Kye Tulina Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Nov. 15
“Tutera okuwulira ebigambo nga ‘Yesu yatufiirira.’ [Juliza Yokaana 3:16.] Wali olowoozezza ku ngeri okufa kw’omuntu omu bwe kuyinza okutulokola ffenna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ngeri ennyangu. Ekitundu kino, ekigamba nti ‘Yesu Alokola Atya?,’ kinnyonnyola bulungi ensonga eyo.”
Awake! Nov. 22
“Olowooza otya? Abantu bakola kyonna kye basobola okulabirira obutonde obutwetoolodde? [Muleke abeeko ky’addamu.] Bangi beebuuza oba ng’ebitonde eby’oku nsi bineeyongera okubaawo emirembe gyonna. Eky’omukisa omulungi, Katonda afaayo nnyo ku nsonga eyo. [Soma Nekkemiya 9:6] Akatabo ka Awake! koogera ku ngeri obulamu gye bunaabeeramu ku nsi mu biseera eby’omu maaso.”
The Watchtower Des. 1
“Mu kiseera kino eky’omwaka, abantu bangi beenyigidde mu kugaba ebirabo awamu era n’ebikolwa ebirala eby’ekisa. Ekyo kituleetera okulowooza ku Tteeka ery’Omuwendo. [Soma Matayo 7:12.] Olowooza kisoboka okugondera etteeka eryo okumalako omwaka gwonna? [Muleke abeeko ky’addamu.] Magazini eno etuwa eky’okulowoozaako wansi w’omutwe ogugamba, ‘Ddala Etteeka ery’Omuwendo Likyali lya Muganyulo?’”
Awake! Des. 8
“Baibuli esuubiza nti lumu tewalibaawo ayogera nti ‘ndi mulwadde.’ [Soma Isaaya 33:24.] Mu ngeri etuukana n’ekisuubizo ekyo, ka Awake! kano koogera ku bulwadde obuluma obukadde n’obukadde bw’abantu, abato n’abakulu. Era kalina omutwe ogugamba, ‘Essuubi Eri Abalwadde b’Amagumba.’ Nkakasa nti ojja kuganyulwa nnyo mu bye koogera.”