LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • wp19 Na. 2 lup. 6-7
  • Bw’Ofiirwa Omuntu Wo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bw’Ofiirwa Omuntu Wo
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBIYAMBYE ABAMU OKUGUMA
  • Nnyinza Ntya Okugumira Ennaku Yange?
    Omwagalwa Wo bw’Afa
  • Okugumira Ennaku
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Ebiyinza Okukuyamba Okuguma
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2016
  • Kya Bulijjo Omuntu Okwewulira bw’Ati?
    Omwagalwa Wo bw’Afa
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogwa Bonna)—2019
wp19 Na. 2 lup. 6-7
Omwami n’omukyala abalina ennaku ey’amaanyi bali ku lubalama lw’ennyanja

Bw’Ofiirwa Omuntu Wo

Vanessa, abeera mu Australia yagamba nti: “Nnawulira bubi nnyo mwannyinaze omukulu bwe yafa. Bwe waayitawo emyezi egiwerako, nnamujjukiranga ne mpulira obulumi obw’amaanyi nga nninga gwe bafumise ekiso ku mutima. Oluusi nnawuliranga obusungu. Nneebuuzanga nti, lwaki mwannyinaze yafa? Nnejjusanga olw’obutabeera naye kiseera kiwerako ng’akyali mulamu.”

BW’OBA nga wafiirwa omuntu gw’oyagala ennyo, naawe oyinza okuba nga wawulira ennaku ey’amaanyi n’ekiwuubaalo. Era oboolyawo wawulira obusungu, entiisa, era ne weesalira omusango. Oyinza n’okuba nga weebuuza obanga obulamu bulina omugaso.

Si kikyamu okuwulira ennaku ey’amaanyi okumala ekiseera ekiwanvu. Kiraga bulazi nti wali oyagala nnyo omuntu oyo. Naye kiki ekisobola okukuyamba okuguma?

EBIYAMBYE ABAMU OKUGUMA

Wadde ng’oyinza okuba owulira ennaku ey’amaanyi, amagezi gano wammanga gasobola okukuyamba okuguma:

SI KIKYAMU OKUKAABA

Abantu bonna tebanakuwala mu ngeri y’emu era temala kiseera kye kimu nga banakuwavu. Wadde kiri kityo, okukaaba kukkakkanya ku bulumi omuntu bw’awulira ng’afiiriddwa. Vanessa, gwe twayogeddeko emabega agamba nti: “Nnakaabanga; nnali nneetaaga okukkakkanya ku bulumi bwe nnali mpulira.” Sofía, eyafiirwa muganda we agamba nti: “Okulowooza ku ekyo ekyaliwo kireeta obulumi obw’amaanyi; kiringa okusumulula ekiwundu n’okirongoosa. Owulira obulumi bwa maanyi, naye ekiwundu kimala ne kiwona.”

BUULIRAKO ABALALA ENGERI GY’OWULIRAMU

Kyo kituufu nti oluusi oyinza okwagala okubeera wekka. Kyokka, ennaku gy’owulira ebanga omugugu omunene gw’otosobola kwetikka wekka. Jared ow’emyaka 17 eyafiirwa kitaawe, agamba nti: “Nnabuulirako abalala engeri gye nnali mpuliramu. Nnyinza okuba nga saasobola kuggirayo ddala nneewulira gye nnalina, naye okwogerako n’abalala kyannyamba nnyo.” Janice, ayogeddwako mu kitundu ekisoose, naye agamba nti: “Okubuulirako abalala engeri gy’owuliramu kibudaabuda nnyo. Kikuleetera okuwulira nti abalala bategeera engeri gye weewuliramu era nti toli wekka.”

KKIRIZA OBUYAMBI BW’ABALALA

Omusawo omu agamba nti: “Abo abakkiriza ab’omu maka gaabwe oba mikwano gyabwe okubayamba nga baakafuna ekikangabwa eky’okufiirwa, kibanguyira okuguma ne mu nnaku eziddirira.” Buulira mikwano gyo engeri gy’oyagala bakuyambemu; bayinza okwagala okukuyamba naye nga tebamanyi ngeri ya kukuyambamu.​—Engero 17:17.

SEMBERERA KATONDA

Tina agamba nti: “Omwami wange bwe yafa obulwadde bwa kookolo, nnali sikyalina gwe mbuulira binnuma. N’olwekyo, nnabuuliranga Katonda buli kimu! Buli ku makya nnamusabanga ampise mu lunaku era yannyamba mu ngeri nnyingi.” Tarsha, eyalina emyaka 22 maama we we yafiira, agamba nti: “Okusoma Bayibuli buli lunaku kyambudaabudanga nnyo. Nnafunanga ekintu ekizzaamu amaanyi eky’okulowoozaako.”

LOWOOZA KU SSUUBI LY’OKUZUUKIRA

Tina agamba nti: “Mu kusooka, essuubi ly’okuzuukira teryambudaabuda kubanga nnali nneetaaga omwami wange, era n’abaana bange baali beetaaga kitaabwe mu kiseera ekyo kyennyini. Naye kati oluvannyuma lw’emyaka ena, buli lwe ndowooza ku ssuubi ly’okuzuukira kimbudaabuda nnyo. Nkuba akafaananyi nga nzizzeemu okulaba omwami wange era ekyo kindetera okuwulira emirembe mu mutima!”

Oyinza obutafunirawo buweerero nga waakafiirwa. Naye ebigambo bya Vanessa bisobola okukuzzaamu amaanyi. Agamba nti, “Oyinza okulowooza nti ennaku tejja kukuggwa ku mutima, naye ogenda otereera mpolampola.”

Kijjukire nti wadde ng’ennaku gy’owulira eyinza obutaggwerawo ddala, obulamu bwo bukyali bwa mugaso. Katonda asobola okukuyamba n’osobola okufuna emikwano emirungi era n’oba n’obulamu obw’amakulu. Ate era Katonda anaatera okuzuukiza abantu abaafa. Ayagala oddemu obeere wamu n’abantu bo. Mu kiseera ekyo, obulumi bw’owulira kati bujja kuggwerawo ddala!

Ebyawandiikibwa Ebisobola Okukuyamba

Katonda amanyi ennaku gy’oyitamu.

Omuwandiisi wa Bayibuli omu bwe yali asaba Katonda yagamba nti: “Amaziga gange gakuŋŋaanyize mu nsawo yo ey’eddiba. Tegawandiikiddwa mu kitabo kyo?”​—Zabbuli 56:8.

Osobola okubuulira Katonda byonna ebikuli ku mutima.

‘Mbuulira [Katonda] ebinnakuwaza . . . Ai Yakuwa,a nkuwanjagira.’​—Zabbuli 142:2, 5.

Beera n’essuubi.

“Wajja kubaawo okuzuukira.”​—Ebikolwa 24:15.

Katonda asuubiza okuzuukiza abantu abaafa baddemu okuba abalamu, era ayagala nnyo okubazuukiza.b​—Yobu 14:14, 15.

a Bayibuli eraga nti Yakuwa lye linnya lya Katonda.

b Okumanya ebisingawo ebikwata ku kuzuukira, laba essomo 30 ery’ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! ekyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa. Osobola n’okukifuna ku www.pr418.com/lg.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share