LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 6/15 lup. 7-11
  • Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • YAKUWA ATUUKIRIKIKA
  • ENGERI ENKULU ENNYO ABAKADDE GYE BASAANIDDE OKWOLEKA
  • FUNA EKISEERA OKWOGERAKO NE BAKKIRIZA BANNO
  • YAKUWA TASOSOLA
  • TUSOBOLA OKUKOPPA YAKUWA
  • Koppa Yakuwa Atasosola
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Koppa Obwetoowaze bwa Yakuwa
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2025
  • Koppa Yakuwa, Katonda Waffe Atasosola
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2003
  • Koppa Yesu ng’Oweereza Abalala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2022
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 6/15 lup. 7-11

Weeyongere Okuyiga ku Ngeri za Yakuwa n’Okumukoppa

“Mukoppe Katonda ng’abaana abaagalwa.”​—BEF. 5:1.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Kiki ekiyinza okutuyamba okwongera okutegeera engeri za Yakuwa n’okumukoppa?

  • Omuntu atuukirikika afaanana atya?

  • Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda atasosola?

1. (a) Ezimu ku ngeri za Yakuwa ze ziruwa? (b) Okwekenneenya engeri za Katonda kituganyula kitya?

BW’OLOWOOZA ku Yakuwa, ngeri ki z’alina ezikujjira mu birowoozo? Bangi ku ffe tulowooza ku kwagala, obwenkanya, amagezi, n’amaanyi. Kyokka, Yakuwa alina n’engeri endala ennungi nnyingi. Mu butuufu, ebitabo byaffe byogera ku ngeri za Yakuwa ezisukka mu 40. Okusoma ku buli emu ku ngeri ezo oba okuzisomera awamu ng’amaka, kijja kutuyamba okwongera okutegeera Yakuwa. N’ekinaavaamu, tujja kweyongera okumwagala era ekyo kijja kutukubiriza okwongera okumusemberera n’okumukoppa.​—Yos. 23:8; Zab. 73:28.

2. (a) Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okuyiga ku ngeri za Yakuwa gye kisobola okutuleetera okwagala okuzooleka mu bulamu bwaffe. (b) Kiki kye tugenda okuyiga mu kitundu kino ne mu bitundu ebibiri ebiddako?

2 Kiki ekiyinza okukuleetera okweyongera okwagala ekintu? Lowooza ku kyokulabirako kino: Ka tugambe nti waliwo omuntu afumbye emmere gy’otolyangako. Okusookera ddala akawoowo kaayo kayinza okukusikiriza okwagala okugiryako. Bw’olyako n’owulira ng’ewooma, ekyo kiyinza okukuleetera okweyongera okugyagala. N’ekivaamu oyinza okusalawo okugyefumbira. Mu ngeri y’emu, bwe tweyongera okuyiga ku ngeri za Yakuwa era ne tuzifumiitirizaako, ekyo kiyinza okutuleetera okwagala okumukoppa. (Bef. 5:1) Ekitundu kino n’ebitundu ebibiri ebiddako bijja kutuyamba okweyongera okuyiga ebikwata ku ngeri za Katonda ezitatera kwogerwako nnyo. Nga twetegereza buli emu ku ngeri ezo, tujja kufuna eby’okuddamu mu bibuuzo bino: Engeri eyo kye ki? Yakuwa agyoleka atya? Era tuyinza tutya okwoleka engeri eyo mu bulamu bwaffe?

YAKUWA ATUUKIRIKIKA

3, 4. (a) Omuntu atuukirikika afaanana atya? (b) Yakuwa akiraze atya nti atuukirikika?

3 Omuntu atuukirikika afaanana atya? Aba wa kisa, nga mwangu okwogera naye, era ng’afuba okuwuliriza abalala. Engeri gy’ayogeramu, engeri gye yeeyisaamu, n’engeri gy’atunulamu eba eraga nti mwetegefu okuwuliriza abalala n’okubayamba.

4 Yakuwa akiraze atya nti atuukirikika? Wadde nga ye Muyinza w’Ebintu Byonna, Yakuwa mwetegefu okuwuliriza essaala zaffe n’okuziddamu. (Soma Zabbuli 145:18; Isaaya 30:18, 19.) Tusobola okwogera ne Katonda ekiseera kyonna, mu kifo kyonna, era okumala ebbanga lyonna lye twagala. Tusobola okwogera naye nga tetweraliikirira nti ajja kutwetamwa. (Zab. 65:2; Yak. 1:5) Bayibuli bw’eba eyogera ku Katonda, ekozesa ebigambo bye tusobola okutegeera obulungi. Ekyo kiraga nti Yakuwa ayagala tumutuukirire. Ng’ekyokulabirako, omuwandiisi wa Zabbuli Dawudi yagamba nti ‘amaaso ga Yakuwa gatulaba’ era nti ‘omukono gwe ogwa ddyo gutuwanirira.’ (Zab. 34:15; 63:8) Nnabbi Isaaya yageraageranya Yakuwa ku musumba. Yagamba nti: “Alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye.” (Is. 40:11) Kirowoozeeko! Yakuwa ayagala tubeere kumpi naye ng’omwana gw’endiga bwe gubeera mu kifuba ky’omusumba omulungi. Okukimanya nti Kitaffe ow’omu ggulu atuukirikika kituleetera okwongera okumwagala. Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa?

ENGERI ENKULU ENNYO ABAKADDE GYE BASAANIDDE OKWOLEKA

5. Lwaki abakadde basaanidde okuba nga batuukirikika?

5 Emabegako awo, waliwo ab’oluganda abatali bamu okuva mu nsi ez’enjawulo abaabuuzibwa ekibuuzo kino: “Ngeri ki gy’osinga okwagala omukadde abe nayo?” Abasinga obungi ku bo baagamba nti baagala omukadde abe ng’atuukirikika. Wadde ng’Abakristaayo bonna balina okufuba okwoleka engeri eyo, okusingira ddala abakadde mu kibiina balina okuba nga batuukirikika. (Is. 32:1, 2) Ng’alaga ensonga lwaki agamba nti abakadde balina okuba nga batuukirikika, mwannyinaffe omu yagamba nti: “Omukadde bw’aba nga tatuukirikika, ab’oluganda tebasobola kuganyulwa mu ngeri endala ennungi z’aba nazo.” Ebigambo ebyo bituufu nnyo. Kati olwo oyinza otya okuba omuntu atuukirikika?

6. Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuba omuntu atuukirikika?

6 Ekimu ku bintu ebiyinza okukuyamba okuba omuntu atuukirikika kwe kuyiga okufaayo ku balala. Omukadde bw’aba ng’afaayo ku balala, nga mw’otwalidde n’abaana abato, ab’oluganda mu kibiina kibanguyira okumutuukirira. (Mak. 10:13-16) Carlos ow’emyaka 12 agamba nti: “Kinsanyusa nnyo okulaba abakadde nga bataddeko akamwenyumwenyu era nga bafaayo ku balala.” Kya lwatu nti omukadde tasaanidde kugamba bugambi nti atuukirikika, naye ekyo alina okukiraga mu bikolwa. (1 Yok. 3:18) Ekyo ayinza kukikola atya?

7. Lwaki abantu abamu kibanguyira okwogera naffe bwe tuba twambadde bbaagi y’olukuŋŋaana olunene, era ekyo kituyigiriza ki?

7 Lowooza ku kyokulabirako kino. Emabegako awo, waliwo ow’oluganda eyagenda ku lukuŋŋaana olunene mu nsi endala. Bwe yali addayo eka, yalinnya ennyonyi. Yali ayambadde bbaagi y’olukuŋŋaana olwo. Omu ku bakozi b’omu nnyonyi eyo bwe yalaba bbaagi eyo eyaliko ebigambo “Obwakabaka bwa Katonda Bujje!” yagamba ow’oluganda oyo nti, “Yee, bujje! Naye nneetaaga okumanya ebisingawo ku nsonga eyo.” Ow’oluganda yabuulira omukozi oyo era n’akkiriza n’okutwala magazini zaffe. Bangi ku ffe embeera efaananako ng’eyo yali etutuuseeko. Naye lwaki bwe twambala bbaagi y’olukuŋŋaana lwaffe olunene kireetera abantu okwagala okwogera naffe? Kubanga bbaagi ereetera abantu okwagala okumanya wa gye tulaga era eraga abantu nti tuli beetegefu okubabuulira ebikwata ku nzikiriza yaffe. Mu ngeri y’emu, abakadde balina okulaga bakkiriza bannaabwe nti beetegefu okwogera nabo. Ekyo bayinza kukikola batya?

8. Abakadde abayinza batya okulaga nti bafaayo ku bakkiriza bannaabwe, era ekyo kikwata kitya ku b’oluganda mu kibiina?

8 Mu nsi nnyingi, abantu balaga abalala nti babafaako nga babateerako akamwenyumwenyu, nga babakwatako mu ngalo, oba nga bababuuza mu ngeri ey’omukwano. Ani asaanidde okusooka okulaga nti afaayo ku balala? Weetegereze ekyokulabirako Yesu kye yatuteerawo. Matayo agamba nti Yesu bwe yasisinkana abayigirizwa be, ‘yabatuukirira’ n’ayogera nabo. (Mat. 28:18) Mu ngeri y’emu, abakadde bafuba okutuukirira bakkiriza bannaabwe ne boogerako nabo. Ekyo kiyinza kukwata kitya ku b’oluganda mu kibiina? Mwannyinaffe omu ow’emyaka 88 aweereza nga payoniya yagamba nti: “Abakadde bwe bassaako akamwenyumwenyu era ne boogera ebigambo ebinzizaamu amaanyi nga nzize mu nkuŋŋaana, ekyo kindeetera okwongera okubaagala.” Mwannyinaffe omulala yagamba nti: “Omukadde bw’assaako akamwenyumwenyu era n’annyaniriza nga nzize mu nkuŋŋaana, kinzizaamu nnyo amaanyi.”

FUNA EKISEERA OKWOGERAKO NE BAKKIRIZA BANNO

9, 10. (a) Kyakulabirako ki ekirungi Yakuwa ky’atuteereddewo? (b) Abakadde bayinza batya okukoppa Yakuwa?

9 Kya lwatu nti bwe tuba twagala abalala kibanguyire okututuukirira, tulina okukiraga nti tuli beetegefu okubawa ebiseera byaffe. Yakuwa atuteereddewo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bayibuli egamba nti: “Tali wala wa buli omu ku ffe.” (Bik. 17:27) Engeri emu abakadde gye bayinza okukoppamu Yakuwa kwe kufunangayo ekiseera okunyumyako ne bakkiriza bannaabwe, abato n’abakulu, ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Ow’oluganda omu aweereza nga payoniya yagamba nti: “Omukadde bw’ambuuza era n’awuliriza ekyo kye nziramu, kinzizzaamu nnyo amaanyi.” Mwannyinaffe omu amaze emyaka nga 50 ng’aweereza Yakuwa yagamba nti: “Abakadde bwe bafuna ekiseera okwogerako nange ng’enkuŋŋaana ziwedde, kindeetera okuwulira nga ndi wa mugaso.”

10 Kyo kituufu nti Abakadde balina eby’okukola bingi. Naye bwe baba bazze mu nkuŋŋaana, basaanidde okufunayo ekiseera okunyumyako ne bakkiriza bannaabwe.

YAKUWA TASOSOLA

11, 12. (a) Omuntu atasobola afaanana atya? (b) Bayibuli eraga etya nti Yakuwa tasosola?

11 Engeri endala ennungi Yakuwa gy’alina kwe kuba nti tasosola. (Bik. 10:34) Omuntu atasobola afaanana atya? Aba mwenkanya eri abantu bonna era taba na kyekubiira. Omuntu bw’aba ow’okwewala okusosola abalala, aba alina okusooka okukikkiriza nti abantu bonna balina okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Omuntu atasosola yeewala okubaako abantu baayisa obulungi okusinga abalala olw’endabika yaabwe oba olw’okuba balina ssente. Mu kifo ky’ekyo, afuba okuba omwenkanya eri abantu bonna.

12 Yakuwa tasosola era atuteerawo ekyokulabirako ekisingayo obulungi mu nsonga eno. Bayibuli egamba nti Katonda “tasosola.” (Soma Ebikolwa 10:34, 35; Ekyamateeka 10:17.) Ka tulabeyo ekintu ekyaliwo mu kiseera kya Musa ekiraga nti Katonda tasosola.

Bawala ba Zerofekaadi baakiraba nti Katonda tasosola (Laba akatundu 13, 14)

13, 14. (a) Kizibu ki bawala ba Zerofekaadi kye baafuna? (b) Yakuwa yakiraga atya nti tasosola?

13 Abaisiraeri bwe baali banaatera okuyingira mu Nsi Ensuubize, bawala ba Zerofekaadi abataano baafuna ekizibu eky’amaanyi. Kizibu ki ekyo? Kitaabwe Zerofekaadi yali afudde, era baali tebasobola kuweebwa ttaka ng’obusika. Lwaki? Kubanga okusinziira ku Mateeka, abaana ab’obulenzi be bokka abaalina okuweebwa obusika. Kyokka Zerofekaadi teyalina mwana yenna wa bulenzi. (Kubal. 26:33, 52-55) Kati olwo ettaka eryalina okuweebwa Zerofekaadi lyandiweereddwa ba ŋŋanda ze, olwo bawala be ne baviiramu awo?

14 Bawala ba Zerofekaadi baagenda eri Musa ne bamugamba nti: ‘Kiki ekinaaba kiggisaawo erinnya lya kitaffe ku nda ye, kubanga teyazaala mwana wa bulenzi? Mutuwe obusika mu baganda ba kitaffe.’ Musa teyabagamba nti ‘Etteeka bwe lityo bwe ligamba, sirina kya kubakolera.’ Mu kifo ky’ekyo, Musa ‘yatwala ensonga yaabwe mu maaso ga Yakuwa.’ (Kubal. 27:2-5) Kiki Yakuwa kye yagamba Musa? Yamugamba nti: “Bawala ba Zerofekaadi boogera bya nsonga: tolirema kubawa butaka bwa busika mu baganda ba kitaabwe; era olibasisa obusika bwa kitaabwe.” Yakuwa yakola n’ekisingako awo. Yalagira eryo lifuuke na tteeka. Yagamba Musa nti: “Omusajja bw’anaafanga nga tazadde mwana wa bulenzi, kale muwala we munaamusisanga obusika bwe.” (Kubal. 27:6-8; Yos. 17:1-6) Okuva olwo, abakazi bonna Abaisiraeri abeesanganga mu mbeera ng’eyo, baaweebwanga obusika.

15. (a) Yakuwa ayisa atya abantu be, naddala abo abatalina abayamba? (b) Byakulabirako ki ebirala okuva mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa tasosola?

15 Mu butuufu Yakuwa yakiraga nti tasosola. Bawala ba Zerofekaadi tebaalina muntu yenna yali asobola kubayamba, era Yakuwa yakwata ensonga zaabwe mu ngeri ey’obwenkanya nga bwe yakolanga n’eri Abaisiraeri abalala. (Zab. 68:5) Ekyo kye kimu ku byokulabirako ebingi bye tusoma mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa tasosola.​—1 Sam. 16:1-13; Bik. 10:30-35, 44-48.

TUSOBOLA OKUKOPPA YAKUWA

16. Kiki ekiyinza okutuyamba okwewala obusosoze?

16 Tuyinza tutya okukoppa Yakuwa, Katonda atasosola? Kijjukire nti bwe tuba ab’okwewala okusosola abalala, tulina okusooka okukikkiriza nti abantu bonna balina okuyisibwa mu ngeri ey’obwenkanya. Oboolyawo oyinza okuba ng’olowooza nti tososola. Naye osaanidde okukijjukira nti tekiba kyangu muntu kukiraba nti musosoze. Kati olwo oyinza otya okutegeera obanga tososola? Yesu yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi mu nsonga eno. Bwe yali ayagala okumanya engeri abantu gye baali bamutwalamu, yabuuza mikwano gye be yali yeesiga nti: “Omwana w’omuntu abantu bagamba nti y’ani?” (Mat. 16:13, 14) Naawe oyinza okukola nga Yesu. Oyinza okufunayo mukwano gwo gw’omanyi nti ajja kukubuulira ddala ekyo ky’oli, n’omubuuza obanga ddala oli muntu atasosola. Singa akugamba nti oluusi abantu b’eggwanga erimu obayisa bulungi okusinga ab’amawanga amalala oba nti ofaayo nnyo ku bantu abalina ssente oba abayivu okusinga bw’ofaayo ku balala, kiki ky’osaanidde okukola? Osaanidde okusaba Yakuwa akuyambe okukyusa endowooza gy’olina ku bantu abalala, osobole okweggyamu obusosoze.​—Mat. 7:7; Bak. 3:10, 11.

17. Tuyinza tutya okukiraga nti tetusosola?

17 Tusobola okukiraga nti tukoppa Yakuwa, Katonda atasosola, nga tussa ekitiibwa mu bakkiriza bannaffe bonna era nga bonna tubalaga ekisa. Ng’ekyokulabirako, bwe kituuka ku kwaniriza bakkiriza bannaffe mu maka gaffe, tusaanidde okwaniriza bonna, nga mw’otwalidde n’abo abatali ba ggwanga lyaffe, abatali bulungi mu bya nfuna, bannamwandu, ne bamulekwa. (Soma Abaggalatiya 2:10; Yakobo 1:27.) Ate era bwe tuba tubuulira amawulire amalungi, tetusosola, tubuulira abantu bonna nga mw’otwalidde n’abo abava mu mawanga amalala. Ekibiina kya Yakuwa kikuba ebitabo ebinnyonnyola Bayibuli mu nnimi nga 600. Obwo bukakafu bwa nkukunala obulaga nti abantu ba Yakuwa tebasosola.

18. Okufumiitiriza ku ky’okuba nti Yakuwa atuukirikika era nti tasosola, kyandikukubirizza kukola ki?

18 Gye tukoma okufumiitiriza ku ky’okuba nti Yakuwa atuukirikika era nti tasosola, gye tukoma okumwagala. Ekyo kitukubiriza okwagala okumukoppa n’okwoleka engeri ze ezo nga tukolagana ne bakkiriza bannaffe oba nga tubuulira.

‘Yakuwa aba kumpi n’abo bonna abamukaabirira.’​—Zab. 145:18 (Laba akatundu 9)

‘Yakuwa Katonda tasosola.’​—Ma. 10:17, NW (Laba akatundu 17)

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share