LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 5/02 lup. 3
  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi mu Ngeri ey’Enjawulo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okuzziŋŋanamu Amaanyi mu Ngeri ey’Enjawulo
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Mweyongere Okuzziŋŋanamu Amaanyi
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Osiima Ebintu Ebitukuvu?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • ‘Kuŋŋaanya Abantu’
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Enkuŋŋaana Ennene Kiba Kiseera kya Ssanyu!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 5/02 lup. 3

Okuzziŋŋanamu Amaanyi mu Ngeri ey’Enjawulo

1 Olunaku teruyinza kuyitawo ng’okukkiriza kw’abantu ba Yakuwa tekugezeseddwa. Setaani akola butaweera okumenya obugolokofu bwaffe eri Yakuwa kubanga akimanyi bulungi nti asigazzaayo akaseera katono. (Kub. 12:12) Kikulu okuba nti ‘tweyongera okubeeranga n’amaanyi mu Mukama waffe ne mu buyinza obw’amaanyi ge tulyoke tuyinzenga okuguma ku lunaku olubi, era bwe tulimala okukola byonna, tusobole okuyimirira.’​—Bef. 6:10, 13.

2 Okukuŋŋaana awamu ne bakkiriza bannaffe ntegeka Yakuwa gy’atukoledde okutuyamba okufuna amaanyi. Omutume Pawulo yategeera bulungi obukulu bw’enteekateeka eno. Yeegomba okubeera ne baganda be Abakristaayo basobole ‘okuzziŋŋanamu amaanyi era n’okunywezebwa.’ (Bar. 1:11, 12) Okutunyweza tusobole okukola Katonda by’ayagala, akakiiko akafuzi kakoze enteekateeka ffenna okusobola okuzziŋŋanamu amaanyi mu Lukuŋŋaana olujja olwa District olulina omutwe “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu.”

3 Beerayo Osobole Okuganyulwa: Kifuule kiruubirirwa kyo okubeerawo ennaku zonna essatu. Bwe tuba twagala okuganyulwa, kiba kirungi okutuuka ng’oluyimba olusooka terunnatandika era tubeererewo ddala okutuusa ku kusaba okufundikira ffenna we tugambira nti “Amiina.” (Is. 48:17, 18) Kyetaagisa okukola enkyukakyuka mu ngeri gy’onookolamu emirimu gyo nga bukyali okusobola okubeerawo ennaku zonna essatu. Kituufu kiyinza obutaba kyangu mukama wo okukuwa olukusa obutakola ku nnaku ezo, naye Yakuwa atukakasa nti ajja kutuyamba okukola by’ayagala. (1 Yok. 5:14, 15) Kino kye kiseera okukola enteekateeka z’entambula n’aw’okusula bwe kiba nga tubadde tetunnazikola. Tubeere bakakafu nti Yakuwa ajja kuwa omukisa okufuba kwaffe tusobole okubeerawo ennaku zonna essatu.​—Nge. 10:22.

4 Suubira Okuzibwamu Amaanyi: Wali ovuddeko mu lukuŋŋaana lwa district ng’ogamba: “Olwo lwe lukyasinze zonna ezaali zibaddewo”? Lwaki oyinza okuba nga wawulira bw’otyo? Kiri bwe kityo kubanga ng’abantu abatatuukiridde tuyinza okukoowa mpolampola, ne twesanga nga twetaaga okuzzibwamu amaanyi mu by’omwoyo. (Is. 40:30) Mwannyinaffe omu yagamba: ‘Embeera z’ebintu eziriwo kati zinkooya. Naye enkuŋŋaana ennene zinnyamba okuddamu okussa essira ku bintu eby’omwoyo era ne zinzizaamu amaanyi mu by’omwoyo, ekintu kye mba nneetaagira ddala. Okuzzibwamu amaanyi kujjira ddala mu kiseera kyennyini kye nsinga okukwetaagiramu!’ Kyandiba nga naawe wali owuliddeko bw’otyo.

5 Tetuzzibwamu maanyi kuyitira mu kwogera oba abo ababuuzibwa ebibuuzo kyokka, naye era n’okuyitira mu bintu ebirala ebibaawo mu nkuŋŋaana zaffe ennene. Muganda waffe omu yagamba: “Ekisinga okunnyumira, y’engeri etegeerekeka obulungi ey’okuteeka mu nkola emisingi gya Baibuli. Kya lwatu, emizannyo egy’esigamiziddwa ku Baibuli gituyamba nnyo okulaba engeri gye tuyinza okuyigira ku byaliwo edda, ebirungi n’ebibi. Buli mulundi nneesunga okufuna ebitabo ebyakafuluma era nnyumirwa okubisoma bwe nzirayo eka.”

6 Enkuŋŋaana ennene nteekateeka nkulu nnyo okuva eri Yakuwa mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku.’ (2 Tim. 3:1) Zituyamba okussaayo omwoyo ku kubuulirira kuno okwaluŋŋamizibwa: “Mutunulenga, munywerenga mu kukkiriza, mubeerenga basajja, mubeerenga ba maanyi.” (1 Kol. 16:13) N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okubaawo ennaku zonna tuzzibwemu amaanyi mu Lukuŋŋaana lwaffe olwa District olulina omutwe “Abalangirizi b’Obwakabaka Abanyiikivu”!

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Teekateeka Okubeerawo Ennaku Zonna Essatu

■ Saba olukusa obutakola ku nnaku z’olukuŋŋaana.

■ Teekateeka aw’okusula mu kibuga omunaabeera olukuŋŋaana.

■ Teekateeka engeri gy’onootambulamu okugenda mu lukuŋŋaana.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share