LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w16 Ddesemba lup. 18
  • Okyajjukira?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okyajjukira?
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Subheadings
  • Similar Material
  • Biki ebyali bisobola okuleetera Bayibuli okusaanawo?
  • Okyajjukira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Okyajjukira?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2017
  • Mulekere Awo Okweraliikirira
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2018
  • Osobola Okuweereza Yakuwa Wadde nga Bazadde bo Tebaakuteerawo Kyakulabirako Kirungi
    Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2023
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
w16 Ddesemba lup. 18

Okyajjukira?

Ofubye okusoma magazini z’Omunaala gw’Omukuumi ze tufunye mu myezi egyakayita? Laba obanga osobola okuddamu ebibuuzo bino wammanga:

Kibi kya ngeri ki Yesu kye yali ayogerako mu Matayo 18:15-17?

Yali ayogera ku kibi abantu ababiri abazingirwamu kye basobola okwogerako ne bagonjoola ensonga. Ate era kiteekwa okuba nga kya maanyi ne kiba nti singa ensonga ziba tezigonjoddwa, kiviirako omuntu okugobebwa mu kibiina. Kiyinza okuzingiramu ebibi gamba ng’okukumpanya abalala oba okubakonjera ebigambo.​—w16.05, lup. 7.

Kiki ky’oyinza okukola okusobola okuganyulwa mu kusoma Bayibuli?

Osobola okukola ebintu bino wammanga: Soma ng’olina endowooza ennuŋŋamu, ng’onoonya engeri gy’oyinza okukolera ku by’osoma; weebuuze ‘Bye nsomye nnyinza ntya okubikozesa okuyamba abalala?’; era noonyereza ku by’oba osomye.​—w16.05, lup. 24-26.

Kiba kikyamu Omukristaayo okukungubaga wadde ng’akkiririza mu kuzuukira?

Okukkiririza mu kuzuukira tekimalaawo nnaku Omukristaayo gy’afuna ng’afiiriddwa omuntu we. Saala bwe yafa, Ibulayimu yamukungubagira. (Lub. 23:2) Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, ennaku eyo ekendeera.​—wp16.3, lup. 4.

Omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi n’abasajja omukaaga abakutte eby’okulwanyisa aboogerwako mu Ezeekyeri essuula 9 bakiikirira ki?

Bakiikirira eggye ery’omu ggulu eryenyigira mu kuzikiriza Yerusaalemi era erijja okwenyigira mu kuzikiriza ensi ya Sitaani ku Amagedoni. Mu kutuukirizibwa kw’obunnabbi buno mu kiseera kyaffe, omusajja alina akacupa ka bwino ow’omuwandiisi akiikirira Yesu Kristo, ajja okuteeka akabonero ku abo abajja okuwonawo.​—w16.06, lup. 16-17.

Biki ebyali bisobola okuleetera Bayibuli okusaanawo?

Bye bino: (1) ebintu kwe baagiwandiika, gamba ng’ebitoogo n’amaliba, byonooneka mangu; (2) waaliwo abafuzi n’abakulembeze b’amadiini abaayagala okugisaanyaawo; (3) waliwo abantu abamu abaayagala okukyusa obubaka obugirimu.​—wp16.4, lup. 4-7.

Biki Omukristaayo by’asobola okukola okusobola okukulembeza Obwakabaka?

Manya ebyo bye weetaagira ddala, lekera awo okugula ebintu by’oteetaaga. Kola embalirira ennungi. Weggyeeko ebintu by’otokozesa, sasula amabanja gonna g’olina. Kendeeza ku biseera by’omala ku mulimu gwo, era laba engeri gy’oyinza okugaziya ku buweereza bwo.​—w16.07, lup. 10.

Kiki Bayibuli ky’egamba nti kya muwendo okusinga zzaabu ne ffeeza?

Yobu 28:12, 15 walaga nti amagezi gasinga zzaabu ne ffeeza. Bw’oba onoonya amagezi ba mwetoowaze era ba n’okukkiriza okw’amaanyi.​—w16.08, lup. 18-19.

Kituufu Omukristaayo okukuza ebirevu?

Mu bitundu ebimu, omuntu bw’akuza ebirevu era n’abikomola bulungi tekirina gwe kyesitazza era tekiremesa bantu kuwuliriza mawulire ga Bwakabaka. Wadde kiri kityo, ab’oluganda abamu mu bitundu ebyo bayinza okusalawo obutakuza birevu. (1 Kol. 8:9) Mu bitundu ebirala, tekisaana Mukristaayo kukuza birevu.​—w16.09, lup. 21.

Lwaki tuli bakakafu nti bye tusoma ku Dawudi ne Goliyaasi bituufu?

Goliyaasi yali asinga omusajja akyasinzeeyo okuba omuwanvu ku nsi mu kiseera kyaffe inci mukaaga zokka. Ebiwandiiko eby’edda ebyaliko ebigambo “ennyumba ya Dawudi” bikakasa nti Dawudi ddala yaliyo. Era obukakafu bulaga nti ekifo Dawudi ne Goliyaasi we baalwanira ddala kyaliyo.​—wp16.5, lup. 13.

Njawulo ki eriwo wakati w’okumanya, okutegeera, n’amagezi?

Omuntu alina okumanya aba na bingi by’amanyi. Omuntu alina okutegeera aba alaba engeri ebintu ebitali bimu by’amanyi gye bikwataganamu. Ate omuntu alina amagezi akolera ku kumanya n’okutegeera by’alina.​—w16.10, lup. 18.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share