Kulemberwa Omwoyo gwa Katonda, So Si ogw’Ensi
“Tetwaweebwa mwoyo gwa nsi wabula twaweebwa omwoyo oguva eri Katonda, tulyoke tumanye ebintu Katonda by’atuwadde olw’ekisa kye.”—1 KOL. 2:12.
1, 2. (a) Lutalo ki Abakristaayo ab’amazima lwe balimu? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?
FFENNA Abakristaayo ab’amazima tuli mu lutalo! Omulabe waffe wa maanyi, mukujjukujju, era alina obumanyirivu bungi nnyo mu kulwana. Alina ekyokulwanyisa eky’amaanyi ky’akozesa ekimuyambye okuteeka abantu abasinga obungi wansi w’obuyinza bwe. Naye tetulina kulowooza nti tetusobola kumuwangula. (Is. 41:10) Tulina ekintu ekisobola okutuyamba okuziyiza obulumbaganyi bwonna bw’ayinza okukola.
2 Olutalo lwe tulimu si lwa mubiri; naye lwa mwoyo. Omulabe waffe ye Sitaani Omulyolyomi, era ekyokulwanyisa ky’asinga okukozesa gwe ‘mwoyo gw’ensi.’ (1 Kol. 2:12) Ekintu ekisobola okutuyamba okumuziyiza gwe mwoyo gwa Katonda. Okusobola okutuuka ku buwanguzi mu lutalo luno n’okusigala nga tuli banywevu mu by’omwoyo, twetaaga okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe gutuyambe okwoleka ekibala kyagwo mu bulamu bwaffe. (Bag. 5:22, 23) Naye omwoyo gw’ensi kye ki, era gwajja gutya okubuna mu nsi? Tuyinza tutya okumanya obanga tufugibwa omwoyo gw’ensi? Era kiki kye tuyigira ku Yesu ku ngeri y’okufunamu omwoyo gwa Katonda n’okuziyiza omwoyo gw’ensi?
Lwaki Omwoyo gw’Ensi Gubunye Buli Wamu?
3. Omwoyo gw’ensi kye ki?
3 Omwoyo gw’ensi guva eri Sitaani, “omufuzi w’ensi,” era gukontanira ddala n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu. (Yok. 12:31; 14:30; 1 Yok. 5:19) Omwoyo guno gwe gufuga endowooza n’enneeyisa y’abantu abasinga obungi. Omwoyo gw’ensi guleetera abantu okweyisa mu ngeri ekontana n’ebyo Katonda by’ayagala awamu n’ekigendererwa kye.
4, 5. Omwoyo Sitaani gw’akulaakulanya gwajja gutya okubuna mu nsi?
4 Omwoyo Sitaani gw’akulaakulanya gwajja gutya okubuna mu nsi? Okusookera ddala, Sitaani yabuzaabuza Kaawa mu lusuku Adeni. Yamuleetera okulowooza nti okwewaggula ku Katonda kyandimuyambye okuba n’obulamu obusingako obulungi. (Lub. 3:13) Nga yamulimba nnyo! (Yok. 8:44) Oluvannyuma ng’ayitira mu Kaawa, Sitaani yaleetera ne Adamu okujeemera Yakuwa. Olw’okuba Adamu yasalawo okujeema, abantu bonna baatundibwa mu kibi, ekyo ne kibaviirako okutandika okutwalirizibwa omwoyo gwa Sitaani ogw’obujeemu.—Soma Abeefeso 2:1-3.
5 Sitaani era alina ne bamalayika bangi be yaleetera okujeemera Katonda, ne baafuuka badayimooni. (Kub. 12:3, 4) Ekyo kyaliwo ng’Amataba g’omu kiseera kya Nuuwa tegannabaawo. Bamalayika abo baalowooza nti bandifunye essanyu bwe bandirese ebifo byabwe mu ggulu ne beenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu n’abantu wano ku nsi. (Yud. 6) Ng’ayambibwako badayimooni abo, kati abali mu ttwale ery’omwoyo, Sitaani ‘abuzaabuza ensi yonna.’ (Kub. 12:9) Eky’ennaku kiri nti, abantu abasinga obungi tebakimanyi nti bali wansi wa buyinza bwa badayimooni.—2 Kol. 4:4.
Omwoyo gw’Ensi Gukufuga?
6. Omwoyo gw’ensi gusobola gutya okutufuga?
6 Abantu abasinga obungi tebamanyi ngeri Sitaani gy’abuzaabuzaamu bantu, naye Abakristaayo ab’amazima Bayibuli ebayambye okumanya enkwe ze. (2 Kol. 2:11) Ekituufu kiri nti, omwoyo gw’ensi tegusobola kutufuga okuggyako nga tugukkirizza okutufuga. Kati ka twekenneenye ebibuuzo bina ebinaatuyamba okulaba obanga tufugibwa omwoyo gwa Katonda oba omwoyo gw’ensi.
7. Ekimu ku bintu Sitaani by’akozesa okutuggya ku Yakuwa kye kiruwa?
7 Ebyo bye nnondawo okwesanyusaamu biraga nti ndi muntu wa ngeri ki? (Soma Yakobo 3:14-18.) Sitaani agezaako okutuggya ku Katonda ng’atuleetera okwagala ebikolwa eby’obukambwe. Omulyolyomi akimanyi nti Yakuwa akyawa omuntu yenna ayagala ebikolwa eby’obukambwe. (Zab. 11:5) Bwe kityo, Sitaani agezaako okukozesa ebitabo, firimu, ennyimba, n’emizannyo gya kompyuta—ebikubiriza ebikolwa eby’obugwenyufu n’obukambwe—okutuleetera okwagala okwenyigira mu bikolwa eby’omubiri. Sitaani ye tafaayo bw’alaba nti twagala ebintu ebirungi kasita kiba nti mu kiseera ky’ekimu twagala n’ebintu ebibi by’akubiriza.—Zab. 97:10.
8, 9. Bwe kituuka ku by’okwesanyusaamu, bibuuzo ki buli omu ku ffe by’asaanidde okwebuuza?
8 Ku luuyi olulala, abo abakulemberwa omwoyo gwa Katonda baba balongoofu, baba ba mirembe, era baba bajjudde obusaasizi. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Ebyo bye nnondawo okwesanyusaamu binnyamba okukulaakulanya engeri ennungi ng’ezo?’ Amagezi agava waggulu “tegaliimu bunnanfuusi.” Abo abakulemberwa omwoyo gwa Katonda tebayigiriza balala kuba balongoofu mu mpisa na kuba ba mirembe, kyokka ng’ate bo banyumirwa okulaba ebikolwa eby’obukambwe n’ebikolwa eby’obugwenyufu.
9 Yakuwa ayagala abo abamusinza okumwemalirako. Kyokka ye Sitaani ne bw’omukolerayo ekikolwa kimu kyokka ekiraga nti omusinza, nga bwe yali ayagala Yesu akole, ekyo kiba kimumala. (Luk. 4:7, 8) N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza: ‘Ebyo bye nnondawo okwesanyusaamu binnyamba okwemalira ku Katonda? Binnyamba okuziyiza omwoyo gw’ensi? Nnina we nneetaaga okulongoosaamu?’
10, 11. (a) Bwe kituuka ku bintu, ndowooza ki omwoyo gw’ensi gye gukubiriza? (b) Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa omwoyo gwe kitukubiriza kuba na ndowooza ki?
10 Ndowooza ki gye nnina ku bintu? (Soma Lukka 18:24-30.) Omwoyo gw’ensi gukubiriza “okwegomba kw’amaaso” nga guleetera abantu okuba n’omululu n’okwagala okwefunira ebintu. (1 Yok. 2:16) Guleetedde bangi okuba abamalirivu okugaggawala. (1 Tim. 6:9, 10) Omwoyo ogwo guyinza okutuleetera okulowooza nti bwe tuba n’ebintu ebingi tuba n’obukuumi. (Nge. 18:11) Kyokka, singa Sitaani atuleetera okwagala ssente okusinga Katonda, olwo nno aba atuuse ku buwanguzi. N’olwekyo buli omu ku ffe asanidde okwebuuza, ‘Okwenoonyeza ebintu awamu n’eby’amasanyu bye nkulembeza mu bulamu bwange?’
11 Ekigambo kya Katonda kye yaluŋŋamya ng’akozesa omwoyo gwe kitukubiriza okuba n’endowooza ennuŋŋamu ku ssente era kitukubiriza okukola ennyo okusobola okulabirira ab’omu maka gaffe. (1 Tim. 5:8) Omwoyo gwa Katonda gusobozesa abo abagufuna okuba abagabi nga Yakuwa. Abantu ng’abo baba bamanyiddwa ng’abagabi, so si ng’abo abalinda okuweebwa obuweebwa. Bakitwala nti abantu ba muwendo nnyo okusinga ebintu era baba beetegefu okukozesa ebintu byabwe okuyamba abalala. (Nge. 3:27, 28) Ate era okuweereza Katonda kye bakulembeza mu kifo ky’okukulembeza okunoonya ssente.
12, 13. Obutafaananako mwoyo gwa nsi, omwoyo gwa Katonda gutuyamba gutya?
12 Enneeyisa yange eyoleka mwoyo ki? (Soma Abakkolosaayi 3:8-10, 13.) Omwoyo gw’ensi gukubiriza abantu okwenyigira mu bikolwa eby’omubiri. (Bag. 5:19-21) Tekiba kyangu kumanya mwoyo ki ogutufuga singa ebintu biba bitambula bulungi. Naye singa ebintu biba tebitambula bulungi, oboolyawo nga waliwo ow’oluganda atunyiizizza oba atukoze ekintu ekibi, olwo nno kiba kyangu okumanya mwoyo ki ogutufuga. Ate era, bwe tubeera ffekka, kisobola okweyoleka obanga tufugibwa mwoyo gwa Katonda oba mwoyo gwa nsi. N’olwekyo, buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Mu myezi omukaaga egiyise, engeri zange zeeyongedde kufaanana ng’eza Kristo oba zeeyongedde kwonooneka?’
13 Omwoyo gwa Katonda gusobola okutuyamba ‘okweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye’ ne twambala “omuntu omuggya.” Kino kituyamba okwongera okuba ab’ekisa era n’okwoleka okwagala. Era ekyo kitukubiriza okusonyiwa abalala, ne bwe waba nga waliwo ensonga entuufu eyandituleetedde okunyiiga. Bwe wabaawo omuntu aba atunyiizizza, tetujja ‘kumusibira kiruyi, kumunyiigira, kumusunguwalira, kumuyombesa, wadde okumuvuma.’ Mu kifo ky’ekyo, tujja kufuba okumulaga ‘obusaasizi.’—Bef. 4:31, 32.
14. Abantu bangi mu nsi batwala batya Ekigambo kya Katonda?
14 Nzisa ekitiibwa mu mitindo gya Bayibuli egy’empisa era njaagala? (Soma Engero 3:5, 6.) Omwoyo gw’ensi gukubiriza abantu obutassa kitiibwa mu Kigambo kya Katonda. Abo abafugibwa omwoyo guno bagaana okukolera ku bintu ebiri mu Bayibuli bye balaba ng’ebibanyigiriza, ne basalawo okugoberera obufirosoofo n’obulombolombo bw’abantu. (2 Tim. 4:3, 4) Abalala tebakkiririza ddala mu Kigambo kya Katonda. Abantu ng’abo tebakkiriza nti Bayibuli ya mugaso mu bulamu bwabwe era babuusabuusa obutuufu bwayo, bwe batyo beefuula bagezi mu maaso gaabwe bo. Bafeebya emitindo gya Bayibuli egikwata ku bwenzi, ku kulya ebisiyaga, ne ku kugattulula obufumbo. ‘Ekibi bakiyita kirungi, ate ekirungi ne bakiyita ekibi.’ (Is. 5:20) Kyandiba nti naffe omwoyo ogwo gutandise okututwaliriza? Bwe tufuna ebizibu, tugezaako okubigonjoola nga tukozesa magezi g’abantu, oba tufuba okukolera ku magezi Bayibuli g’etuwa?
15. Mu kifo ky’okwesigama ku magezi gaffe, kiki kye tusaanidde okukola?
15 Omwoyo gwa Katonda gutuyamba okussa ekitiibwa mu Bayibuli. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, Ekigambo kya Katonda tukitwala ng’ettabaaza eri ebigere byaffe era ng’omusana eri ekkubo lyaffe. (Zab. 119:105) Mu kifo ky’okwesigama ku magezi gaffe, twesigama ku Kigambo kya Katonda okutuyamba okumanya ekituufu n’ekikyamu. Tuyiga okussa ekitiibwa mu Bayibuli n’okwagala amateeka ga Katonda.—Zab. 119:97.
Yigira ku Kyokulabirako kya Yesu
16. Okuba ‘n’endowooza ya Kristo’ kizingiramu ki?
16 Okusobola okufuna omwoyo gwa Katonda, tulina okufuba okuba ‘n’endowooza ya Kristo.’ (1 Kol. 2:16) “Okuba n’endowooza ng’eya Kristo Yesu” kitwetaagisa okumanya engeri gye yalowoozangamu n’engeri gye yeeyisangamu era ne tumukoppa. (Bar. 15:5; 1 Peet. 2:21) Ka tulabe engeri kino gye tusobola okukikolamu.
17, 18. (a) Bwe kituuka ku kusaba, kiki kye tuyigira ku Yesu? (b) Lwaki tusaanidde obutalekulira ‘kusaba’?
17 Tulina okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe. Bwe yali tannayolekagana na kugezesebwa, Yesu yasaba Katonda amuwe omwoyo gwe gumuyambe. (Luk. 22:40, 41) Naffe twetaaga okusaba Katonda atuwe omwoyo gwe omutukuvu. Yakuwa awa omwoyo gwe abo bonna abamusaba nga balina okukukkiriza. (Luk. 11:13) Yesu yagamba nti: “Musabenga, muliweebwa; munoonyenga, mulizuula; mukonkonenga, muliggulirwawo. Kubanga buli asaba aweebwa, buli anoonya, azuula, na buli akonkona, aggulirwawo.”—Mat. 7:7, 8.
18 Bwe tuba tusaba Yakuwa atuwe omwoyo gwe okutuyamba, tetusaanidde kulekulira. Kiyinza okutwetaagisa okusaba enfunda n’enfunda oba okusaba essaala empanvuko. Oluusi, Yakuwa bw’aba tannaddamu ssaala z’abo abamusaba, asooka n’abaleka bakirage nti ekintu kye basaba ddala bakyetaaga era nti balina okukkiriza.a
19. Kiki Yesu kye yakolanga, era lwaki tusaanidde okumukoppa?
19 Tulina okugondera Yakuwa mu buli kimu. Yesu yakolanga ebintu ebisanyusa Kitaawe. Naye lumu bwe yali mu mbeera enzibu, Yesu yalowooza ku kintu ekyali kyawukana ku ekyo Kitaawe kye yali ayagala. Kyokka ne mu mbeera eyo, yagamba Kitaawe nti: “Kye njagala si kye kiba kikolebwa wabula ggwe ky’oyagala.” (Luk. 22:42) Buli omu ku ffe asaanidde okwebuuza, ‘Nfuba okugondera Katonda ne bwe kiba nti okukikola si kyangu?’ Twetaaga okugondera Katonda bwe tuba ab’okufuna obulamu obutaggwaawo. Tulina okumugondera mu buli kimu kubanga ye Mutonzi waffe, ye Nsibuko y’obulamu bwaffe era y’abubeesaawo. (Zab. 95:6, 7) Mu buli ngeri yonna, tulina okumugondera. Katonda tasobola kutusiima bwe tutamugondera.
20. Kiki Yesu kye yeemalirako, era tuyinza tutya okumukoppa?
20 Tulina Okutegeera Obulungi Ebyawandiikibwa. Sitaani bwe yali agezesa okukkiriza kwe, Yesu yajuliza Ebyawandiikibwa. (Luk. 4:1-13) Abakulembeze b’eddiini bwe baali bagezaako okumusoomooza, Yesu yakozesa Ekigambo kya Katonda okubaanukula. (Mat. 15:3-6) Yesu yeemalira ku kuyiga amateeka ga Katonda n’okugatuukiriza. (Mat. 5:17) Naffe tulina okunyiikira okwesomesa Ekigambo kya Katonda. (Baf. 4:8, 9) Abamu ku ffe kiyinza obutatubeerera kyangu kufuna biseera okwesomesa oba okusomera awamu ng’amaka. Bwe kiba kityo, kiyinza okutwetaagisa okwerekereza ebintu ebimu tusobole okufuna ebiseera okwesomesa oba okusomera awamu ng’amaka.—Bef. 5:15-17.
21. Nteekateeka ki esobola okutuyamba okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda n’okukolera ku ebyo ebikirimu?
21 “Omuddu omwesigwa era ow’amagezi” atuyambye okufuna ebiseera eby’okwesomesa n’okusomera awamu ng’amaka ng’ateekawo enteekateeka ey’Okusinza kw’Amaka okwa buli wiiki. (Mat. 24:45) Okozesa bulungi enteekateeka eno? Okusobola okufuna endowooza ya Kristo, lwaki temukozesa ekiseera ekyo okusoma ku bintu ebitali bimu Yesu bye yayigiriza? Musobola okukozesa Watch Tower Publications Index okumanya wa we musobola okusanga ebintu ng’ebyo. Ng’ekyokulabirako, okuva mu 2008 okutuuka mu 2010, mu magazini ya Omunaala gw’Omukuumi eya bonna mubadde mufulumiramu ekitundu ekirina omutwe “Kye Tuyigira ku Yesu.” Muyinza okukozesa ebitundu bino mu kusoma kwammwe. Okuva mu 2006, mu magazini ya Awake! mwafulumirangamu ekitundu ekyalina omutwe “Wandizzeemu Otya?” Ekitundu kino kyategekebwanga okutuyamba okwongera okutegeera Ekigambo kya Katonda. Lwaki ekitundu kino nakyo temukikozesa mu Kusinza kwammwe okw’Amaka?
Tusobola Okuwangula Ensi
22, 23. Kiki kye tulina okukola okusobola okuwangula ensi?
22 Bwe tuba ab’okukulemberwa omwoyo gwa Katonda, tulina okuziyiza omwoyo gw’ensi. Naye ekyo tekitera kuba kyangu. Kiyinza okutwetaagisa okufuba ennyo. (Yud. 3) Naye tusobola okutuuka ku buwanguzi! Yesu yagamba abayigirizwa be nti: “Mu nsi mulina ennaku, naye mugume! Nze mpangudde ensi.”—Yok. 16:33.
23 Naffe tusobola okuwangula ensi singa tuziyiza omwoyo gwayo era ne tukola kyonna ekisoboka okufuna omwoyo gwa Katonda. Mu butuufu, “Katonda bw’aba ku ludda lwaffe ani ayinza okutulwanyisa?” (Bar. 8:31) Bwe tukulemberwa omwoyo gwa Katonda era ne tukkiriza obulagirizi bwe gutuwa okuyitira mu Bayibuli, tujja kufuna emirembe, essanyu, n’obumativu, era tujja kuba n’essuubi ery’okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi ya Katonda empya enaatera okutuuka.
[Obugambo obuli wansi]
a Okumanya ebisingawo, laba akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? olupapula 170-173.
Ojjukira?
• Lwaki omwoyo gw’ensi gubunye buli wamu?
• Bibuuzo ki ebina bye tusaanidde okwebuuza?
• Bintu ki ebisatu bye tuyigira ku Yesu ku ngeri y’okufunamu omwoyo gwa Katonda?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 8]
Bamalayika abamu baafuka batya badayimooni?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Sitaani akozesa omwoyo gw’ensi okufuga abantu, naye tusobola okwewala okufugibwa omwoyo ogwo