Bye Tuyinza Okwogera nga Tugaba Magazini
The Watchtower Jjan. 15
“Olw’okuyiwa omusaayi okubaddewo, olowooza obubi buwangudde obulungi? [Muleke abeeko ky’addamu.] Weetegereze Baibuli ky’eyogera ku Katonda. [Soma Zabbuli 83:18b.] Okuva Katonda bwali Waggulu ennyo ng’afuga ensi, ddala obubi buyinza okuwangula? [Muleke abeeko ky’addamu.] Watchtower eno eddamu ekibuuzo kino mu ngeri ematiza.”
Awake! Jjan. 22
“Okusinga bwe kyali kibadde obukuumi bwe tulina leero buli mu lusuubo. Ekintu ekyeraliikiriza ennyo be bantu abamu okugezaako okumanya by’okola oba ebikukwatako mu kyama. Ekyo wali okiwuliddeko? [Muleke abeeko ky’addamu.] Baibuli esuubiza nti lumu ensi eno tejja kubaamu bintu ebiteeka obukuumi bwaffe mu lusuubo. [Soma Isaaya 11:9.] Magazini eno ennyonnyola engeri kino gye kijja okutuukirizibwamu.”
The Watchtower Feb. 1
“Leero, abantu bangi beeraliikirira olw’ebbula ly’emirimu, ate abalala banyigirizibwa nnyo ku mirimu. Olowooza kisoboka okubeera n’omulimu ogusanyusa era nga teweeraliikirira kugufiirwa? [Muleke abeeko ky’addamu. Oluvannyuma soma Isaaya 65:21-23.] Watchtower eno eyogera ku kiseera abantu bonna bwe balibeera n’emirimu egimatiza.”
Awake! Feb. 8
“Akatabo kano aka Awake! koogera ku kintu eky’ennaku mu kiseera kyaffe—okukozesa abaana mu bwa malaaya. Baibuli esuubiza nti mangu ddala ekikolwa ekyo ekyennyamiza kijja kukoma. [Soma Engero 2:21, 22.] Magazini eno eraga ekiviiriddeko okukozesa abaana mu ngeri eno embi, era n’engeri gye kinaakomezebwamu.”