EBYAFAAYO
Okwesiga Yakuwa Kituviiriddemu Emikisa Mingi
Oluusi waliwo ebintu ebitutuukako nga tetubyetegekedde, era ebimu biyinza obutaba byangu kugumira. Naye Yakuwa awa omukisa abo abamwesiga era abeewala okwesigama ku magezi gaabwe. Ekyo tukirabidde mu bintu nze ne mukyala wange bye tuyiseemu mu bulamu. Bino bye bimu ku bitukwatako.
TAATA ne maama baasooka kusisinkana mu ku lukuŋŋaana olunene olw’Abayizi ba Bayibuli olwaliwo mu 1919 mu Cedar Point, Ohio, Amerika era ne bafumbiriganwa ng’omwaka ogwo gunaatera okuggwako. Nze nnazaalibwa mu 1922, ate muganda wange Paul, n’azaalibwa mu 1924. Mukyala wange Grace yazaalibwa mu 1930. Bazadde ba mukyala wange, Roy Howell ne Ruth, ne bajjajjaabe baali Bayizi ba Bayibuli era bajjajja ba mukyala wange baali mikwano gy’Ow’oluganda Charles Taze Russell.
Nnasisinkana Grace mu 1947, ne tufumbiriganwa nga Jjulaayi 16, 1949. Bwe twali tetunnafumbiriganwa, twasooka kwogera ku biseera byaffe eby’omu maaso. Twasalawo nti tugenda kuba mu buweereza obw’ekiseera kyonna era nti tetujja kuzaala baana. Nga Okitobba 1, 1950, twatandika okuweereza nga bapayoniya. Mu 1952, twatandika omulimu gw’okukyalira ebibiina.
OKUKYALIRA EBIBIINA N’ESSOMERO LYA GIREYAADI
Nze ne Grace twakiraba nti twali twetaaga okuyambibwa okusobola okutuukiriza obulungi obuweereza bwaffe. Nnina ebintu bingi bye nnayigira ku b’oluganda abaalina obumanyirivu, naye era nnafuba okulaba nti Grace naye ayambibwa. Nnatuukirira Ow’oluganda Marvin Holien, eyali amaze ekiseera ng’aweereza ng’omulabirizi akyalira ebibiina ne mugamba nti: “Grace akyali muto era talina bumanyirivu. Olowooza ani asobola okumuyamba?” Marvin yaŋŋamba nti: “Mwannyinaffe Edna Winkle, amaze ekiseera ng’aweereza nga payoniya, asobola bulungi okumuyamba.” Oluvannyuma Grace yagamba nti: “Edna yannyamba okulekera awo okutya abantu nga mbuulira nnyumba ku nnyumba, okumanya engeri y’okukwatamu abantu abawakanya ebyo bye tubabuulira, n’okuyiga okuwuliriza abantu nsobole okumanya engeri y’okubaanukulamu. Mu butuufu, Edna yannyamba nnyo!”
Okuva ku kkono: Nathan Knorr, Malcolm Allen, Fred Rusk, Lyle Reusch, Andrew Wagner
Nze ne Grace twakyalira ebibiina mu ssaza ly’e Iowa, nga mw’otwalidde n’ebyo ebyali mu ssaza ly’e Minnesota ne mu Dakota. Oluvannyuma twasindikibwa okukyalira ebibiina mu New York, omwali n’ebibiina ebyali mu Brooklyn ne mu Queens. Bwe twakyalira ebibiina ebyo twawulira nga tetulina bumanyirivu. Ekimu ku bibiina bye twakyalira kyali kiyitibwa Brooklyn Heights, ekyali kikuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka ku Beseri, era kyalimu Ababeseri bangi abaalina obumanyirivu. Oluvannyuma lw’okuwa emboozi yange ey’obuweereza eyasooka, Ow’oluganda Nathan Knorr yantuukirira n’aŋŋamba nti: “Malcolm, otubuulidde ebintu bye tulina okukolako, era bibadde bituukirawo. Kijjukire nti singa totuwabula, toba wa mugaso nnyo eri ekibiina kya Yakuwa. Genda mu maaso n’omulimu ogwo omulungi gw’okola.” Oluvannyuma lw’enkuŋŋaana, nnabuulirako Grace ebyo Ow’oluganda Knorr bye yali aŋŋambye. Bwe twava awo, twagenda mu kisenge gye baali batutegekedde okusula ku Beseri. Olw’okuba twali tuwulira nga ffenna tuyenjebuse, twakaaba amaziga.
“Singa totuwabula, toba wa mugaso nnyo eri ekibiina kya Yakuwa. Genda mu maaso n’omulimu ogwo omulungi gw’okola”
Oluvannyuma lw’emyezi mitono, twafuna ebbaluwa etuyita okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogwa 24, eryali lirina okukomekkerezebwa mu Febwali 1955. Baatubuulirirawo nti ensonga lwaki twali tugenda mu ssomero eryo tekyali nti twali tugenda kufuuka baminsani. Mu kifo ky’ekyo, twali tugenda kutendekebwa tusobole okukola obulungi omulimu gwaffe ogw’okukyalira ebibiina. Twayiga ebintu bingi mu Gireyaadi era ekyo kyatuyamba okuba abeetoowaze.
Nze ne Grace nga tuli ne Fern ne George Couch mu Gireyaadi, 1954
Oluvannyuma lw’okuva mu Gireyaadi, nnatandika okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti. Twalina okukyalira ebibiina ebyali mu ssaza ly’e Indiana, Michigan, ne Ohio. Kyatwewuunyisa nnyo mu Ddesemba 1955 bwe twafuna ebbaluwa okuva eri Ow’oluganda Knorr. Yatugamba nti: ‘Mube beesimbu gye ndi. Bwe muba nga mwagala okuweereza ku Beseri oba nga mwagala okugenda okuweereza mu nsi endala oluvannyuma lw’okumala akaseera katono ku Beseri, ekyo mukimbuulire. Naye bwe kiba nti mwagala kweyongera mu mulimu gw’okukyalira ebibiina, nakyo mukimbuulire.’ Twamugamba nti twali beetegefu okuweereza yonna gye twandisindikiddwa. Oluvannyuma lw’akaseera katono, twayitibwa okugenda okuweereza ku Beseri!
OKUWEEREZA KU BESERI
Bwe nnali mpeereza ku Beseri nnasindikibwanga okugenda okuwa emboozi mu bibiina ne mu nkuŋŋaana ennene mu bitundu ebitali bimu eby’Amerika. Nnafuba okutendeka abavubuka bangi oluvannyuma abaaweebwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina kya Yakuwa. Oluvannyuma, nnatandika okuweereza ng’omuwandiisi w’Ow’oluganda Knorr mu ofiisi eyali erabirira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna.
Nga mpeereza mu Kitongole ky’Obuweereza, 1956
Nnanyumirwa nnyo okuweereza mu Kitongole ky’Obuweereza. Bwe nnali mu kitongole ekyo, nnafuna akakisa okukolerako awamu n’Ow’oluganda T. J. (Bud) Sullivan, eyaliko omulabirizi w’ekitongole ekyo okumala emyaka mingi. Ate era waliwo n’abalala mu kitongole ekyo be nnayigirako ebintu bingi. Ng’ekyokulabirako, Fred Rusk, omu ku abo abantendeka, yanjigiriza ebintu bingi. Nzijjukira lumu nnamubuuza, “Fred, lwaki ebintu ebimu bye mba mpandiise mu mabaluwa obikyusa?” Yaseka, n’aŋŋamba nti, “Malcolm, bw’oyogera ekintu, osobola okwongera okukinnyonnyola, naye bw’owandiika ekintu, naddala nga kivudde wano, olina okufuba ennyo okulaba nti tekibaamu nsobi yonna.” Oluvannyuma yaŋŋamba nti, “Tofaayo, okola bulungi, era ekiseera bwe kinaagenda kiyitawo, ojja kweyongera okukola obulungi.”
Emyaka gye twamala nga tuweereza ku Beseri, Grace yaweebwa emirimu egitali gimu, nga mw’otwalidde okulongoosa n’okulabirira ebisenge Ababeseri mwe basula. Yayagalanga nnyo omulimu gwe. N’okutuusa leero, bwe tusanga abamu ku b’oluganda be twali nabo ku Beseri mu kiseera ekyo, bagamba Grace nti, “Watuyigiriza okwala obuliri, era bazadde baffe basanyufu nnyo olw’ekyo.” Grace era yanyumirwa nnyo okuweereza mu kitongole ekikola ku magazini, ku mabaluwa, ne ku butambi bw’amaloboozi. Okukola emirimu egy’enjawulo ku Beseri kyamuyamba okukiraba nti ka tube nga tukola mulimu ki mu kibiina kya Yakuwa oba nga tugukolera wa, okuweereza Yakuwa nkizo ya maanyi era atuwa emikisa. Ne leero, Grace akyawulira bw’atyo.
ENKYUKAKYUKA ZE TUKOZE
Mu 1975, twakiraba nti bazadde baffe abaali bakaddiye baali beetaaga okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo. Bwe kityo, twasalawo okukola ekintu ekitaali kyangu kukola. Twali tetwagala kuva ku Beseri wadde okuleka baweereza bannaffe be twali twagala ennyo. Wadde kyali kityo, twali tukimanyi nti buvunaanyizibwa bwaffe okulabirira bazadde baffe. N’olwekyo, twasalawo okuva ku Beseri, naye nga tusuubira nti embeera bw’eneetereera tujja kudda.
Okusobola okweyimirizaawo, nnatandika okukola mu kitongole kya yinsuwa. Nzijukira lumu bwe nnali nkyatendekebwa, maneja omu yaŋŋamba nti: “Bizineesi eno ekola nnyo mu biseera by’akawungeezi. Mu biseera ebyo abantu we bajjira ennyo. Buli kawungeezi oba weetaagibwa nnyo wano ku mulimu okusinga ekiseera ekirala kyonna.” Nnamuddamu nti, ‘Ky’oyogera kituufu, kubanga ebintu bino obimanyi bulungi. Kyokka, nze okusinza Katonda bulijjo kye mbadde nkulembeza mu bulamu bwange era saagala kutandika kukiragajjalira kati. Nja kubeerangawo buli kawungeezi, naye Olw’okubiri n’Olw’okuna akawungeezi sijja kusobola kubeerangawo kubanga ekiseera ekyo mba ŋŋenze kusinza Katonda.’ Mu butuufu, Yakuwa ampadde emikisa mingi olw’obutakkiriza mulimu gwange kundeetera kusubwa nkuŋŋaana.
Twajjanjaba maama wange okutuusa lwe yafa mu Jjulaayi 1987. Yafiira mu kifo gye balabirira bannamukadde. Akulira ekifo ekyo yagamba Grace nti: “Muky. Allen, ddayo eka owummule. Buli omu akimanyi nti okoze kyonna ekisoboka okujjanjaba nnyazaala wo, era obadde tova wano.”
Mu Ddesemba 1987, twaddamu okujjuza foomu nga twagala okuddayo ku Beseri, ekifo kye twali twagala ennyo. Naye oluvannyuma lw’ennaku ntono, Grace baamukebera ne bakizuula nti yalina kkansa w’omu byenda. Kyokka abasawo baamujjanjaba n’awona. Mu kiseera ekyo, twafuna ebbaluwa okuva ku Beseri ng’etukubiriza okweyongera okuweerereza mu kibiina kye twalimu. Twali bamalirivu okweyongera okukola omulimu gw’Obwakabaka n’obunyiikivu.
Oluvannyuma, nnafuna omulimu mu Texas. Twagukkiriza olw’okuba twalaba ng’embeera y’obudde ey’omu Texas nnungi. Emyaka 25 gye tumaze mu Texas, tubadde n’ab’oluganda awamu ne bannyinaffe abatulaze okwagala, era bafuuse mikwano gyaffe nnyo.
BYE TUYIZE
Grace atawanyiziddwa kkansa ow’omu byenda, ow’omu bulago, n’ow’omu mabeere naye teyeemulugunyangako olw’embeera gy’alimu. Abaddenga awagira enteekateeka y’obukulembeze mu maka. Emirundi mingi abantu bamubuuzizza nti, “Kiki ekibayambye, ggwe n’omwami wo, okusigala nga muli basanyufu?” Atera okubawa ensonga nnya: “Tuli ba mukwano nnyo. Tufunayo ekiseera buli lunaku okunyumya. Tumala ebiseera bingi buli lunaku nga tuli wamu. Era tetwebaka nga tetunnaba kugonjoola butategeeragana bwe tuba tufunye.” Kya lwatu nti ebiseera ebimu buli omu asobya munne, naye tusonyiwagana era ne twerabira. Ekyo kituyambye nnyo.
“Kikulu nnyo bulijjo okwesiga Yakuwa n’okukkiriza ekyo ky’aba alese kibeewo”
Ebizibu bye tuyiseemu bituyigirizza ebintu bino wammanga:
Kikulu nnyo bulijjo okwesiga Yakuwa n’okukkiriza ekyo ky’aba alese kibeewo. Tetulina kwesigama ku kutegeera kwaffe.—Nge. 3:5, 6; Yer. 17:7.
Tusaanidde okunoonya obulagirizi okuva mu Kigambo kya Katonda mu buli kimu. Kikulu nnyo okugondera Yakuwa n’okukwata amateeka ge. Omuntu bw’aba tagondera Yakuwa aba amujeemera.—Bar. 6:16; Beb. 4:12.
Waliwo ekintu kimu ekisinga obukulu mu bulamu—okuba n’erinnya eddungi mu maaso ga Yakuwa. Tusaanidde okukulembeza by’ayagala, so si eby’obugagga.—Nge. 28:20; Mub. 7:1; Mat. 6:33, 34.
Kikulu okusabanga Yakuwa atuyambe okufuna ebibala mu buweereza bwaffe. Tusaanidde okussa essira ku ebyo bye tusobola okukola, so si ku ebyo bye tutasobola kukola.—Mat. 22:37; 2 Tim. 4:2.
Tewali kibiina kirala Yakuwa ky’asiima era ky’awa mikisa okuggyako ekibiina kye.—Yok. 6:68.
Nze ne Grace buli omu amaze emyaka egisukka mu 75 ng’aweereza Yakuwa, era tumaze emyaka nga 65 mu bufumbo nga tuweerereza wamu Yakuwa. Tufunye essanyu lingi nga tuweerereza wamu Yakuwa okumala emyaka egyo gyonna. Tewali kubuusabuusa nti bwe twesiga Yakuwa atuwa emikisa mingi.