Yobu
3 Omuntu agoba ekizikiza;
Akkira ddala wansi mu kizikiza ekikutte,
Ng’anoonya amayinja.
4 Asima mu bifo ebyesudde okuva abantu we babeera,
Mu bifo ebyerabirwa, ebiri ewala ennyo okuva abantu we batambulira;
Abantu abamu bakkirayo ku miguwa ne balengejja.
5 Emmere erimwa ku nsi;
Naye wansi eyo wayiikuddwa ng’awookeddwa omuliro.
6 Eyo mu mayinja eriyo safiro,
N’enfuufu erimu zzaabu.
7 Teri kinyonyi ekirya ennyama ekimanyi ekkubo erigendayo;
Ne kamunye omuddugavu talirabangako.
8 Teri nsolo nkambwe yali eritambuliddemu;
N’empologoma ey’amaanyi teriyitangamu.
9 Omuntu ayasa olwazi olugumu n’engalo ze;
Asaanyaawo ensozi ng’azisima okuva ku ntobo yaazo.
10 Atema emikutu gy’amazzi+ mu njazi;
N’amaaso ge galaba buli kintu eky’omuwendo ennyo.
11 Aziba ensulo z’emigga
Era ebyakisibwa abiteeka mu kitangaala.
12 Naye amagezi gayinza kusangibwa wa?+
Era okutegeera kusibuka wa?+
13 Teri muntu ategeera muwendo gwago,+
Era tewali we gayinza kusangibwa mu nsi.
14 Obuziba bugamba, ‘Tegali mu nze!’
N’ennyanja egamba, ‘Tegali nange!’+
15 Tegagulwa zzaabu alongooseddwa;
Ne ffeeza tapimibwa okugagula.+
16 Era tegagulwa zzaabu w’e Ofiri,+
Wadde amayinja ga sokamu n’aga safiro agatasangikasangika.
17 Zzaabu n’endabirwamu tebiyinza kugeraageranyizibwa nago;
18 Amayinja ag’omuwendo omungi ag’omu nnyanja n’amayinja agamasamasa tebiyinza kugeraageranyizibwa nago,+
Kubanga ensawo ejjudde amagezi ya muwendo nnyo okusinga ensawo ejjudde luulu.
19 Tegayinza kugeraageranyizibwa na mayinja ga topazi+ ag’e Kuusi;
Era tegayinza kugulwa zzaabu alongooseddwa.
20 Naye amagezi gava wa,
Era okutegeera kusibuka wa?+
21 Gakisiddwa ebiramu byonna,+
Era gakisiddwa n’ebinyonyi eby’omu bbanga.
22 Okuzikirira n’okufa bigamba nti,
‘Amatu gaffe gaawulirako buwulizi ebigoogerwako.’
23 Katonda amanyi engeri y’okugafunamu;
Ye yekka amanyi gye gali,+
24 Kubanga alaba ensi gy’ekoma,
Era alaba buli kimu ekiri wansi w’eggulu.+
25 Bwe yawa empewo amaanyi* gaayo,+
Era n’apima amazzi,+
26 Bwe yateerawo enkuba etteeka,+
N’enkuba erimu okubwatuka ne kibuyaga n’agiteerawo ekkubo,+
27 Olwo n’alaba amagezi era n’annyonnyola kye gali;
Yagassaawo era n’agagezesa.
28 Awo n’agamba omuntu nti: