LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w12 10/1 lup. 4-6
  • Ani Awulira Okusaba?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ani Awulira Okusaba?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Obukakafu Obulaga nti Katonda Gyali
  • Oyo Awulira Okusaba wa Ngeri Ki?
  • Tendereza Yakuwa, Oyo Awulira Okusaba
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Eteekateeka y’Enkuŋŋaana—2016
  • Ba n’Enkolagana Ennungi n’Oyo Awulira Okusaba
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
  • Weeyongere Okusaba Katonda
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2020
  • Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2012
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2012
w12 10/1 lup. 4-6

Ani Awulira Okusaba?

BWE kiba nti waliwo awulira okusaba, ateekwa okuba nga ye Mutonzi. Waliwo omulala yenna ayinza okumanya by’olowooza, okuggyako oyo eyakola obwongo bw’omuntu? Waliwo omulala yenna asobola okuddamu okusaba kw’abantu n’abawa bye beetaaga? Naye oyinza okwebuuza nti, ‘Ddala kya magezi okukkiriza nti Katonda gyali?’

Abantu bangi bagamba nti tosobola kuba ng’okkiriza nti Katonda gy’ali ate n’oba ng’okkiriza ebyo bannasayansi bye bagamba. Naye abantu abagamba nti okukkiriza nti Katonda gyali tekikwatagana na sayansi si batuufu. Lowooza ku bino wammanga.

◼ Okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko kwalaga nti ku ba profesa ba sayansi 1,646 okuva mu Yunivasite 21 ez’amaanyi mu Amerika, 550 be bokka abatakkiriza nti Katonda gyali.

Ekituufu kiri nti bannasayansi bangi bakkiriza nti Katonda gyali.

Obukakafu Obulaga nti Katonda Gyali

Twandimaze gakkiriza nti eriyo awulira okusaba, awatali bukakafu? Nedda. Endowooza abamu gye balina nti okuba n’okukkiriza kitegeeza okukkiririza mu kintu awatali bukakafu nkyamu. Bayibuli ennyonnyola nti okukkiriza “kwe kuba abakakafu ddala ku bintu wadde nga tebinnalabibwa.” (Abebbulaniya 11:1) Ng’ekyokulabirako, tosobola kulaba mpewo naye osobola okulaba ebyo empewo by’ekola. Bw’olaba ebikoola by’emiti nga byenyeenya, okkiriza nti waliyo empewo. Mu ngeri y’emu, wadde nga tetusobola kulaba Oyo awulira okusaba, tusobola okulaba obukakafu obulaga nti gyali.

Tuyinza tutya okukakasa nti Katonda gyali? Nga twetegereza ebintu ebitwetoolodde. Bayibuli egamba nti: “Kya lwatu, buli nnyumba wabaawo agizimba naye eyazimba ebintu byonna ye Katonda.” (Abebbulaniya 3:4) Ekyo okikkiriza? Oboolyawo bw’ofumiitiriza ku ngeri obwengula gye bwategekebwamu, engeri ebintu ebiramu gye byajjawo, n’engeri eyeewunyisa obwongo bw’omuntu gye bwakolebwamu, okkiriza nti wateekwa okuba nga waliwo asinga abantu bonna eyakola ebintu ebyo.a

Naye ebitonde tebisobola kutuyamba kuyiga byonna bikwata ku Katonda. Okwetegereza ebitonde tusobole okufuna obukakafu obulaga nti Katonda gyali, kiringa okubeera mu nnyumba n’owulira atambula ebweru. Okimanya nti ebweru eriyo omuntu wadde nga tomulaba. Okusobola okutegeera ani ali ebweru, oba olina okuggulawo oluggi omulabe. Twetaaga okukola kye kimu okusobola okumanya eyatonda ebintu byonna.

Ng’okuggulawo oluggi bwe kisobozesa omuntu okumanya oyo ali ebweru, n’okusoma Bayibuli kutusobozesa okufuna okumanya okukwata ku Katonda. Bwe weekenneenya obumu ku bunnabbi obugirimu n’engeri gye bwatuukirizibwamu, ojja kulaba obukakafu obulaga nti Katonda gyali.b Okugatta ku ekyo, olw’okuba Bayibuli eraga engeri Katonda gye yakolaganangamu n’abantu mu biseera eby’edda, esobola okutuyamba okutegeera engeri ze.

Oyo Awulira Okusaba wa Ngeri Ki?

Bayibuli eraga nti Oyo awulira okusaba alina enneewulira nga ffe era tusobola okumumanya. Ekyo kiraga nti asobola okutuwuliriza n’ategeera bulungi enneewulira zaffe. Bayibuli egamba nti: “Ai ggwe awulira okusaba, bonna abalina omubiri balijja gy’oli.” (Zabbuli 65:2) Abo abamusaba nga balina okukkiriza abawulira. Ate era alina erinnya. Bayibuli egamba nti: “Yakuwa aba wala ababi: naye awulira okusaba kw’abatuukirivu.”​—Engero 15:29, NW.

Olw’okuba Yakuwa alina enneewulira, ayitibwa “Katonda ow’okwagala” era “Katonda omusanyufu.” (2 Abakkolinso 13:11; 1 Timoseewo 1:11) Ng’eyogera ku ngeri Katonda gye yawuliramu ng’ebikolwa ebibi biyitiridde mu nsi, Bayibuli egamba nti: ‘Yanakuwala mu mutima gwe.’ (Olubereberye 6:5, 6) Ebigambibwa nti Katonda aleetera abantu okubonaabona abagezese si bituufu. Bayibuli egamba nti: “Tekiyinzika n’akatono Katonda kukola bitasaana.” (Yobu 34:10, Bayibuli y’Oluganda eya 2003) Naye era oyinza okwebuuza, ‘Bwe kiba nti Katonda ye Muyinza w’Ebintu Byonna, lwaki aleseewo okubonaabona?’

Yakuwa yawa abantu eddembe ly’okwesalirawo, era ekyo kiraga nti abawa ekitiibwa. Si nkizo ya maanyi nnyo okuba nti tulina eddembe ly’okwesalirawo engeri y’okutambuzaamu obulamu bwaffe? Eky’ennaku, abantu bangi bakozesa bubi eddembe eryo ne beereetera ebizibu era ne babireetera n’abalala. Kati olwo, Katonda anaggyawo atya okubonaabona naye ng’ate abantu tabaggyeko ddembe lyabwe? Ekibuuzo ekyo kigenda kuddibwamu mu kitundu ekiddako.

[Obugambo obuli wansi]

a Okumanya obukakafu obusingawo obulaga nti Katonda gyali, laba akatabo akalina omutwe ogugamba nti The Origin of Life​—Five Questions Worth Asking n’akalala akalina omutwe ogugamba nti Is There a Creator Who Cares About You? obwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

b Akatabo akalina omutwe, A Book for All People n’akalala akalina omutwe, The Bible​—God’s Word or Man’s? obwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa busobola okukuyamba okufuna obukakafu obulaga nti Bayibuli yaluŋŋamizibwa Katonda.

[Akasanduuko akali ku lupapula 5]

Amadiini Gakuleetera Okubuusabuusa nti Katonda Gyali?

Eky’ennaku, amadiini ge galeetera abantu okubuusabuusa nti eriyo Awulira okusaba. Olw’okuba amadiini geenyigira mu ntalo, mu bikolwa eby’obutujju, era nga abagalimu battira ku liiso abo abakabawaza abaana, kireetedde abantu bangi obutakkiriza nti Katonda gyali.

Lwaki amadiini gakola ebintu ebibi? Kubanga abantu ababi bagerimbikamu ne bakola ebintu ebibi. Bayibuli yalagula nti abantu abamu bandyerimbise mu Bukristaayo nga balina ebiruubirirwa ebikyamu. Omutume Pawulo yagamba Abakristaayo nti: “Mu mmwe mwennyini muliva abantu aboogera ebintu ebikyamye okusendasenda abayigirizwa okubagoberera.”​—Ebikolwa 20:29, 30.

Katonda tayagalira ddala madiini ag’obulimba. Mu butuufu, Ekigambo kya Katonda, Bayibuli, kiraga nti amadiini ag’obulimba ge gavunaanibwa “omusaayi . . . gw’abo bonna abattibwa ku nsi.” (Okubikkulirwa 18:24) Olw’okuba galemereddwa okuyigiriza abantu ebikwata ku Katonda ow’amazima era ow’okwagala, Katonda agavunaana omusaayi gw’abantu abo.​—1 Yokaana 4:8.

Oyo Awulira okusaba ayisibwa bubi bw’alaba abantu ababonaabona olw’ebintu ebibi amadiini bye gakola. Olw’okuba Katonda ayagala nnyo abantu, mu kiseera ekitali kya wala, ajja kukozesa Yesu okusalira bannaddiini abannanfuusi omusango. Yesu yagamba nti: “Bangi abaliŋŋamba ku lunaku luli nti, ‘Mukama waffe, Mukama waffe, tetwalagulanga mu linnya lyo?’ . . . Naye ndibaatulira nti: Sibamanyangako mmwe! Muve we ndi mmwe abakola eby’obujeemu.”​—Matayo 7:22, 23.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share