Okulumba kw’Eggye ly’Abeebagazi b’Embalaasi Okukukwatako
1, 2. Abaweereza ba Katonda leero, benyigidde batya mu kutuukirizibwa kw’okwolesebwa okw’obunnabbi obuli mu Okubikkulirwa 9:13-19?
1 ‘Malayika ow’omukaaga n’afuuwa akagombe.’ Ekyaddirira, ‘eggye ly’abeebagazi b’embalaasi’ eriwerera ddala ‘obukadde ebikumi bibiri’ lyavaayo n’omusinde ogulinga okubwatuka kwa laddu. Lino si ggye lya bulijjo. ‘Emitwe egy’embalaasi ezo giringa emitwe gy’empologoma.’ Ne mu bumwa bwazo muvaamu omuliro n’omukka n’ekibiriiti, ate nga “emikira gyazo gifaanana ng’emisota.” Eggye lino ery’akabonero ligenda lyonoona buli we liyita. (Kub. 9:13-19) Omanyi engeri gye wenyigidde mu kutuukirizibwa kw’okwolesebwa kuno okw’obunnabbi?
2 Ensigalira y’abaafukibwako amafuta ne bannaabwe, ab’endiga endala, bakolera wamu mu kumanyisa emisango gya Katonda. Kino kiviiriddeko okwanikira ddala embeera embi eya Kristendomu ey’eby’omwoyo. Ka twetegereze ensonga bbiri ezikwata ku kwolesebwa okw’obunnabbi eziraga lwaki abaweereza ba Katonda batuuka ku buwanguzi.
3. Kutendekebwa ki kw’ofunye okukuyambye okubuulira obubaka bwa Katonda mu ngeri ematiza?
3 Batendeke era Balina eby’Okukozesa mu Kubuulira Obubaka bwa Katonda: Okuyitira mu ssomero ly’omulimu gwa Katonda ne mu nkuŋŋaana endala ez’ekibiina, abaweereza ba Katonda batendekeddwa okubuulira obubaka bwa Katonda n’obuvumu. Nga bakoppa Yesu n’abayigirizwa be, bagenda banoonya abo abasaanira, nga babuulira wonna abantu we bayinza okusangibwa. (Mat. 10:11; Mak. 1:16; Luk. 4:15; Bik. 20:18-20) Enkola eno ey’okubuulira eyeesigamiziddwa ku Baibuli ng’evuddemu ebirungi bingi!
4. Biki ababuulizi bangi bye bakozesa okutuukiriza omulimu gwabwe?
4 Obuwumbi n’obuwumbi bwa Baibuli, ebitabo, brocuwa, ne magazini busaasaanyiziddwa abaweereza Abakristaayo nga bakola omulimu ogw’okubuulira ogwabaweebwa Katonda. Ebitabo bino bifulumiziddwa mu nnimi nga 400 nga bikwata ku mitwe egy’enjawulo era bisikiriza abantu abatali bamu. Okozesa bulungi ebitabo bino?
5, 6. Kiki ekiraga nti abantu ba Yakuwa balina obuwagizi bwe?
5 Obulagirizi n’Obuyambi Ebiva eri Katonda: Okwolesebwa okw’obunnabbi era kulaga bulungi nti omulimu ogukiikirirwa abeebagazi b’embalaasi ez’akabonero gulina obuwagizi bwa Katonda. (Kub. 9:13-15) Omulimu ogw’okubuulira mu nsi yonna tegutuukirizibwa mu magezi oba mu maanyi g’abantu, wabula lwa mwoyo gwa Katonda. (Zek. 4:6) Yakuwa akozesa bamalayika okuwa obulagirizi mu mulimu guno. (Kub. 14:6) Bwe kityo Yakuwa akozesa Abajulirwa be ne bamalayika okusika abawombeefu okudda gyali.—Yok. 6:45, 65.
6 Olw’okuba abantu ba Yakuwa batendekeddwa okubuulira obubaka bwa Katonda era nga balina obulagirizi bwa bamalayika, teri ayinza kubalemesa. Ka tweyongere okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwaffe mu kutuukirizibwa kw’okwolesebwa okw’obunnabbi buno.