Okola ky’Osobola Okuwagira Ekibiina Okukuŋŋaanya Lipoota Enzijuvu?
1 Ebyawandiikibwa bingi birimu emiwendo emikakafu egikwata ku bintu ebyaliwo era egituwa ekifaananyi ekituufu ku bintu ebyo. Ng’ekyokulabirako, Gidiyoni yasaanyawo olusiisira lw’Abamidiyani n’abasajja 300 bokka. (Balam. 7:7) Malayika wa Yakuwa yatta abaserikale Abasuuli 185,000. (2 Bassek. 19:35) Ku lunaku lwa Pentekoote mu mwaka ogwa 33 C.E., abantu nga 3,000 baabatizibwa era amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo, abakkiriza ne bawera 5,000. (Bik. 2:41; 4:4) Okusinziira ku ebyo, kyeyoleka lwatu nti abaweereza ba Katonda ab’edda baafuba okuwandiika kalonda mungi ku bintu ebyabangawo.
2 Ekibiina kya Yakuwa leero kitukubiriza okuwaayo lipoota zaffe ez’obuweereza buli mwezi. Bwe tuwagira enteekateeka eno, kiyamba omulimu gw’okubuulira okulabirirwa obulungi. Lipoota ziyinza okulaga nti waliwo ensonga eyeetaaga okukolwako oba nti abakozi abalala beetaagibwa mu kitundu ekimu. Mu kibiina, lipoota z’obuweereza bw’ennimiro ziyamba abakadde okumanya abo abalina obusobozi okugaziya ku buweereza bwabwe era n’abo abeetaaga okuyambibwa. Era lipoota eziraga okukulaakulana kw’omulimu gw’okubuulira Obwakabaka zizzaamu nnyo amaanyi ab’oluganda bonna. Okola ky’osobola okuyamba ekibiina okukuŋŋaanya lipoota enzijuvu?
3 Obuvunaanyizibwa Bwo: Ku nkomerero y’omwezi, okisanga nga kizibu okujjukira by’okoze mu buweereza? Bwe kiba kityo, lwaki towandiika by’okoze buli lwe wenyigira mu buweereza? Abamu bawandiika ku kalenda oba mu katabo. Abalala bawandiika ku kapapula okuwandiikibwa lipoota. Ku nkomerero y’omwezi, lipoota yo giwe omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo. Oba oyinza okugiteeka mu kasanduuko akateekebwamu lipoota akali mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Bw’oba ng’obadde weerabidde okuwaayo lipoota yo, tuukirira omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo mu kifo ky’okumulinda ye akutuukirire. Bw’owaayo lipoota yo mu bwangu, kiraga nti ossa ekitiibwa mu nteekateeka ya Yakuwa era nti ofaayo ku b’oluganda abalina obuvunaanyizibwa okukuŋŋaanya lipoota ezo era n’okuzikolako.—Luk. 16:10.
4 Obuvunaanyizibwa bw’Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo: Ng’omusumba afaayo, omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo yeetegereza obuweereza bwa buli omu ali mu kitundu kye ng’omwezi tegunnaggwaako. (Nge. 27:23) Asobola okukimanya obanga buli mubuulizi yeenyigira mu buweereza era asobola okuyamba oyo yenna atannabwenyigiramu omwezi ogwo. Emirundi mingi ekigambo ekizzaamu amaanyi, ekirowoozo ekirungi oba okuwerekera ku mubuulizi oyo mu buweereza bw’ennimiro, kye kiba kyetaagisa.
5 Ku nkomerero y’omwezi, omulabirizi akubiriza okusoma ekitabo akakasa nti bonna abali mu kitundu kye batuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe nga bawaayo lipoota zaabwe. Ekyo kisobozesa omuwandiisi w’ekibiina okuwaayo lipoota enzijuvu ku ofiisi y’ettabi ng’ennaku z’omwezi oguddako tezinnasukka mukaaga. Ng’omwezi gunaatera okuggwaako, kyandibadde kirungi singa omulabirizi oyo ajjukiza abali mu kitundu kye era n’atwala obupapula okuwandiikibwa lipoota mu kifo we bakuŋŋaanira okusoma ekitabo. Abamu bwe baba nga batera okwerabira okuwaayo lipoota zaabwe, asobola okubajjukiza mu ngeri esaanira era n’okubazzaamu amaanyi.
6 Bwe tuwaayo mangu lipoota zaffe ez’obuweereza, kisobozesa ekibiina okukuŋŋaanya lipoota enzijuvu eziraga ebyo ebikoleddwa mu buweereza. Onootuukiriza obuvunaanyizibwa bwo okuwaayo lipoota yo mu bwangu buli mwezi?