Ezeekyeri yazingiza Yerusaalemi nga Yakuwa bwe yali amugambye
Koppa Bannabbi
OLINA ky’ofaananya bannabbi abaaliwo edda? “Awannyonnyolerwa Ebigambo” mu Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya woogera bwe wati ku nnabbi: “Omuntu Katonda gw’akozesa okumanyisa ebigendererwa bye. Bannabbi baali boogezi ba Katonda, era tebaakomanga ku kulanga ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso, naye era baategeezanga abantu Yakuwa by’ayagala bayige, n’ebyo ebikwata ku mateeka ge n’ebiragiro bye.” Wadde nga tolanga binaabaawo mu biseera eby’omu maaso, okola ng’omwogezi wa Katonda ng’omanyisa abalala ebyo ebiri mu Kigambo kye.—Mat. 24:14.
Nga tulina enkizo ya maanyi nnyo okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa Katonda n’okubategeeza ebyo by’agenda okukolera abantu. Omulimu guno tugukolera wamu ne ‘malayika ababuuka waggulu mu bbanga.’ (Kub. 14:6) Kyokka oluusi twolekagana n’okusoomooza okutali kumu okutuviirako okuddirira mu kukola omulimu guno omukulu ennyo. Okumu ku kusoomooza okwo kwe kuliwa? Oluusi tuyinza okukoowa, tuyinza okuggwaamu amaanyi, oba tuyinza okuwulira ng’abatalina mugaso. Bannabbi abaaliwo edda nabo baayolekagana n’okusoomooza ng’okwo naye baagenda mu maaso n’okuweereza. Yakuwa yabayambanga okutuukiriza obuweereza bwabwe. Ka tulabeyo abamu ku bo n’engeri gye tuyinza okubakoppa.
BAAWEEREZA N’OBUNYIIKIVU
Oluusi tuyinza okukoowa olw’emirimu gye tukola era ne tuwulira nga tetusobola kwenyigira mu mulimu gwa kubuulira. Kyo kituufu nti twetaaga okuwummulako; ne Yesu awamu n’abatume be baawummulangako. (Mak. 6:31) Naye lowooza ku Ezeekyeri eyali aweerereza e Babulooni mu Bayisirayiri abaali baawambibwa mu Yerusaalemi. Lumu Katonda yagamba Ezeekyeri afune ettoffaali alyoleko ekibuga Yerusaalemi. Oluvannyuma Ezeekyeri yagambibwa okuzingiza ekibuga ekyo kye yali ayoze ku ttoffaali nga yeebakira ku ludda lwe olwa kkono okumala ennaku 390 ate oluvannyuma yeebakire ku ludda lwe olwa ddyo okumala ennaku 40. Yakuwa yagamba Ezeekyeri nti: “Laba! Nja kukusiba emiguwa obe nga tosobola kukyuka kwebakira ku ludda lulala, okutuusa lw’onoomalako ennaku ez’okuzingiza kwo.” (Ez. 4:1-8) Ekyo kiteekwa okuba nga kyewuunyisa Abayisirayiri abaali mu buwambe. Ezeekyeri yali wa kumala ebbanga erisukka mu mwaka mulamba ng’akola ekintu ekyo ekitaali kyangu. Nnabbi oyo yasobola atya okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo?
Ezeekyeri yali ategeera bulungi ensonga lwaki yatumibwa okuweereza nga nnabbi. Katonda bwe yali amutuma yamugamba nti: “Ka babe nga banaawuliriza oba nga tebaawulirize . . . , bajja kumanya nti waaliwo nnabbi mu bo.” (Ez. 2:5) Ezeekyeri yalowoozanga ku kigendererwa ky’obuweereza bwe. Eyo ye nsonga lwaki bwe yagambibwa okukola omulimu ogwo ogutaali mwangu, yagukola n’omutima gwe gwonna. Ddala Ezeekyeri yali nnabbi. Oluvannyuma ye ne Bayisirayiri banne abaali mu buwambe baategeezebwa nti: “Ekibuga kiwambiddwa!” Kyaddaaki Abayisirayiri baakitegeera nti mu bo mwalimu nnabbi.—Ez. 33:21, 33.
Leero tulabula abantu nti ensi ya Sitaani eneetera okuzikirizibwa. Wadde ng’oluusi tuyinza okuwulira nga tuli bakoowu, tufuba okubuulira abantu Ekigambo kya Katonda, tufuba okubaddiŋŋana, n’okubayigiriza. Bwe tulaba obunnabbi obukwata ku mafundikira g’enteekateeka y’ebintu eno nga bugenda butuukirizibwa, kitusanyusa okukimanya nti ‘Katonda atukozesa okumanyisa abalala ebigendererwa bye.’
OLUUSI BAAWULIRANGA NGA BAWEDDEMU AMAANYI
Wadde nga Yakuwa atuwa omwoyo gwe ne tusobola okubuulira n’obunyiikivu, oluusi tuyinza okuwulira nga tuweddemu amaanyi olw’engeri abantu gye batwalamu obubaka bwaffe. Lowooza ku Yeremiya. Abayisirayiri baamusekereranga, baamuvumanga, era baamujereganga olw’okubategeeza obubaka obuva eri Katonda. Lumu Yeremiya yatuuka n’okugamba nti: “Sigenda kumwogerako, era sijja kuddamu kwogera mu linnya lye.” Yeremiya yali muntu nga ffe. Wadde kyali kityo, teyalekayo kutegeeza bantu bubaka obuva eri Katonda. Lwaki? Yagamba nti: “Naye mu mutima gwange ekigambo kye kyali ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gange, nnawulira nga nkooye okusirika; nnali sikyasobola kugumira mbeera eyo.”—Yer. 20:7-9.
Naffe ekiyinza okutuyamba nga tuweddemu amaanyi olw’engeri abantu gye batwalamu obubaka bwaffe, kwe kufumiitiriza ku bubaka obwo. Obubaka obwo busobola okubeera ‘ng’omuliro ogubuubuuka munda mu magumba gaffe.’ Okusoma Bayibuli obutayosa kijja kukuuma omuliro ogwo nga gwaka munda mu ffe.
BAASOBOLA OKWAŊŊANGA OKUSOOMOOZA OKW’AMAANYI
Abakristaayo abamu bawulira nga basobeddwa bwe baweebwa obuvunaanyizibwa bwe batategeera bulungi. Nnabbi Koseya ayinza okuba nga naye yawulira bw’atyo. Yakuwa yamugamba nti: “Genda owase omukazi ajja okukola obwamalaaya era ojja kufuna abaana abazaaliddwa mu bwamalaaya.” (Kos. 1:2) Wandiwulidde otya ng’ogenda kuwasa naye Katonda n’akugamba nti omukazi gw’ogenda okuwasa agenda kubeera malaaya? Koseya yakkiriza okukola ekyo Katonda kye yamugamba. Yawasa omukyala ayitibwa Gomeri, era omukyala oyo n’amuzaalira omwana ow’obulenzi. Oluvannyuma omukyala oyo yazaala omwana omulala ow’obuwala era n’azaala n’ow’obulenzi. Kirabika abaana abo ababiri abaasembayo, yabazaala mu bwenzi. Yakuwa yali agambye Koseya nti omukyala gwe yali agenda okuwasa yali agenda ‘kugoberera baganzi be.’ Weetegereza nti yali tagenda kugoberera muganzi we wabula “baganzi be.” Oluvannyuma omukyala oyo yandigezezzaako okukomawo eri Koseya. Singa wali nnabbi oyo, wandikkirizza omukyala oyo okukomawo ewuwo? Yakuwa yagamba Koseya nti akomyewo omukyala oyo. Koseya yalina n’okugula omukyala oyo ssente eziwerera ddala.—Kos. 2:7; 3:1-5.
Koseya ayinza okuba nga yeebuuza obanga obuvunaanyizibwa obwo Katonda bwe yamuwa bwandivuddemu ekirungi kyonna. Naye mu kutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, Koseya yatuyamba okutegeera obulumi Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna bwe yawulira ng’Abayisirayiri bamuvuddeko. Naye Abayisirayiri abamu abaali ab’emitima emirungi baakomawo eri Yakuwa.
Leero Katonda talina gw’alagira kuwasa ‘mukazi ajja okukola obwamalaaya.’ Wadde kiri kityo, waliwo kye tuyinza okuyigira ku ky’okuba nti Koseya yakkiriza okukola ekyo Katonda kye yamugamba. Ekimu ku ebyo bye tuyinza okumuyigirako kwe kuba abeetegefu okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ‘mu lujjudde ne nnyumba ku nnyumba’ wadde ng’ekyo kiyinza obutatubeerera kyangu. (Bik. 20:20) Kiyinzika okuba nti waliwo engeri ezimu ez’okubuulira ezitatwanguyira kwenyigiramu. Bangi ku abo ababa basoma Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa bagamba nti baagala nnyo okuyiga Bayibuli naye nti tebajja kugenda nga babuulira nnyumba ku nnyumba. Naye oluvannyuma bangi ku bo beenyigira mu mulimu ogwo mu kusooka gwe baali balowooza nti tebasobola kugukola. Kino kirina kye kikuyigiriza?
Waliwo ekirala kye tusobola okuyigira ku Koseya. Oboolyawo Koseya yandibaddeko obusongasonga bwe yeekwasa aleme kukola ekyo Katonda kye yali amugambye okukola. Ddala wandibaddewo omuntu yenna eyandibadde amanya ku kintu ekyo Katonda kye yalagira Koseya okukola singa Koseya teyakiwandiikako? Naffe tuyinza okwesanga mu mbeera nga tufunye akakisa okubaako omuntu gwe tubuulira ebikwata ku Yakuwa naye nga tewali muntu mulala yenna akimanyiiko nti tufunye akakisa ako. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe Anna ow’omu Amerika ali mu siniya. Omusomesa waabwe yagamba buli mwana okuwandiika ku kintu ekimu ky’akkiririzaamu ennyo era afube okuleetera ne bayizi banne okukikkiririzaamu. Anna yali asobola okusalawo obutakozesa kakisa ako okuwa obujulirwa. Naye yakiraba nti akakisa ako kaali kavudde eri Yakuwa. Olw’okuba yali akimanyi nti ekyo kye yali agenda okwogerako kyali kisobola okuleetawo okuwakana okw’amaanyi, Anna yasaba Yakuwa amuyambe, era muli n’awulira nti yali afunye obuvumu okukyogerako. Yawandiika ku nsonga egamba nti: ‘Ebintu tebyajjawo byokka wabula byatondebwa butondebwa.’
Abaana abakoppa bannabbi bawa obujulirwa ku Yakuwa awatali kutya
Anna bwe yatandika okwogera ku nsonga eyo eri ekibiina, omuwala omu atakkiriza nti ebintu byatondebwa butondebwa yatandika okumwokya ebibuuzo. Ebibuuzo ebyo Anna yabiddamu bulungi. Ekyo kyasanyusa nnyo omusomesa waabwe era n’awa Anna ekirabo eky’omuyizi eyali asinze okukola obulungi. Okuva olwo Anna yeeyongera okukubaganya ebirowoozo n’omuwala oyo eyamwokya ebibuuzo. Olw’okuba Anna yakkiriza ‘obuvunaanyizibwa’ obwo obwava eri Yakuwa, agamba nti, “Kati mbuulira amawulire amalungi awatali kutya.”
Bwe tukoppa bannabbi nga Ezeekyeri, Yeremiya, ne Koseya, abaaweereza Yakuwa n’obunyiikivu, naffe tusobola okutuukiriza omulimu Yakuwa gw’atuwadde leero. Mu kusinza kw’amaka oba nga weesomesa, lwaki tosoma ku bannabbi abalala era n’ofumiitiriza ku ngeri gy’oyinza okubakoppamu?