Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjun. 15
“Olowooza ekiseera kirituuka ebizibu nga bino ne biggwaawo? [Soma ebigambo ebisookera ddala mu kitundu ekisooka, era omuleke abeeko ky’addamu.] Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa kitukakasa nti ebizibu nga bino bijja kuggwaawo. [Soma Zabbuli 72:12-14.] Akatabo kano aka Watchtower kannyonnyola engeri kino gye kijja okutuukirizibwamu.”
Awake! Jjun. 22
“Olowooza kiriyinzika buli omu okufuna eddembe erya nnamaddala mu nsi eno? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze ekisuubizo kya Katonda kino ekirungi ennyo. [Soma Abaruumi 8:21.] Ekisuubizo ekyo okusobola okutuukirira, obuddu obw’engeri yonna buteekwa okukoma, si bwe kiri? Magazini eno eya Awake! eraga engeri ekyo gye kijja okubaawo.”
The Watchtower Jjul 1
“Obukadde n’obukadde bw’abantu bakozesa ebifaananyi oba obubonero mu kusinza kwabwe, kyokka ate eriyo obukadde n’obukadde bw’abantu abalala abalowooza nti ekyo kikyamu. Wali weebuuzizzaako endowooza ya Katonda ku nsonga eno? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Yokaana 4:24.] Ebitundu bino biraga engeri okukozesa obubonero gye kwatandikamu era ne Baibuli ky’eyogera ku kusinza ebifaananyi.”
Awake! Jjul. 8
“Baibuli yalagula nti ennaku ez’oluvannyuma byandibadde biseera ebizibu ennyo. [Soma 2 Timoseewo 3:1, 3.] Obumenyi bw’amateeka obuliwo mu nsi yonna bwoleka kino. Embeera nga zandibadde mbi nnyo singa tewaaliwo poliisi! Magazini eno eyogera ku bizibu abapoliisi bye basanga mu nsi yonna.”