“Weeroboze Obulamu, Olyoke Obenga Omulamu”
“Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo.”—EKYAMATEEKA 30:19.
1, 2. Mu ngeri ki omuntu gye yatondebwa mu kifaananyi kya Katonda?
“TUKOLE omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe.” Ebigambo ebyo Katonda bye yayogera bisangibwa mu ssuula esookera ddala eya Baibuli. Olubereberye 1:26, 27 wagamba nti: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera.” Bwe kityo, omuntu eyasooka yali wa njawulo nnyo ku bitonde ebirala byonna ebyali ku nsi. Yalina engeri ng’ez’Omutonzi we, ng’asobola okutunuulira ebintu nga Katonda bw’abitunuulira, era ng’asobola okwoleka okwagala, obwenkanya, amagezi n’amaanyi. Yalina omuntu ow’omunda eyandimuyambye okusalawo mu ngeri entuufu n’okukola ekyo ekisanyusa Kitaawe ow’omu ggulu. (Abaruumi 2:15) N’olwekyo, Adamu yalina eddembe ery’okwesalirawo. Oluvannyuma lw’okwetegereza omuntu gwe yali atonze, Yakuwa ‘yalaba nga byonna birungi.’—Olubereberye 1:31; Zabbuli 95:6.
2 Okuva bwe kiri nti tuli bazzukulu ba Adamu, naffe twakolebwa mu kifaananyi kya Katonda. Naye, ddala naffe tulina eddembe ery’okwesalirawo eky’okukola? Yee. Wadde Yakuwa alina obusobozi bw’okumanya ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, si y’atuteekerateekera buli kyonna kye tunaakola n’ekinaatutuukako. Bwe yatonda abaana be ab’oku nsi, teyabateekerateekera buli kimu ekyandibatuuseeko. Okusobola okutegeera obukulu bw’okukozesa obulungi eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, ka tubeeko kye tuyigira ku ggwanga lya Isiraeri.—Abaruumi 15:4.
Abaisiraeri Baalina Eddembe ly’Okwesalirawo
3. Eteeka erisooka ku Mateeka Ekkumi lye liruwa, era Abaisiraeri baaligondera batya?
3 Yakuwa yagamba bw’ati Abaisiraeri: “Nze Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi y’e Misiri, mu nnyumba y’obuddu.” (Ekyamateeka 5:6) Okuva bwe kiri nti mu 1513 B.C.E. Yakuwa yanunula eggwanga lya Isiraeri okuva mu buddu bw’e Misiri, Abaisiraeri baali tebasobola kuwakanya bigambo ebyo. Mu Mateeka Ekkumi Yakuwa ge yabawa okuyitira mu Musa, erisooka lyali ligamba nti: “Tobanga na bakatonda balala we ndi.” (Okuva 20:1, 3) Oluvannyuma lw’okubasomera etteeka eryo, Abaisiraeri bakkiriza okuligondera. Etteeka eryo baaligondera nga beemalira ku Yakuwa era ne bamusinza yekka.—Okuva 20:5; Okubala 25:11.
4. (a) Kiki Musa kye yakubiriza Abaisiraeri okulondawo? (b) Kusalawo ki kwe twolekaganye nakwo leero?
4 Nga wayiseewo emyaka 40, Musa yajjukiza omulembe gw’Abaisiraeri abaaliwo nti baali boolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi. Yagamba nti: “Mpita eggulu n’ensi okuba abajulirwa bange gye muli leero, nga ntadde mu maaso go obulamu n’okufa, omukisa n’okukolimirwa: kale weeroboze obulamu, olyoke obenga omulamu, ggwe n’ezzadde lyo.” (Ekyamateeka 30:19) Mu ngeri y’emu leero, naffe twolekaganye n’okusalawo okw’amaanyi. Yee, tusobola okusalawo okuweereza Yakuwa ne tuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo oba okumujeemera ne tuzikirira. Lowooza ku bantu ab’emirundi ebiri abaasalawo mu ngeri ez’enjawulo.
5, 6. Yoswa yasalawo kukola ki, era biki ebyamuviiramu?
5 Mu 1473 B.C.E., Yoswa yakulembera Abaisiraeri okubatwala mu Nsi Ensuubize. Bwe yali anaatera okufa yagamba bw’ati eggwanga lya Isiraeri lyonna: ‘Era oba nga mulowooza nga kibi okuweerezanga Mukama, mweroboze leero gwe munaaweerezanga; oba bakatonda bajjajjammwe abaali emitala w’Omugga be baaweerezanga, oba bakatonda ab’Abamoli, bannannyini nsi mwe muli.’ Nga yeeyogerako awamu n’ab’omu maka ge, yeeyongera n’agamba nti: “Naye nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.”—Yoswa 24:15.
6 Emabegako, Yakuwa yagamba Yoswa okuddamu amaanyi n’okuguma omwoyo, era n’amukuutira obutava ku Mateeka Ge. Bwe yandisomye Amateeka ago emisana n’ekiro, yandifunye emikisa gya Katonda. (Yoswa 1:7, 8) Ekyo Yoswa yakikola era yatuuka ku buwanguzi. Olw’okuba yakola okusalawo okulungi ebyamuviiramu byali birungi. Yagamba: “Tewali kigambo ekitaatuuka mu birungi byonna Mukama bye yagamba ennyumba ya Isiraeri; byonna byatuuka.”—Yoswa 21:45.
7. Mu kiseera kya Isaaya, kusalawo ki Abaisiraeri abamu kwe baakola, era biki ebyavaamu?
7 Ate weetegereze embeera eyaliwo mu Isiraeri oluvannyuma nga 700. Mu kiseera ekyo, Abaisiraeri bangi baali bagoberera empisa ez’ekikaafiiri. Ng’ekyokulabirako, ku lunaku olusembayo mu mwaka, abantu baakuŋŋaana ne bakola embaga era ng’embaga eno yalingako emmere ennyingi n’omwenge oguwoomerera. Kano tekaali kabaga bubaga ab’omu maka ke baakolanga okusobola okwesanyusaamu, wabula gwali mukolo gwa ddiini ogwategekebwanga okusobola okusanyusa bakatonda ababiri ab’eddiini z’ekikaafiiri. Nnabbi Isaaya yalaga endowooza ya Katonda ku kikolwa ekyo eky’obutali bwesigwa. Yagamba nti: “Naye mmwe abaleka Mukama, abeerabira olusozi lwange olutukuvu, abategekera [“katonda,” NW] Mukisa emmeeza, abajjuliza [“katonda ow’Ebigwawo,” NW] omwenge omutabule.” Baakitwala nti katonda “Mukisa” ne katonda “ow’Ebigwawo,” be baabasobozesanga okubaza emmere so si nti Yakuwa ye yali abawadde omukisa. Amazima gali nti olw’okuba baasalawo okwenyigira mu bikolwa eby’obujeemu, ebyabaviiramu tebyali birungi. Yakuwa yabagamba nti: “Ndibateekerawo ekitala, nammwe mwenna mulikutama okuttibwa: kubanga bwe nnayita temwayitaba; bwe nnayogera temwawulira; naye ne mukola ekyali ekibi mu maaso gange ne mulonda ekyo kye ssaasanyukira.” (Isaaya 65:11, 12) Olw’okuba baasalawo mu ngeri ekyamu, baazikirizibwa era katonda waabwe ow’Omukisa n’ow’Ebigwawo tebaasobola okubayamba.
Okusalawo mu Ngeri Entuufu
8. Okusinziira ku Ekyamateeka 30:20, biki ebizingirwa mu kusalawo mu ngeri entuufu?
8 Musa bwe yakubiriza Abaisiraeri okwerobo za obulamu, yalaga ebintu bisatu bye baalina okukola. Baalina ‘Okwagalanga Mukama Katonda waabwe, okugonderanga eddoboozi lye, n’okumunywererako.’ (Ekyamateeka 30:20, NW) Kati ka twetegereze ebintu bino kinnakimu tusobola okusalawo mu ngeri entuufu.
9. Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa?
9 Okwagalanga Yakuwa Katonda waffe: Tusalawo okuweereza Yakuwa kubanga tumwagala. Bwe tulowooza ku ebyo ebyatuuka ku Baisiraeri, kituleetera okwewala ebintu byonna ebiyinza okutuviirako okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’ebyo ebiyinza okutusuula mu katego k’okwagala ebintu. (1 Abakkolinso 10:11; 1 Timoseewo 6:6-10) Tunywerera ku Yakuwa era ne tukwata ebiragiro bye. (Yoswa 23:8; Zabbuli 119:5, 8) Abaisiraeri bwe baali tebannatuuka mu Nsi Nsuubize Musa yabagamba bw’ati: “Laba mbayigiriza amateeka n’emisango, nga Mukama Katonda wange bwe yandagira, mukolenga bwe mutyo wakati mu nsi gye muyingiramu okugirya. Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n’okutegeera kwammwe mu maaso g’amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab’amagezi era abategeera.” (Ekyamateeka 4:5, 6) Kino kye kiseera naffe okulaga nti twagala Yakuwa nga tusoosa by’ayagala mu bulamu bwaffe. Bwe tunaakola bwe tutyo, naye ajja kutuwa emikisa gye.—Matayo 6:33.
10-12. Kiki kye tuyigira ku ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa?
10 Okugondera eddoboozi lya Katonda: Nuuwa yali ‘mubuulizi wa butuukirivu.’ (2 Peetero 2:5) Kyokka, kumpi abantu bonna abaaliwo ng’amataba tegannajja, ‘tebaafaayo’ ku kulabula kwe yabawa. Kiki ekyabatuukako? ‘Amataba gajja ne gabatwala bonna.’ Yesu yagamba nti nga bwe byali mu kiseera kya Nuuwa bwe bityo bwe byandibadde ne ‘mu kiseera eky’okujja, kw’Omwana w’omuntu.’ Bwe kityo, ebyo ebyaliwo mu kiseera kya Nuuwa birina kye biyigiriza abo abagaana okuwuliriza obubaka bwa Katonda leero.—Matayo 24:39.
11 Abo abagaana okulabula Katonda kw’awa okuyitira mu baweereza be ab’omu kiseera kino, basaanidde okukimanya nti ebinaabaviiramu tebijja kuba birungi. Ng’ayogera ku basekerezi ng’abo, omutume Peetero yagamba nti: “Kubanga beerabira kino nga baalaba, ng’edda waaliwo eggulu, n’ensi eyava mu mazzi era yali wakati mu mazzi, olw’ekigambo kya Katonda, ensi ey’edda amazzi kyegaava gagisaanyaawo n’ezikirira: naye eggulu erya kaakano n’ensi olw’ekigambo ekyo biterekeddwa omuliro, nga bikuumibwa okutuusa ku lunaku olw’omusango n’okuzikirira kw’abantu abatatya Katonda.”—2 Peetero 3:3-7.
12 Laba enjawulo eriwo wakati w’ekyo abantu abo kye baakola n’ekyo Nuuwa n’ab’omu maka ge kye baasalawo okukola. “Olw’okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n’atya bulungi n’asiba eryato.” Olw’okuba Nuuwa yakolera ku kulabula okwamuweebwa, kyaviirako ab’omu maka ge okulokolebwa. (Abaebbulaniya 11:7) N’olwekyo, bwe tuweebwa obubaka obuva eri Katonda ka tubeere bangu ba kuwulira era tukolere ku kulabula okuba kutuweereddwa.—Yakobo 1:19, 22-25.
13, 14. (a) Lwaki kikulu ‘okunywerera’ ku Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okuleka ‘Omubumbi waffe’ Yakuwa, okutufuula ky’ayagala?
13 Okunywerera ku Yakuwa: Ng’oggyeko okwagala Yakuwa n’okumugondera, bwe tuba twagala ‘okweroboza obulamu, tusobole okuba omulamu,’ tulina okumunywererako, kwe kugamba, okukolanga by’ayagala. Yesu yagamba nti: “Mu kugumiikiriza kwammwe mulifuna obulamu bwammwe.” (Lukka 21:19) Ekituufu kiri nti, kye tusalawo okukola kye kyoleka ekiri mu mitima gyaffe. Engero 28:14 wagamba nti: “Alina omukisa omuntu atya mu biro byonna. Naye oyo akakanyaza omutima gwe aligwa mu kabi.” Ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno, ye Falaawo owa Misiri ey’edda. Buli Yakuwa lwe yasindikanga Ekibonyoobonyo mu Misiri, mu kifo ky’okumutya, Falaawo yakakanyazanga bukakanyaza mutima gwe. Kyokka, Yakuwa si ye yaleetera Falaawo okujeema wabula yamuleka n’asalawo ky’ayagala. Bwe kityo, ekigendererwa kya Yakuwa kyatuukirizibwa ku Falaawo. Omutume Pawulo yalaga endowooza Yakuwa gye yalina ku Falaawo bwe yagamba nti: “Kubanga ebyawandiikibwa bigamba Falaawo nti Kyennava nkuyimiriza, ndyoke njoleseze amaanyi gange mu ggwe, era erinnya lyange liryoke libuulirwe mu nsi zonna.”—Abaruumi 9:17.
14 Oluvannyuma lw’ebyasa ebiwerako ng’Abaisiraeri banunuddwa mu mukono gwa Falaawo, nnabbi Isaaya yagamba bw’ati: “Ai Mukama, ggwe kitaffe; ffe tuli bbumba, naawe mubumbi waffe; naffe fenna tuli mulimu gwa mukono gwo.” (Isaaya 64:8) Bwe tuleka Yakuwa n’atufuula ky’ayagala nga twesomesa ekigambo kye n’okukikolerako, ekiseera bwe kigenda kiyitawo twambala omuntu omuggya. Tufuuka bawombeefu era nga tuli beetegefu okukyusa mu ngeri gye tweyisaamu, ne kitubeerera kyangu okunywerera ku Yakuwa kubanga tuba twagala okumusanyusa.—Abaefeso 4:23, 24; Abakkolosaayi 3:8-10.
‘Mubibategeezenga’
15. Okusinziira ku Ekyamateeka 4:9, bintu ki ebibiri Abaisiraeri bye baalina okukola Musa bye yabajjukiza?
15 Nga batuuse ku njegoyego y’Ensi Ensuubize, Musa yagamba bw’ati eggwanga lya Isiraeri: “Weegendereze weekuume emmeeme yo ng’onyiikirira, oleme okwerabira ebigambo amaaso go bye gaalaba, bireme okuva mu mutima gwo ennaku zonna ez’obulamu bwo; naye mubitegeezenga abaana bo n’abaana b’abaana bo.” (Ekyamateeka 4:9) Okusobola okufuna emikisa gya Yakuwa n’okubeera obulungi mu nsi gye baali bagendamu, abantu baalina okutuukiriza ebintu bibiri. Baali tebalina kwerabira ebintu eby’ekitalo Yakuwa bye yali abakoledde era baalina n’okubibuulirako emirembe egyandizzeewo. Leero, naffe tulina okukola ekintu kye kimu bwe tuba ‘ab’okweroboza obulamu, tulyoke tubeere abalamu.’ Kati olwo ffe biki Yakuwa by’atukoledde bye twerabiddeko n’agaffe?
16, 17. (a) Abo abatendekeddwa mu Ssomero ly’Abaminsani biki bye basobodde okukola mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka? (b) Waayo ebyokulabirako eby’abo abalaze obunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?
16 Tuli basanyufu okulaba engeri Yakuwa gy’awaddemu omukisa omulimu gwaffe ogw’okubuulira n’okufuula abantu abayigirizwa. Okuva lwe baggulawo Essomero Eritendeka Abaminsani mu 1943, abaminsani bangi bawomye omutwe mu mulimu gw’okubuulira ogukolebwa mu nsi nnyingi. N’okutuusa mu kiseera kino, abaminsani abaasooka okutendekebwa mu ssomero eryo, bakyali banyiikivu mu mulimu gw’okubuulira amawulire g’Obwakabaka, ka babe nga bakaddiye obanga balina obunafu mu mubiri. Ng’ekyokulabirako, Mary Olson, yafuluma mu Ssomero Eritendeka Abaminsani mu 1944. Yasooka kuweereza ng’omuminsani mu Uruguay, n’agenda mu Colombia, era kati ali mu Puerto Rico. Wadde ng’akaddiye era ng’alina obunafu mu mubiri, Mwannyinaffe Olson akyali munyiikivu mu mulimu gw’okubuulira. Olw’okuba yayiga Olusipanisi, buli wiiki afuba okulaba nti agenda n’ababuulizi abali mu kitundu ekyo mu nnimiro.
17 Wadde yafiirwa omwami we, Nancy Porter, eyafuluma mu Ssomero Eritendeka Abaminsani mu 1947, akyaweereza ng’omuminsani mu Bahamas. Mwannyinaffe oyo y’omu ku baminsani abanyiikirira omulimu gw’okubuulira. Agamba:a “Nfunye essanyu mu kuyigiriza abalala amazima ga Baibuli. Kino kinyambye okubeera n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo ekisobozesezza okubeera n’okukkiriza okunywevu.” Mwannyinaffe Porter n’abaweereza abalala abeesigwa bwe balowooza ku bulamu bwabwe obw’emabega, tebasobola kwerabira ebyo Yakuwa by’abakoledde. Ate kiri kitya gye tuli? Tusiima engeri Yakuwa gy’awaddemu omukisa omulimu gw’okubuulira Obwakabaka mu kitundu kyaffe?—Zabbuli 68:11.
18. Tuganyulwa tutya bwe tusoma ebikwata ku bulamu n’obuweereza bw’abaminsani?
18 Tusiima nnyo ebikoleddwa abo abamaze emyaka emingi nga baweereza Yakuwa era n’ebyo bye bakola kati. Tuzibwamu nnyo amaanyi bwe tusoma ebikwata ku bulamu n’obuweereza bwabwe. Kino kiri bwe kityo kubanga bwe tusoma ku mikisa Yakuwa gy’abawadde, twongera okuba abamalirivu okumuweereza. Otera okusoma ebikwata ku bulamu n’obuweereza bw’abalala ebifulumira mu Watchtower era n’obifumiitirizaako?
19. Abazadde Abakristaayo bayinza batya okukozesa ebyo ebifulumira mu Watchtower ebikwata ku bulamu n’obuweereza bw’abalala?
19 Musa yajjukiza Abaisiraeri obuteerabira ebyo byonna Yakuwa bye yali abakoledde era n’abakuutira nti ebintu ebyo bireme okuva mu mitima gyabwe ennaku zonna ez’obulamu bwabwe. Ate era n’abagamba nti: ‘Mubitegeezenga abaana bammwe n’abaana b’abaana bammwe.’ (Ekyamateeka 4:9) Kizzaamu nnyo amaanyi okusoma ebyo ebikwata ku bulamu n’obuweereza bw’abalala. Abavubuka beetaaga ebyokulabirako ebirungi. Bannyinaffe abali obwannamunigina balina bingi bye bayinza okuyiga bwe basoma ebikwata ku bulamu n’obuweereza bwa bannyinaffe abakulu mu myaka ebiba mu Watchtower. Okubuulira mu kitundu omuli abantu aboogera olulimi olugwira kisobozesezza baganda baffe ne bannyinaffe okunyiikirira omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. Mmwe abazadde Abakristaayo, lwaki temukozesa ebyokulabirako eby’abaminsani abaava mu ssomero lya Giriyaadi n’eby’abalala okukubiriza abaana bammwe okuyingira obuweereza obw’ekiseera kyonna?
20. Kiki kye tuteekwa okukola okusobola ‘okweroboza obulamu’?
20 Buli omu kuffe asobola atya ‘okweroboza obulamu’? Ng’akozesa bulungi eddembe ery’okwesalirawo ly’alina okusobola okulaga nti ayagala Yakuwa era nti akola kyonna ky’asobola mu buweereza bw’amuwadde. Kino kiri bwe kityo “kubanga” Musa yagamba nti: “[Yakuwa ye] bulamu bwo era kwe kuwangaala kwo.”—Ekyamateeka 30:19, 20.
Okujjukira?
• Biki bye tuyigira ku byokulabirako eby’abantu ab’emirundi ebiri abaasalawo mu ngeri ez’enjawulo?
• Biki bye tusaanidde okukola okusobola “okweroboza obulamu”?
• Bintu ki ebibiri bye tukubirizibwa okutuukiriza?
[Obugambo obuli wansi]
a Laba omutwe “Ayoleka Essanyu n’Okusiima Wadde Ayolekaganye n’Ebizibu,” mu Watchtower aka Jjuuni 1, 2001, empapula 23-7.
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 24]
“Ntadde mu maaso go obulamu n’okufa”
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Olw’okuba Nuuwa yawuliriza eddoboozi lya Katonda, kyamuviirako okulokolebwa ye n’ab’omu maka ge
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Mary Olson
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]
Nancy Porter