bye tulabye mu kitundu ekivuddeko, ebigamba nti: “Omulyango oguyingira mu bulamu mufunda n’ekkubo erituukayo lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.” (Matayo 7:13, 14) Bwe tuba tutambulira mu kkubo ng’eryo, tuba twetaaga alimanyi obulungi n’atulagirira era ne tutambulira wamu naye okutuusa lwe tutuuka gye tulaga. N’olwekyo kikulu nnyo okutambulira awamu ne Katonda. (Zabbuli 16:8) Naye ekyo tuyinza kukikola tutya?

Buli lunaku wabaawo ebintu bingi bye tulina okukola, era n’ebirala bingi bye twandyagadde okukola. Ebintu ng’ebyo biyinza okututwalira ebiseera bingi nnyo ne tuba nga tetulina budde bwa kulowooza ku bintu Katonda by’ayagala tukole. Eyo ye nsonga lwaki Bayibuli etujjukiza nti: “Mwegendereze nnyo engeri gye mutambulamu; temutambula ng’abatalina magezi naye ng’abalina amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera byammwe, kubanga ennaku zino mbi.” (Abeefeso 5:15, 16) Bwe tukulembeza Katonda by’ayagala mu bulamu bwaffe, tuba n’enkolagana ennungi naye.​—Matayo 6:33.

OKUSALAWO KUKWO

Wadde nga tosobola kukyusa byayita, waliwo ky’osobola okukolawo, ggwe n’abantu bo ne muba n’ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Bayibuli eraga nti Kitaffe ow’omu ggulu, Yakuwa Katonda, atwagala nnyo era atubuulira by’ayagala tukole. Weetegereze ebigambo bya nnabbi Mikka bino:

“Akubuulidde ggwe omuntu ekirungi. Era kiki Yakuwa ky’akwetaagisa? Tewali kirala wabula okuba omwenkanya n’okwagala obwesigwa, n’okuba omwetoowaze ng’otambula ne Katonda wo!”​—Mikka 6:8.

Onokkiriza okutambulira awamu ne Yakuwa osobole okufuna obulamu obutaggwaawo bw’ajja okuwa abo abakola by’ayagala? Okusalawo kukwo!

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share