LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/01 lup. 8
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Similar Material
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2004
  • Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2007
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
km 12/01 lup. 8

Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini

The Watchtower Des. 15

“Mu kiseera kino eky’omwaka, abantu bangi balowooza ku Yesu Kristo, ka kibe nti bamukkiririzaamu oba nedda. Abamu bagamba nti teyali muntu wa ddala. Ggwe olowooza otya? [Ng’amaze okubaako ky’addamu, soma Matayo 16:15, 16.] Nkakasa nti ojja kunyumirwa ekitundu kino ekikwata ku ‘Yesu Owa Ddala’ okulaba engeri gyakwata ku bulamu bwo leero ne ku biseera byo eby’omu maaso.”

Awake! Des. 22

“Tokkiriza nti okubeera n’obulamu obutebenkevu twetaaga emmere ennungi era emala? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Katonda kye yasuubiza abantu be mu biseera bya Baibuli. [Soma Abaleevi 26:4, 5.] Awake! koogera ku bweraliikirivu obukwata ku mmere yaffe obuliwo leero. Era koogera ku biseera Katonda waanaaleetera obutebenkevu mu nsi yonna.”

The Watchtower Jan. 1

“Weebuuza lwaki obulamu bw’abantu abamu bwangu kyokka ng’abalala bakuluusana okusobola okweyimirizaawo? Baibuli erina ky’eyogera ku kino. [Soma Yobu 34:19.] Magazini eno ennyonnyola engeri Katonda gy’ajja okuggyawo obutali bwenkanya.

Awake! Jan. 8

“Okwetooloola ensi, musisi atta abantu bangi era n’ayonoona n’ebintu. Abawonawo emirundi mingi balekebwa nga tebalina we beegeka luba. Awake! kalaga engeri abantu bangi gye basobodde okwolekagana n’ensasagge ebaawo oluvanyuma lwa musisi. Era kannyonnyola engeri musisi gy’ayogerwako mu bunnabbi bwa Baibuli obukulu ennyo.”

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share