Oli Mulangirizi w’Obwakabaka Atayosa?
1 Ffenna twasanyuka bwe twamanya nti mu Agusito1999 waaliwo ababuulizi abasukka mu 37,300 mu nsi omukaaga eziri wansi w’Ettabi lya Kenya. Eno ye ntikko ekyasingidde ddala. Mazima ddala nga kwali kufuba kwa maanyi okw’okukolera awamu! Kya lwatu abamu ku babuulizi bano tebasobodde kubeera babuulizi b’obwakabaka abatayosa. Mu bibiina ebimu ababuulira obutayosa bakendedde nnyo ne baba abantu 86 ku buli kikumi. Kino kiba kiraga nti ababuulizi abawerako tebawaddeyo lipoota eziraga nti benyigira mu buweereza buli mwezi. Tusuubira nti okukubirizibwa okuddako wammanga kuyinza okuyamba okugonjoola ekizibu kino.
2 Siima Enkizo: Tulina okusiima ennyo enkizo yaffe ey’okubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka. Omulimu guno gusanyusa omutima gwa Yakuwa era gusobozesa abantu ab’emitima emyesigwa okuyiga ekkubo erituusa mu bulamu. (Nge. 27:11; 1 Tim. 4:16) Bwe tubuulira obutayosa kituyamba okufuna obumanyirivu mu buweereza era kituleetera essanyu n’okumatira.
3 Waayo Lipoota: Abamu abenyigira mu buweereza bw’omu nnimiro beerabira okuwaayo lipoota zaabwe mu kiseera. Tetusaanidde kulowooza nti kye twakola tekigwana kuwandiikibwa ku lipoota. (Geraageranya Makko 12:41-44.) Mu buli ngeri, tusaanidde okuwaayo lipoota ey’ekyo kye tuba tukoze! Bwe tubeera n’enkola ennungi awaka ey’okuwandiika ebiseera bye tumaze mu buweereza, gamba ng’okukozesa kalenda, kijja kutujjukizanga okuwaayo lipoota zaffe mu bwangu ku nkomerero ya buli mwezi.
4 Wa Obuyambi Obwetaagisa: Kiyinza okwetaagisa okulongoosa mu nteekateeka y’ekibiina kyammwe okusobola okuwa obuyambi abo abeetaaga okuyambibwa okubuulira obutayosa. Omuwandiisi w’ekibiina n’abo abakubiriza okusoma ekitabo basaanidde okukola enteekateeka ababuulizi abalina obumanyirivu bawe obuyambi obwo. Bw’oba olina abaana oba abayizi ba Baibuli abatannabatizibwa, batendeke okuwaayo lipoota z’obuweereza bwabwe buli mwezi.
5 Jjukira ekitundu ekyaliko omutwe, “Musanyufu olw’Okubeera mu Buweereza bwa Yakuwa Ebbanga Ddene,” ekyafulumira mu Watchtower aka Okitobba 1, 1997. Mwannyinaffe Ottilie Mydland ow’omu Norway yafuuka omubuulizi w’amawulire amalungi atayosa nga tannaba kubatizibwa mu 1921. Oluvannyuma lw’emyaka 76, ng’aweza emyaka egy’obukulu 99, yagamba: “Ndi musanyufu okulaba nti nkyasobola okubuuIira obutayosa.” Eyo nga ndowooza nnungi nnyo abaweereza ba Yakuwa bonna gye balina okukoppa!