Ennyanjula
OLOWOOZA OTYA?
Ku birabo byonna Katonda bye yali atuwadde, kiruwa ekisinga okuba oky’omuwendo?
Bayibuli egamba nti: “Katonda yayagala nnyo ensi n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka.”—Yokaana 3:16.
Akatabo kano kannyonnyola ensonga lwaki Katonda yatuma Yesu ku nsi okutufiirira n’engeri gye tuyinza okulaga nti tusiima ekyo kye yatukolera.