EBYAFAAYO
“Nnali Mbiraba, Naye nga Sibitegeera”
Mu 1975 nga ndi wa myaka ebiri, maama lwe yalaba nti ndiko ekikyamu. Bwe yali ansitudde, waliwo eyasuula ekintu wansi ne kireekaana nnyo. Maama yakiraba nti seekanga. Ne wennawereza emyaka esatu nnali sinnatandika kwogera. Ab’awaka baanakuwala nnyo abasawo bwe baakikakasa nti ndi kiggala!
Bazadde bange baayawukana nga nkyali muwere, era nze ne bakulu bange maama ye yatukuza. Twali abalenzi basatu n’omuwala omu. Mu kiseera ekyo mu Bufalansa, bakiggala tebaayigirizibwanga nga bwe bayigirizibwa leero, era enkola gye baakozesanga okubayigiriza oluusi yabanga ya bulumi. Wadde kyali kityo, okuviira ddala mu buto, nfunye enkizo bakiggala bangi ze batalina.
Nga ndi wa myaka ng’etaano
Abasomesa bangi baakakanga bakiggala okuyiga okwogera n’okusoma emimwa gy’omusomesa bamanye ky’agamba. Mu butuufu, mu Bufalansa gye nnakulira kyali tekikkirizibwa kukozesa lulimi lwa bakiggala mu masomero, era bakiggala abamu baasibibwanga emikono nga bali mu kibiina.
Bazadde bange banfunira omusomesa anjigirize okwogera. Omusomesa oyo yannyiganga oluba era yannyeenyanga omutwe n’ankaka okwatula ebigambo, wadde nga nnali sibiwulira. Nnali sisobola kuwuliziganya na baana balala. Nnabonaabona nnyo mu kiseera ekyo.
Oluvannyuma nga mpezezza emyaka mukaaga, nnatwalibwa mu ssomero lya bakiggala ery’ekisulo, era gwe mulundi gwe nnasookera ddala okubeerako ne bakiggala bannange. Kyokka ne mu ssomero eryo, kyali tekikkirizibwa kukozesa lulimi lwa bakiggala. Buli lwe twagezanganko okulukozesa mu kibiina, nga batukuba obugalo oba nga batusika enviiri. Wadde kyali kityo, twayiyaayo obubonero bwe twakozesanga mu nkukutu ne tusobola okuwuliziganya. Ekyo kyansobozesa okufuna ku ssanyu mu myaka ena gye nnamala mu ssomero eryo.
Kyokka, bwe nnaweza emyaka kkumi, nnatwalibwa mu ssomero lya pulayimale ery’abaana abawulira. Ekyo kyampisa bubi nnyo! Nnalowooza nti bakiggala abalala bonna baafa era nti nze nzekka eyali asigaddewo ku nsi. Ab’awaka tebaayiga lulimi lwa bakiggala olw’okuba abasawo baabagamba nti nnyinza obutaganyulwa mu kuyigirizibwa kwe nnali nfunye, era sakkirizibwanga kubeera ne bakiggala abalala. Nzijukira lwe nnagenda ew’omusawo ne nsanga ng’alina ekitabo ekiri mu lulimi lwa bakiggala ku mmeeza ye. Bwe nnalaba ebifaananyi ebyali ku kitabo ekyo, nnakisongako ne nkimusaba. Amangu ago omusawo yakiggyawo n’akikweka.a
NTANDIKA OKUYIGA BAYIBULI
Maama yafuba okutuyigiriza emitindo gy’empisa egy’Ekikristaayo. Yatutwalanga mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa mu kibiina ky’e Mérignac okumpi n’ekibuga Bordeaux. Bwe nnali nkyali muto, nnategeeranga kitono nnyo mu nkuŋŋaana ezo. Wadde kyali kityo, waabangawo abantu ab’enjawulo abaatuulanga nange ne bampandiikira ebyabanga biyigirizibwa. Nnakwatibwako nnyo olw’okwagala kwe bandaga n’olw’engeri gye banfangako. Eka, maama yanjigirizanga Bayibuli, naye saategeeranga bulungi bye yanjigirizanga. Nnalinga nnabbi Danyeri ng’amaze okufuna obunnabbi okuva eri malayika. Yagamba nti: “Ne mpulira, naye ne sitegeera.” (Danyeri 12:8) Ku lwange, “Nnali mbiraba, naye nga sibitegeera.”
Wadde kyali kityo, amazima ga Bayibuli nnagenda ngategeera mpolampola. Ebyo bye nnategeeranga obulungi nnafubanga okubikolerako. Ate era nnayigiranga ne ku ngeri abalala gye beeyisangamu. Ng’ekyokulabirako, Bayibuli etukubiriza okuba abagumiikiriza. (Yakobo 5:7, 8) Nnali simanyi ngeri ya kwolekamu obugumiikiriza. Naye bwe nnalabanga engeri bakkiriza bannange gye babwolekamu, nange nnayiga okuba omugumiikiriza. Mu butuufu, ekibiina Ekikristaayo eky’Abajulirwa ba Yakuwa kinnyambye nnyo.
EKYANNAKUWAZA OLUVANNYUMA KYAVAAMU EBIRUNGI
Stéphane eyannyamba okutegeera Bayibuli
Lumu nga nkyali mutiini, nnalaba abavubuka abaali bakozesa olulimi lwa bakiggala. Nnatandika okukolagana nabo mu nkukutu n’ekyavaamu ne njiga olulimi lwa bakiggala olw’omu Bufalansa. Nneeyongera okugenda mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa, era eyo gye nnasanga omuvubuka ayitibwa Stéphane, eyafuuka mukwano gwange nfiirabulago. Yafubanga nnyo okulaba nti tuwuliziganya, era ekyo kyanyweza enkolagana yaffe. Kyokka, waliwo ekintu ekyannakuwaza ennyo. Stéphane baamusiba mu kkomera olw’okugaana okuyingira amagye. Nnawulira nga sikyetegeera! Kyammalamu nnyo amaanyi era kata ndekere awo okugenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo.
Nga wayiseewo emyezi kkumi na gumu, Stéphane yateebwa n’akomawo eka. Bwe yali akyali mu kkomera, yayiga olulimi lwa bakiggala. Kyansanyusa nnyo bwe yatandika okunyumya nange ng’akozesa olulimi olwo. Bwe nnalaba engeri Stéphane gye yali akozesaamu emikono gye n’endabika ye ey’oku maaso, nnawulira essanyu ppitirivu kubanga yandinnyambye okutegeera obulungi Bayibuli.
NTANDIKA OKUTEGEERA OBULUNGI AMAZIMA AGALI MU BAYIBULI
Stéphane yatandika okunjigiriza Bayibuli era okuva olwo, nnatandika okutegeera obulungi bye nnali njigiriziddwa mu kusooka. Bwe nnali nkyali muto, nnanyumirwanga nnyo okutunuulira ebifaananyi ebirabika obulungi eby’abantu aboogerwako mu Bayibuli ebiri mu bitabo byaffe. Nneetegerezanga ebifaananyi by’abantu abo n’ebyo bye baabanga bakola nsobole okutegeera ebibakwatako. Nnali nnayigako ku Ibulayimu, ku ‘zzadde’ lye, ne ku ‘kibiina ekinene,’ naye singa tekwali kunyinyonnyola mu lulimu lwa bakiggala, sandibitegedde bulungi. (Olubereberye 22:15-18; Okubikkulirwa 7:9) Kyali kyeyoleka kaati nti luno lwe lulimi lwe ntegeera obulungi.
Olw’okuba kati nnali ntegeera bulungi ebyali biyigirizibwa mu nkuŋŋaana, nneeyongera okwagala okuyiga ebikwata ku Katonda. Stéphane yannyamba nnyo okwongera okutegeera Bayibuli, era mu 1992, nneewaayo eri Yakuwa Katonda era ne mbatizibwa. Wadde kyali kityo, nnali nkyalina ensonyi nyingi era nga kinzibuwalira okubeera mu bantu abalala.
EKYANNYAMBA OKUVUUNUKA ENSONYI
Oluvannyuma lw’ekiseera, akabinja ka bakiggala ke nnalimu kaagattibwa wamu n’ekibiina ky’omu Pessac, ekiri ku njegoyego z’ekibuga Bordeaux. Ekyo kyannyamba nnyo, era nneeyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Wadde nga nnali nkyazibuwalirwa okuwuliziganya obulungi n’abalala, mikwano gyange abawulira baafubanga nnyo okunnyamba okutegeera buli kimu. Gilles ne mukyala we Elodie be baasinga okunnyamba. Baateranga okumpita okuliirako awamu nabo, oba okunywerako awamu nabo kacaayi oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, n’ekyavaamu twafuuka ba mukwano nnyo. Nga kisanyusa nnyo okubeera n’abantu abakola Katonda by’ayagala!
Mukyala wange Vanessa, annyamba nnyo
Mu kibiina ekyo mwe nnasisinkanira Vanessa, omuwala alabika obulungi. Engeri ze ennungi gamba ng’okufaayo ku balala n’obutasosola zansikiriza nnyo. Eky’okuba nti ndi kiggala teyakitwala ng’ekizibu, wabula ng’akakisa okuyiga olulimi lwa bakiggala asobole okuwuliziganya nange. Yawangula omutima gwange, era mu 2005 twafumbiriganwa. Wadde nga nkyazibuwalirwa okuwuliziganya obulungi n’abalala, Vanessa annyambye nnyo okuvvuunuka ekizibu ekyo. Nsiima nnyo olw’engeri gy’ampagiramu nga nfuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwange.
YAKUWA YAMPA ENKIZO EY’AMAANYI
Mu myaka egiyise, ofiisi y’ettabi ly’Abajulirwa ba Yakuwa ery’omu Louviers mu Bufalansa ebadde ekola nnyo okufulumya vidiyo ez’enjawulo eziri mu lulimi lwa bakiggala olw’omu Bufalansa. Naye olw’obwetaavu obwaliwo, kyali kyetaagisa okutendeka abavvuunuzi abalala. Bwe kityo, mu mwaka gwe twafumbiriganwa, nnayitibwa ku ofiisi y’ettabi nsobole okuyambako mu mulimu gw’okuvvuunula.
Nga njigiriza abantu ebikwata ku Katonda mu lulimi lwa bakiggala
Okuweereza ku ofiisi y’ettabi nze ne Vanessa twagitwala nga nkizo ya maanyi nnyo okuva eri Yakuwa Katonda. Wadde kyali kityo, twasooka kweraliikirira. Twali twebuuza ekyandituuse ku kabinja akakozesa olulimi lwa bakiggala ke twalimu, nga twebuuza kye twandikoledde ennyumba yaffe, era nga twebuuza obanga Vanessa yandifunye omulimu mu kitundu gye twali tugenda. Mu ngeri eyeewunyisa, Yakuwa yakola ku nsonga ezo zonna. Mu butuufu, nnalabira ddala nga Yakuwa atwagala nnyo era afaayo nnyo ku bakiggala.
OKUKOLAGANA N’ABANTU ABALI OBUMU KINNYAMBYE NNYO
Okukola omulimu gw’okuvvuunula kinsobozesezza okutegeera obulungi byonna ebizingirwa mu kuyamba bakiggala okuyiga ebikwata ku Katonda. Nga kinsanyusa nnyo okulaba nga bakozi bannange bafuba okuyiga olulimi lwa bakiggala basobole okuwuliziganya nange! Siwulira kiwuubaalo n’akamu. Okwagala okwo kwonna kwe bandaga kukyoleka bulungi nti abantu ba Yakuwa bali bumu.—Zabbuli 133:1.
Nga ndi mu kuvvuunula ku ofiisi y’ettabi
Nneebaza nnyo Yakuwa olw’ab’oluganda mu kibiina Ekikristaayo abafubye ennyo okunnyamba. Ate era mmwebaza nnyo olw’enkizo ey’okuba omu ku abo abayamba bakiggala bannange okumanya omutonzi waffe n’okufuna enkolagana ennungi naye. Nneesunga nnyo olunaku ebintu byonna ebiremesa abantu okwogera lwe biriggibwawo era abantu bonna lwe balyogera “olulimi olulongoofu,” nga ge mazima agakwata ku Katonda n’ebigendererwa bye.—Zeffaniya 3:9.
a Mu 1991, gavumenti ya Bufalansa lwe yakkiriza amasomero okutandika okuyigiriza bakiggala mu lulimi lwabwe.