Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Feb 15
“Wali weebuuzizza wa w’oyinza okuzuula obulagirizi obusingirayo ddala obulungi bw’oyinza okugoberera mu bulamu bwo? [Muleke abeeko ky’addamu.] Obumu ku bulagirizi obusingayo obulungi, gamba ng’ekiragiro eky’okuyisa bannaffe obulungi nga bwe twagala batuyise, busangibwa mu Baibuli. [Soma Matayo 7:12.] Misingi ki emirala egisobola okutuganyula? Eky’okuddamu ojja kukisanga mu magazini eno.”
Awake! Feb 22
“Oyinza okuba ng’okirabye nti ebifo bingi awakolerwa emirimu bifuuse bya kabi nnyo. Magazini eno erimu ebirowoozo ebirungi ku ngeri akabi ng’ako gye kayinza okwewalibwamu. Era eraga nti engeri gye tutunuuliramu emirimu gye tukola erina akakwate n’essanyu lye tugifunamu. Wandyagadde okugisoma?”
The Watchtower Mar 1
“Okusinziira ku biriwo leero, abasinga obungi ku ffe twebuuza ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso. Mu ssaala emanyiddwa obulungi, Yesu Kristo yalaga ensonga etuleetera okwesunga ebijja mu biseera eby’omu maaso. [Soma Matayo 6:9, 10.] Abantu batera okukola ensobi ze zimu ezaakolebwa mu biseera ebyayita. Naye mu biseera ebyo ebyayita, abo abaaweereza Katonda baafuna ebiseera eby’omu maaso ebirungi. Magazini eno eraga engeri naffe gye tuyinza okufuna ebiseera eby’omu maaso ebirungi.”
Awake! Mar 8
“Baibuli eggumiza obukulu bw’okufuna obuyigirize obulungi. [Soma Engero 2:10, 11.] Abasinga obungi ku ffe tukiraba nga kikulu nnyo abaana baffe okubeera n’abasomesa abalungi. Akatabo kano aka Awake! kalaga omulimu omukulu abasomesa gwe bakola, engeri gye tuyinza okusiimamu ebyo bye bakola, era n’ebyo abazadde bye bayinza okukola okubayamba okutuukiriza omulimu gwabwe omuzibu ennyo.”